{
  "fields": [{"id":"_id","type":"int"},{"id":"English","type":"text"},{"id":"Luganda","type":"text"}],
  "records": [
    [1,"I started getting my menstruation periods when I was thirteen years old.","Nnatandika okugenda mu nsonga z'ekikyala nga nnina emyaka kkumi n'esatu."],
    [2,"My brother has trained his daughters to greet people while kneeling down.","Muganda wange/mwannyinaze atendese bawala be okubuuza abantu nga bafukamidde."],
    [3,"In our culture, women are supposed to kneel when greeting elders.","Mu buwangwa bwaffe abakazi bateekeddwa okufukamira nga babuuza abantu abakulu."],
    [4,"The school needs a new mathematics teacher for the primary five pupils.","Essomero lyetaaga omusomesa w'essomo ly'okubala omupya ow'abayizi ab'ekibiina ekyokutaano."],
    [5,"My pregnant sister is always craving for raw mangoes.","Muganda wange/mwannyinaze ali olubuto buli kaseera abeera ayoya obuyembe obuto."],
    [6,"My husband is stressed about the children's school fees.","Baze mweraliikirivu ku bisale by'abaana eby'essomero."],
    [7,"I was attracted to him by his bright smile.","Nnasikirizibwa akamwenyumwenyu ke akalungi."],
    [8,"She went for a walk to calm herself down after having an argument with her husband.","Yagenda okutambulamu okusobola okwekkakkanya oluvannyuma lw'oluyombo ne bba."],
    [9,"He received the good news about the birth of his daughter while on his way to the hospital.","Yafuna amawulire amalungi ag'okuzaalibwa kwa muwala we bwe yali akyali mu kkubo ng'agenda mu ddwaliro."],
    [10,"I saw your mother in the market yesterday.","Nnalabye maama wo mu katale eggulo."],
    [11,"The doctor advised my father to stop drinking alcohol.","Ddokita yawa taata amagezi okulekera awo okunywa omwenge."],
    [12,"His cheating habits made his wife to divorce him.","Emize gye egy'obwenzi gyaleetera mukyala we okugattululwa naye."],
    [13,"I temporarily lost vision in one eye.","Eriiso lyange erimu lyamala akaseera nga teriraba."],
    [14,"He has been dating my best friend for five years.","Abadde akwana mukwano gwange asinga okumala emyaka etaano."],
    [15,"My wife was so taken up by the television that she did not hear me knocking.","Mukyala wange yabadde ebirowoozo abimalidde ku ttivvi n'okutuuka obutampulira nga nkonkona."],
    [16,"She sold her phone because she wanted to buy a new one.","Yatunda essimu ye kubanga yali ayagala kugula mpya."],
    [17,"He received a phone call from his daughter this morning.","Muwala we yamukubidde essimu amakya ga leero."],
    [18,"Some students can't attend online classes because they don't have access to computers while at home.","Abayizi abamu tebasobola kusomera ku mutimbagano kubanga tebalina kompyuta za kukozesa nga bali awaka."],
    [19,"The teacher gave us several assignments so that we could understand that topic better.","Omusomesa yatuwa emirimu egy'enjawulo okusobola okutegeera obulungi omulamwa gwe twali tusomako."],
    [20,"The lecturer records the lessons for students who aren't able to attend the classes in real-time.","Omuyigiriza akwatira abayizi abatasobola kwetaba mu kusoma obutambi bw'ebisomesebwa ng'okusoma kugenda mu maaso."],
    [21,"The school issued a directive that all students who attend online classes should pay fees on time.","Essomero lyayisa ekiragiro nti abayizi bonna abasomera ku mutimbagano balina okusasula ebisale byabwe eby'essomero mu budde."],
    [22,"All students will be expected to carry at least five reusable masks when reporting to school.","Abayizi bonna bajja kusuubirwa okutwala waakiri obukookolo obusobola okuddamu okukozesebwa butaano nga baddayo ku ssomero."],
    [23,"The teacher taught us how to multiply numbers yesterday.","Omusomesa yatusomesezza okukubisa emiwendo eggulo."],
    [24,"The doctor asked to see me physically because he couldn't diagnose me without a proper checkup.","Ddokita yasaba okundaba mu buliwo kubanga yali tasobola kumanya kinnuma nga takoze kukebera kutuufu."],
    [25,"The manager has invited us for a brief meeting in her office.","Maneja atuyise mu woofiisi ye mu lukiiko olw'amangu."],
    [26,"Some students prefer evening lectures to morning lectures.","Abayizi abamu baagala okusoma mu budde bw'akawungeezi okusinga ku makya."],
    [27,"The university has added computer lessons to the syllabus.","Yunivaasite eyongeddeko essomo lya kkompyuta ku bisomesebwa."],
    [28,"My father has been a teacher for thirty years.","Kitange abadde musomesa okumala emyaka amakumi asatu."],
    [29,"My sister is studying medicine at the university.","Muganda wange/mwannyinaze asoma busawo ku yunivaasite."],
    [30,"My mother wrote down the recipe to guide me when cooking the chicken.","Mmange yawandiika bye nnina okugoberera nga nfumba enkoko."],
    [31,"The assistant manager has been sick for two weeks.","Amyuka maneja abadde mulwadde okumala wiiki bbiri."],
    [32,"My mother is a qualified nurse.","Mmange mujjanjabi mutendeke."],
    [33,"Half of the students in our class do not know how to use computers.","Amakkati g'abayizi mu kibiina kyaffe tebamanyi kukozesa kompyuta."],
    [34,"My aunt has applied for a job as a receptionist at the bank.","Ssenga wange/maama omuto asabye omulimu gw'okukola ng'ayaniriza abagenyi mu bbanka."],
    [35,"I have to attend a lecture in thirty minutes.","Nina okugenda mu kibiina okusoma mu ddakiika amakumi asatu."],
    [36,"The pastor advised the newlyweds to respect each other in their marriage.","Omusumba yawa abagole amagezi okuwaana ekitiibwa mu bufumbo bwabwe."],
    [37,"My son joined the university two months ago.","Mutabani wange yeegatta ku yunivaasite emyezi ebiri egiyise."],
    [38,"My brother failed to solve the riddle I gave him.","Muganda wange/mwannyinaze yalemereddwa okutta ekikokko kye nnamuwadde."],
    [39,"Some children are afraid of the dark.","Abaana abamu batya enzikiza."],
    [40,"The students have agreed to work in teams on the assignment.","Abayizi bakkiriziganyizza okukolera mu bibinja nga bakola omulimu."],
    [41,"I swallowed painkillers to treat the headache.","Nnamira obuweke obukkakkanya ku bulumi okujjanjaba omutwe ogwali gunnuma."],
    [42,"The patient is having visions of him being discharged.","Omulwadde afuna okwolesebwa ng'asiibuddwa."],
    [43,"I felt a strong urge to drink a soda when I saw the advert.","Nnawulidde okulookalooka okw'amaanyi okw'okunywa soda oluvannyuma lw'okulaba akalango."],
    [44,"She is always smelling good.","Buli kaseera abeera awunya bulungi."],
    [45,"She was wrong about him.","Yamufuna bukyamu."],
    [46,"Our father was very angry when we spoilt the new television.","Kitaffe yali munyiivu nnyo bwe twayonoona ttivvi empya."],
    [47,"The students will start their examinations next week on Monday.","Abayizi bajja kutandika ebigezo byabwe ku Lwokusooka lwa wiiki ejja."],
    [48,"She makes summaries of her notes to guide her when reading for the final examinations.","Afunza by'asoma okusobola okumuluamya ng'atuuse okusomera ebigezo bye eby'akamalirizo."],
    [49,"My brother is a skilled dentist.","Muganda wange/mwannyinaze musawo w'amannyo omukugu."],
    [50,"The computer teacher taught the first-year students how to use their e-learning accounts to submit assignments.","Omusomesa wa kompyuta yasomesa bayizi b'omwaka ogusooka engeri y'okuwaayo emirimu gyabwe nga bakozesa akaawunti zaabwe ez'okumutimbagano kwe basomera."],
    [51,"My father bought me a laptop when I joined university.","Kitange yangulira kompyuta bwe nnatandika okusoma ku yunivaasite."],
    [52,"My brother repairs faulty computers.","Muganda wange akanika kompyuta enfu."],
    [53,"I learnt how to bake during my senior six vacation.","Nayiga okufumba mu luwummula lwange olwa siniya ey'omukaaga."],
    [54,"He partnered with his wife to start a bakery.","Yakwatagana ne mukayala we okutandikawo bbeekeeri."],
    [55,"Some children do not go to school because their parents cannot afford to pay school fees.","Abaana abamu tebagenda ku ssomero kubanga bazadde baabwe tebasobola kubasasulira bisale bya ssomero."],
    [56,"The organization has started a programme to support widows and orphans in this area.","Ekitongole kitandiseewo enteekateeka y'okuyamba bannamwandu ne ba mulekwa mu kitundu kino."],
    [57,"She distributed free exercise books to the children in her village.","Yagaba ebitabo ebiwandiikwamu eby'obwereere eri abaana b'oku kyalo kye."],
    [58,"Eighty percent of the students in Uganda have no access to internet.","Abayizi ebitundu kinaana ku buli kikumi mu Uganda tebasobola kubeera ku mutimbagano."],
    [59,"My father lectures political science at the university.","Kitange asomesa saayansi wa byabufuzi ku yunivaasite."],
    [60,"All new employees are trained for a month before they officially start working.","Abakozi bonna abapya batendekebwa okumala omwezi gumu nga tebannatandika kukola mu butongole."],
    [61,"The manager is able to observe everything we do from his office.","Maneja asobola okulaba byonna bye tukola ng'asinziira mu woofiisi ye."],
    [62,"The teacher cleaned her desk before she started the lesson.","Omusomesa yalongoosa entebe ye nga tannatandika kusomesa."],
    [63,"The suspect failed to prove his innocence in court.","Ateeberezebwa yalemererwa okukakasa nti talina musango ng'ali mu kkooti."],
    [64,"Some teachers use projectors during their lessons instead of writing on the blackboard.","Abasomesa abamu bakozesa pulojekita nga basomesa mu kifo ky'okuwandiika ku lubaawo."],
    [65,"I downloaded the class notes to my phone for further revision.","Nnawanudde ebirina okusomebwa mu kibiina ne mbissa ku ssimu yange okwongera okubyekenneenya."],
    [66,"The doctor has prescribed a cough syrup for my baby.","Ddokita awadde omwana wange ssirapu y'ekifuba."],
    [67,"Every individual has a choice to choose the career they want to pursue.","Buli muntu alina omukisa okusalawo ky'ayagala okukola mu bulamu bwe."],
    [68,"The nurse disinfected the surface of the wound before covering it with a bandage.","Omujjanjabi yatta obuwuka obwali ku kiwundu nga tannaba kukisibako bbandegi."],
    [69,"I encourage my students to ask questions when they do not understand something in class.","Nkubiriza abayizi bange okubuuza ebibuuzo ku bye baba batategedde mu kibiina."],
    [70,"Children should be taught how to use computers from a young age.","Abaana balina okusomesebwa engeri y'okukozesaamu kompyuta okuva nga bakyali bato."],
    [71,"Most companies nowadays do not hire employees who are computer illiterate.","Kkampuni ezisinga ensangi zino tezikyawa mirimu bakozi batalina bukugu mu kompyuta."],
    [72,"Teachers should advise their students on how to overcome the challenges in their studies.","Abasomesa basaanye okuwabula abayizi baabwe ku ngeri y'okuvvuunukamu okusoomoozebwa kwe basanga mu kusoma kwabwe."],
    [73,"He lost weight by exercising every day.","Yasala ku bunene ng'akola dduyiro buli lunaku."],
    [74,"She bought her children phones to use for their online classes during the lockdown.","Yagulira abaana be amasimu ag'okukozesa nga basomera ku mutimbagano mu muggalo."],
    [75,"There will be a workshop for all teachers tomorrow.","Wajja kubaawo omusomo gw'abasomesa bonna enkya."],
    [76,"My husband's heart surgery was successful.","Okulongoosebwa kwa baze okw'omutima kwagenda bulungi."],
    [77,"Most children nowadays learn how to use phones at a young age.","Abaana abasinga obungi ensangi zino bayiga okukozesa amasimu nga bakyali bato."],
    [78,"He is reading a book about financial planning.","Ali mu kusoma katabo akakwata ku nteekerateekera y'ensimbi."],
    [79,"My sister wants to learn how to cook chicken stew.","Muganda wange/mwannyinaze ayagala kuyiga ngeri ya kufumbamu nva za nkoko."],
    [80,"My son built a volcano for his science project.","Mutabani wange yazimba olusozi oluwanda omuliro mu puloojekiti ye eya ssaayansi."],
    [81,"She is raising awareness against child abuse in Uganda.","Amanyisa abantu ku kabi akali mu kutulugunya abaana mu Uganda."],
    [82,"The children in foreign countries study according to their passion instead of following a general curriculum.","Abaana mu mawanga g'ebweru basoma kusinziira ku kye balinamu obwagazi okusinga okugoberera ebisomesebwa ebyawamu."],
    [83,"My mother plans to service her loan using the profits from the bakery.","Mmange ateekateeka okusasula ebbanja lye ng'akozesa amagoba okuva mu bbeekeeri."],
    [84,"I regret quitting my job over a minor disagreement.","Nnejjusa okulekulira omulimu gwange olw'obutakkaanya obutono."],
    [85,"She has been switching between online and physical classes for her students.","Abaddenga akyusizakyusiza abayizi be ng'abasomesaako mu buliwo ate ne ku mutimbagano."],
    [86,"The bride designed her wedding gown with beads from her mother's necklace.","Omugole yatona ekiteeteeyi kye eky'embaga n'embira ezaava ku mukuufu gwa nnyina."],
    [87,"She plans to open a music school in the city.","Ateekateeka kuggulawo ssomero lya byakuyimba mu kibuga."],
    [88,"Every student is required to have all these requirements when reporting to the school.","Buli muyizi yeetaagibwa okuba n'ebisaanyizo bino byonna ng'ajja ku ssomero."],
    [89,"My daughter wants to study engineering.","Muwala wange ayagala kusoma bwa yinginiya."],
    [90,"Education equips children with the skills they need for employment.","Obuyigirize buwa abaana obukugu bwe beetaaga mu nsi ey'emirimu."],
    [91,"His family has been involved in their wedding preparations since they announced their engagement.","Famire ye ebadde yenyigidde mu kuteekateeka embaga yaabwe okuva ekiseera we baalangirira nti bagenda kufumbiriganwa."],
    [92,"My mother helps me with my homework every evening.","Maama annyambako okukola emirimu gye bampa okukolera awaka buli kawungeezi."],
    [93,"She lost her original academic documents in a fire that caught their house last month.","Ebiwandiiko by'obuyigirize bwe ebyaddala byaggyiira mu muliro ogwakwata enju yaabwe omwezi oguwedde."],
    [94,"Your daughter performed poorly in the examinations this term.","Muwala wo yakoze bubi mu bigezo olusoma luno."],
    [95,"The employees' job performance is assessed based on their monthly reports.","Enkola y'abakozi ey'emirimu epimirwa mu alipoota eza buli mwezi."],
    [96,"She wrote an inspirational book on how to overcome poverty.","Yawandiika ekitabo ekizzaamu essuubi ku ngeri y'okumalawo obwavu."],
    [97,"Health workers have encouraged youths to use condoms during sex to prevent unwanted pregnancies.","Ab'ebyobulamu bawadde abavubuka amagezi okukozesa obupiira nga beegatta okwewala embuto ze bateetegekedde."],
    [98,"Doctors advised the people to avoid crowds so as to reduce the spread of coronavirus.","Ba ddokita baawa abantu amagezi okwewala okukuaana okusobola okukendeeza ku kusaasaana kw'akawuka ka kkolona."],
    [99,"She disagreed with her husband's decision to take their five year old son to boarding school.","Teyakkiriziganya na kya bba kusalawo kutwala mutabani waabwe ow'emyaka etaano mu kisulo."],
    [100,"Some parents were shocked to learn that the school didn't inform them when their children fell sick.","Abazadde abamu beekanga bwe baakimanya nti essomero teryabategeezaako abaana baabwe bwe baalwala."],
    [101,"The girls were advised by their leaders to abstain from sex until marriage.","Abakulembeze b'abaana abawala babawa amagezi obuteegatta okutuusa nga bafumbiddwa."],
    [102,"Couples should both test for coronavirus in case one of them has the symptoms.","Abaagalana bombi balina okwekebeza akawuka ka kkolona singa omu ku bo abeera ng'alina obubonero."],
    [103,"I discovered that going to bed early helps me to stay alert at work during the day.","Nakizuula nti okugenda mu buliri nga bukyali kinnyamba obutasumagirira ku mulimu emisana."],
    [104,"I could not travel to visit my mother in the village because of the pandemic.","Saasobola kugenda mu kyalo kukyalira ku maama olw'ekirwadde ky'ekikungo."],
    [105,"I arrived late for my mother's birthday party.","Nnatuuka kikeerezi ku kabaga k'amazaalibwa ga mmange."],
    [106,"I gave my mother a bouquet of roses on Mother's Day.","Nnawa mmange ekiganda ky'ebimuli bya looza ku Lunaku lwa Bamaama."],
    [107,"My brother has been in prison for six years.","Muganda wange/mwannyinaze amaze emyaka mukaaga mu kkomera."],
    [108,"I wish all husbands would sometimes help their wives with housework.","Singa kale abaami bonna oluusi bayambako bakyala baabwe n'emirimu gy'awaka."],
    [109,"He rose to fame for fighting for the rights of the oppressed citizens of Uganda.","Yayatiikirira lwa kulwanirira ddembe lya Bannayuganda abayigganyizibwa."],
    [110,"He performed his new song at my introduction ceremony.","Yayimba oluyimba lwe olupya ku mukolo gwange ogw'okwanjula."],
    [111,"The musician has organized a concert to raise money for cancer patients in Uganda.","Omuyimbi ategese ekivvulu okusonderako ssente z'abalwadde ba kookolo mu Uganda."],
    [112,"She is not ready to have children.","Si mwetegefu kuzaala baana."],
    [113,"My son cries whenever I refuse to give him my phone.","Mutabani wange akaaba buli lwe aana okumuwa essimu yange."],
    [114,"She copied all my answers during the examination.","Yakoppa ebyokuddamu byange byonna mu kigezo."],
    [115,"My father is a quiet man.","Kitange musajja musirise."],
    [116,"He takes off his shoes as soon as he enters the house.","Oluyingira ennyumba ng'engatto aziggyamu."],
    [117,"My father wore this belt for six years.","Kitange omusipi guno yagwambala okumala emyaka mukaaga."],
    [118,"I am not scared of the teacher's punishment.","Sitidde kibonerezo kya musomesa."],
    [119,"She needs a belt because the trousers are too big on her.","Yeetaaga omusipi kubanga empale nnene nnyo ku ye."],
    [120,"She pretended to faint so that the judge would have mercy on her.","Yeezirisa omulamuzi asobole okumukwatirwa ekisa."],
    [121,"He turned to me and asked me to leave the sitting room.","Yankyukira era n'ansaba okuva mu ddiiro erituulwamu."],
    [122,"My body resisted the urge to slap my sister back.","Omubiri gwange gwagaana okusindiikirizibwa ky'okuddizza muganda wange oluyi."],
    [123,"The girl ran away from home because she was being mistreated by her stepmother.","Omuwala yadduka okuva awaka kubanga yali atulugunyizibwa muka kitaawe."],
    [124,"The doctors told me that I would never walk again after the accident.","Abasawo baamba nti siriddamu kutambula oluvannyuma lw'akabenje."],
    [125,"She is scared that there may be snakes in the grass.","Atya nti wandibaawo emisota mu muddo."],
    [126,"Our mother patiently waited for the party to end so as to drive us home.","Maama yagumiikiriza akabaga okuggwa asobole okutuvuga atuzze ewaka."],
    [127,"He ignores me because I refused to marry him.","Anneesamba kubanga nagaana okumufumbirwa."],
    [128,"My neighbour sent my sister to buy him salt at a nearby shop."," Muliraanwa wange yatuma muganda wange/mwannyinaze okumugulira omunnyo ku dduuka eriri okumpi."],
    [129,"I panicked when I couldn't find my money.","Nnatya nga siraba ssente zange."],
    [130,"He refused to apologize for eating my leftover food.","Yagaana okwetonda olw'okulya emmere yange gye nnali ndeseewo."],
    [131,"She listened to our entire conversation.","Yawuliriza emboozi yaffe yonna."],
    [132,"I climbed down from the tree when I saw my mother.","Nnawanuka ku muti bwe nnalaba mmange."],
    [133,"Some parents do not apologize to their children even if they are in wrong.","Abazadde abamu tebeetoondera baana baabwe ne bwe baba nga be bali mu nsobi."],
    [134,"I walked to the teacher and quietly requested her for permission to go ease myself.","Nnatuukirira omusomesa mu kasirise ne mmusaba olukusa okugenda wabweru okweteewuluza."],
    [135,"My mother asked me to apologize to my father for shouting at him during supper.","Mmange yansaba okwetondera taata olw'okumuleekaanira ku kyeggulo."],
    [136,"In the old days, children were not allowed to question their parents' decisions.","Mu nnaku ziri ez'edda abaana baali tebakkirizibwa kubaako kye baddamu nga bazadde baabwe basazeewo."],
    [137,"My wife explained that she arrived home late because of the traffic jam.","Mukyala wange yannyonnyola nti akalippagano k'ebidduka ke kamuviirako okutuuka eka ekikeerezi."],
    [138,"My father was seated at the dining table when I left for work.","Kitange yali atudde ku mmeeza eriirwako we nnaviirawo okugenda ku mulimu."],
    [139,"Our late mother used to advise us to be disciplined at school.","Omugenzi maama yatubuuliriranga okubeera ab'empisa ku ssomero."],
    [140,"My father forgave me for sneaking out of the house in the night.","Taata yansonyiwa olw'okutoloka mu nnyumba ekiro."],
    [141,"I have never regretted getting married to my husband.","Ssejjusangako kufumbirwa baze."],
    [142,"A mother's role is to ensure that her children are well fed.","Obuvunaanyizibwa bwa maama kwe kukakasa nti abaana be balidde bulungi."],
    [143,"The two sisters have reconciled after five years of not talking to each other.","Abooluganda ababiri abawala baatabagana oluvannyuma lw'okumala emyaka etaano nga tewali ayogera na munne."],
    [144,"Her husband was angry with her for misusing the money he gave her.","Bba yali munyiivu gy'ali olw'okukozesa obubi ssente ze yamuwa."],
    [145,"His sister does not approve of his idea to open up a bar in the village.","Mwannyina takkaanya na kirowoozo kye eky'okuggulawo ebbaala ku kyalo."],
    [146,"My father lost my respect the day he slapped my mother.","Taata sikyamuwa kitiibwa okuva ku olunaku lwe yakuba maama oluyi."],
    [147,"Our mother succumbed to breast cancer last year.","Maama waffe yafa obulwadde bwa kookolo w'ebbeere omwaka oguwedde."],
    [148,"My mother inspires me.","Maama wange anzizaamu amaanyi."],
    [149,"He worked hard to build his house.","Yakola nnyo okuzimba ennyumba ye."],
    [150,"She gave her son a sweet to calm him down.","Yawa mutabani we ka sswiiti okumukkakkanya."],
    [151,"All married women should support their husbands.","Abakyala bonna abafumbo balina okuwagira ba bbaabwe."],
    [152,"She found her husband lying in a pool of blood.","Yasanga bba agangalamye mu kitaba ky'omusaayi."],
    [153,"His wife was murdered ten years ago.","Mukyala we yatemulwa emyaka kkumi egiyise."],
    [154,"She is very influential in the world of politics.","Wa maanyi nnyo mu nsi y'ebyobufuzi."],
    [155,"My son was knocked by a speeding car while he was on his way from school.","Mutabani wange yatomerwa emmotoka eyali ewenyuka emisinde bwe yali ava ku ssomero."],
    [156,"He is pursuing a degree in education at the university.","Asoma ddiguli ya busomesa ku yunivaasite."],
    [157,"She bathes her baby with warm water.","Anaaza omwana we n'amazzi agabuguma."],
    [158,"She spent thirty minutes in the bathroom.","Yamala eddakiika amakumi asatu mu kinaabiro."],
    [159,"My husband bathes before he eats his supper.","Baze asooka kunaaba nga tannalya kyaggulo."],
    [160,"He was attacked by two men while he was leaving for work this morning.","Yalumbiddwa abasajja babiri bwe yabadde agenda ku mulimu enkya ya leero."],
    [161,"My uncle broke his neck when he fell down the stairs.","Kkojjange/kitange omuto yamenyeka ensingo bwe yagwa okuva waggulu ku madaala."],
    [162,"He told his daughter to hide under the bed when the robbers broke into their house.","Yagamba muwala we okwekweka wansi w'ekitanda abazigu bwe baamenya ne bayingira mu nju yaabwe."],
    [163,"My mother gave the robbers three million Ugandan shillings hoping that they would spare our lives.","Maama yawa abazigu obukadde busatu obwa siringi za Uganda ng'asuubira nti bajja kutuleka nga tuli balamu."],
    [164,"The thieves took all the computers from our office.","Ababbi baatwala kompyuta zonna okuva mu woofiisi yaffe."],
    [165,"I had gone to the bar when the robbers broke into my house.","Nnali enze mu bbaala ababbi we baamenyera ne bayingira mu nju yange."],
    [166,"His car was stolen from the supermarket parking lot.","Emmotoka ye yabbibwa okuva mu kifo awasimba ebidduka ku ssemaduuka."],
    [167,"She was worried that she was being followed by thieves.","Yali mweraliikirivu nti yali alondoolwa ababbi."],
    [168,"The deceased was very troubled before he passed on because of the bank loan.","Omugenzi yali mweraliikirivu nnyo bwe yali tannafa olw'ebbanja lye yalina mu bbanka."],
    [169,"He suggested to his wife that they should adopt a baby.","Yaleeta ekiteeso eri mukyala we nti beebonnanyeeyo omwana."],
    [170,"My father is an engineer by profession.","Taata wange yakuguka mu bwa yinginiya."],
    [171,"My father has been promoted to a position of a regional manager in his company.","Kitange alinnyisiddwa eddaala okutuuka ku maneja w'ekitundu mu kkampuni mw'akolera."],
    [172,"The manager ordered me to take two weeks off work.","Maneja yandagira okuwummula ku mulimu okumala wiiki bbiri."],
    [173,"He is under a lot of pressure from the manager to submit his monthly report.","Maneja amutaddeko akazito aweeyo alipoota ye ey'omwezi."],
    [174,"She said that her husband was murdered at his retirement party.","Yagamba nti bba yatemulwa ku kabaga ke ak'okuwummula emirimu."],
    [175,"She wrote a letter to the manager expressing her dissatisfaction about her low salary.","Yawandiikira maneja ebbaluwa eraga obutali bumativu bwe ku musaala omutono gw'afuna."],
    [176,"Her boss has been forcing her to steal money from the company on his behalf.","Mukama we abaddenga amukaka okumubbira ssente okuva mu kkampuni."],
    [177,"She lied about her mother's sickness.","Yalimba ku bikwatagana n'obulwadde bwa nnyina."],
    [178,"He was arrested from his office this afternoon.","Akwatiddwa okuva mu woofiisi ye ettuntu lya leero."],
    [179,"His sister is being prosecuted for trespassing on private property.","Mwannyina avunaanibwa gwa kusaalimbira ku bintu bitali bya lukale."],
    [180,"I was born in Eastern Uganda.","Nnazaalibwa mu Buvanjuba bwa Uganda."],
    [181,"He pleaded guilty to the murder charges.","Yakkiriza okuzza omusango gw'obutemu."],
    [182,"My sister deceived me that she had broken her arm.","Muganda wange/mwannyinaze yannimba nti yali amenyese omukono."],
    [183,"I accepted his job offer because the salary is good.","Nnakkiriza okukola omulimu gwe kubanga omusaala mulungi."],
    [184,"My cousin was charged with armed robbery.","Kizibwe wange yavunaaniddwa gwa kubbisa mmundu."],
    [185,"He was arrested for trying to cash a forged cheque at the bank.","Yakwatibwa ng'agezaako okufuna ssente ng'akozesa cceeke enjingirire mu bbanka."],
    [186,"He could not figure out where the bad smell in the house was coming from.","Yali tasobola kukenga wa ekivundu ekyali mu nnyumba we kyali kiva."],
    [187,"My sister's murderers have never been arrested.","Abaatemula muganda wange/mwannyinaze tebakwatibwanga."],
    [188,"He refused to reduce the price of his machines despite complaints from customers.","Yagaana okukendeeza ku bbeeyi y'ebyuma bye newankubadde ng'abaguzi beemulugunya."],
    [189,"She was planning to kill her husband while he was asleep.","Yali ateekateeka okutta bba nga yeebase."],
    [190,"He was transferred to another police station in the city.","Yatwalibwa ku poliisi endala mu kibuga."],
    [191,"He spent a lot of money on hiring lawyers to defend his son in court.","Yasaasaanya ssente nnyingi nnyo ku kupangisa bannamateeka ab'okuwolereza mutabani we kkooti."],
    [192,"My brother is suffering from malaria.","Muganda wange/mwannyinaze omusujja gw'ensiri gumuluma."],
    [193,"Our father succumbed to tuberculosis this morning.","Kitaffe afudde obulwadde bw'akafuba amakya ga leero."],
    [194,"She has been struggling to provide for her children since her husband died.","Abaddenga alafuubana okulabirira abaana be okuva bba lwe yafa."],
    [195,"Her daughter wants to upgrade from a certificate to a diploma.","Muwala we ayagala kweyongerako ddaala okuva ku satifikeeti okutuuka ku dipulooma."],
    [196,"She has saved eight hundred thousand Ugandan shillings for her son's tuition.","Aterese siringi za Uganda emitwalo kinaana nga za bisale bya mutabani we eby'okusoma."],
    [197,"She appealed to her relatives to support her children.","Yeegayirira ab'eanda ze okuyambira ku baana."],
    [198,"She lost her husband in a car accident two years ago.","Yafiirwa bba mu kabenje k'emmotoka emyaka ebiri egiyise."],
    [199,"Our neighbour was murdered on his way home last night.","Muliraanwa waffe yatemuddwa ekiro ekyayise bwe yabadde akomawo awaka."],
    [200,"My sister resigned from her job three weeks ago.","Muganda wange/mwannyinaze yalekulira ku mulimu gwe wiiki ssatu eziyise."],
    [201,"He conducted a fingerprint examination at the crime scene.","Yeekenneenya ebinkumu mu kifo omusango we gwazzibwa."],
    [202,"She wants her wedding reception to be in the restaurant gardens.","Ayagala asembereze abagenyi b'embaga ye mu bimuli by'ekirabo ky'emmere."],
    [203,"The doctor has put my mother on oxygen to support her in breathing.","Ddokita atadde maama ku byuma ebissirizibwamu okumuyambako okussa."],
    [204,"The waitress who served us lunch is very joyous.","Omuweereza eyatugabudde ekyemisana musanyufu nnyo."],
    [205,"She communicates with her husband through social media.","Awuliziganya ne bba okuyita ku mikutu emigattabantu."],
    [206,"I have never given my husband a reason not to trust me.","Baze simuwanga nsonga emuleetera kumbuusabuusa."],
    [207,"She wants to be a successful business woman in the next five years.","Ayagala kubeera mukazi munnabyabusuubuzi omututumufu mu myaka etaano egijja."],
    [208,"He reported about the recent floods in the district.","Yayogedde ku mataba agaali mu diisitulikiti gye buvuddeko."],
    [209,"My sister was beaten by the policemen for not wearing a facemask.","Abapoliisi baakuba muganda wange/mwannyinaze olw'obutayambala kakookolo."],
    [210,"He was arrested for carrying two passengers on his motorcycle.","Yakwatibwa lwa kutikka basaabaze babiri ku ppikippiki ye."],
    [211,"He took pictures at my birthday party.","Yakuba ebifaananyi ku kabaga kange ak'amazaalibwa."],
    [212,"My uncle had spent six years in prison.","Kkojjange/kitange omuto yali amaze emyaka mukaaga mu kkomera."],
    [213,"She will rule the country for the remaining two years of the late president's term.","Ajja kufuga eggwanga okumala emyaka ebiri egyasigala ku kisanja kya pulezidenti omugenzi."],
    [214,"She has been hired on a temporary basis.","Aweereddwa omulimu ku nkola ey'ekiseera."],
    [215,"He spreads rumours to cause fights among his friends.","Asaasaanya eambo okuleetera mikwano gye okulwanagana."],
    [216,"She is worried about the presentation tomorrow.","Mweraliikirivu ku kwogera kw'enkya."],
    [217,"Everyone expects him to run for another term in the presidential race.","Buli muntu amusuubira okwesimbawo okuvuganya ku kisanja kw'obwa pulezidenti ekirala."],
    [218,"She defends her country with so much passion.","Awolereza eggwanga lye n'okwagala okuyitirivu."],
    [219,"He has been appointed as the company's new managing director.","Ateereddwawo nga ssenkulu wa kkampuni omuggya."],
    [220,"He was accused of embezzling one hundred million Ugandan shillings from our company.","Yavunaanibwa ogw'okukumpanya obukadde kikumi obwa siringi za Uganda okuva mu kkampuni yaffe."],
    [221,"My neighbour retired from the army last year.","Muliranwa wange yawummula amagye omwaka oguwedde."],
    [222,"My son wants to be a doctor when he grows up.","Mutabani wange ayagala kubeera ddokita ng'akuze."],
    [223,"Some of the employees are complaining about the manager's new rules.","Abakozi abamu beemulugunya ku mateeka amaggya agaayisiddwa maneja."],
    [224,"The police wanted to know how his wife died.","Poliisi yali eyagala kumanya engeri mukyala we gye yafaamu."],
    [225,"My grandfather's funeral will be held on Wednesday.","Olumbe lwa jjajjange omusajja lujja kwabizibwa ku Lwokusatu."],
    [226,"He is complaining of pain in his chest.","Yeemulugunya ku bulumi bw'awulira mu kifuba."],
    [227,"She contracted coronavirus from her husband.","Akawuka ka corona yakaggya ku bba."],
    [228,"She was put on oxygen immediately after she reached the hospital.","Yateekebwa ku kyuma ekiyambako okussa amangu ddala nga y'akatuusibwa mu ddwaliro."],
    [229,"He was struggling to breathe before his death.","Yali alwanagana n'okussa nga tannaba kufa."],
    [230,"The doctor pronounced her dead on arrival at the hospital.","Ddokita yamulangirira nti afudde nga yaakatuusibwa mu ddwaliro."],
    [231,"My neighbour succumbed to coronavirus yesterday.","Muliraanwa wange yafudde akawuka ka kkolona eggulo."],
    [232,"I went to the market to buy tomatoes this morning.","Nnagenze mu katale okugulayo ennyaanya amakya ga leero."],
    [233,"My mother sells fish at the village market.","Maama atunda byennyanja mu katale k'oku kyalo."],
    [234,"That district chairperson advised the locals to sanitize all surfaces to kill the coronavirus.","Oyo ssentebe wa disitulikiti yawa abatuuze amagezi okufuuyira buli wakwatibwa okusobola okutta akawuka ka kkolona."],
    [235,"My sister's school is closed for renovations.","Essomero lya muganda wange/mwannyinaze lyaggaddwa okusobola okuliddaabiriza."],
    [236,"My wife has tested positive for coronavirus.","Mukyala wange azuuliddwamu akawuka ka kkolona."],
    [237,"She has been admitted to the hospital for malaria.","Aweereddwa ekitanda mu ddwaliro lwa musujja gwa nsiri."],
    [238,"She has vowed to work very hard on the new water project.","Yeeyamye okukola ennyo ku puloojekiti y'amazzi empya."],
    [239,"She is a Japanese politician.","Munnabyabufuzi Omujapaani."],
    [240,"Her introduction ceremony has been cancelled because of the pandemic.","Omukolo gwe ogw'okwanjula gusaziddwamu olw'ekirwadde ky'ekikungo."],
    [241,"My boss asked some of us to work from home to avoid crowding at the office.","Mukama wange yasaba abamu ku ffe okukolera awaka okuziyiza omujjuzo mu woofiisi."],
    [242,"She spent a lot of money on the tickets to the soccer game.","Yasaasaanyiza ssente nnyingi ku ttikiti ez'okugenda okulaba omupiira."],
    [243,"Her husband condemned her for leaving the children to play near the road.","Bba yamunenya olw'okuleka abaana okuzannyira okumpi n'oluguudo."],
    [244,"He works very hard because he doesn't want his family to lack.","Akola nnyo kubanga tayagala famire ye kujula."],
    [245,"The doctor had to take a blood sample to test for malaria.","Ddokita yalina okuggya omusaayi ku mulwadde okukeberamu omusujja gw'ensiri."],
    [246,"He is a very talented dancer.","Alina ekitone mu kuzina amazina."],
    [247,"Our headteacher has organized a fundraiser for the new school swimming pool.","Omukulu w'essomero lyaffe ategese okusonda ensimbi z'okuzimba ekidiba ky'essomero ekiwugirwamu ekiggya."],
    [248,"This is his second term in office.","Kino kye kisanja kye ekyokubiri mu woofiisi."],
    [249,"She is a wise and capable leader for this country.","Mukulembeze mugezi era nga alina obusobozi okufuga eggwanga lino."],
    [250,"For the past nine months, she has been doing research on the coronavirus.","Mu myezi omwenda egiyise, abadde akola okunoonyereza ku kawuka ka kkolona."],
    [251,"He has retired from wrestling.","Awummudde omuzannyo gw'ekigwo."],
    [252,"His opponents were happy when he withdrew from the presidential race.","Abamuvuganya baali basanyufu bwe yawanduka mu lwokaano lw'okuvuganya ku bwa pulezidenti."],
    [253,"I took over the family poultry business from my father.","Nnatandika okuddukanya bizinensi ya famire ey'okulunda enkoko okuva ku kitange."],
    [254,"The employees have requested the manager to increase their salaries.","Abakozi basabye maneja okubongeza omusaala."],
    [255,"She considered people from different backgrounds.","Yafumiitiriza ku bantu ab'ensibuko ez'enjawulo."],
    [256,"He has spoken out against the oppression of locals in his area.","Avumiridde eky'okuyigganya abatuuze mu kitundu kye."],
    [257,"He left his political party over issues of favouritism.","Yava mu kibiina kye eky'ebyobufuzi lwa nsonga za kyekubiira."],
    [258,"He won his opponent by over ten thousand votes in the elections.","Yawangula amuvuganya n'obululu obusoba mu mutwalo omulamba mu kulonda."],
    [259,"My mother is one of the candidates in the race for district speaker.","Mmange y'omu ku beesimbyewo okuvuganya ku kifo ky'omukubiriza w'olukiiko lwa diisitulikiti."],
    [260,"She spoke with one of our journalist about her new project.","Yayogerako n'omu ku bannamawulire ku puloojekiti ye empya."],
    [261,"He has refused to defend himself against the fraud allegations.","Agaanye okwewozaako ku bigambibwa nti yeenyigira mu bukumpanya."],
    [262,"She funded her campaigns during the national elections.","Yavujjirira kkampeyini ze mu kulonda okwaliwo mu ggwanga."],
    [263,"She has been voted a woman Member of Parliament for her constituency.","Alondeddwa ng'Omubaka wa Paalimenti omukazi ow'ekitundu kye."],
    [264,"He is assured of winning the mayoral elections because he has many supporters.","Mukakafu nti agenda kuwangula okuvuganya ku kifo ky'obwa mmeeya kubanga alina abawagizi bangi."],
    [265,"She makes friends effortlessly everywhere she goes.","Ayanguyirwa okukola emikwano buli gy'alaga."],
    [266,"She has been working for that organization for over ten years.","Abadde akolera ekitongole ekyo okumala emyaka egisoba mu kkumi."],
    [267,"He was the former vice president of the country.","Ye yali omumyuka wa pulezidenti w'eggwanga."],
    [268,"He called her name to get her attention during the meeting.","Yayita erinnya lye okusobola asobole okumuwuliriza mu lukiiko."],
    [269,"He planted trees along the riverbanks to prevent flooding during the rainy season.","Yasimba emiti ku mbalama z'emigga okuziyiza amataba mu biseera eby'enkuba."],
    [270,"The school allowed him to study for free because he is the best performing student.","Essomero lyamukkiriza okusomera ku bwereere kubanga ye muyizi asinga banne okukola obulungi."],
    [271,"He attended the fundraising event.","Yeetaba ku mukolo ogw'okusonda ssente."],
    [272,"He helps the needy people in that community.","Ayamba abali mu bwetaavu mu kitundu ekyo."],
    [273,"He is very popular among the locals in this area.","Amanyikiddwa nnyo mu batuuze b'omu kitundu kino."],
    [274,"He told us funny stories about his childhood.","Yatunyumiza emboozi ezisesa ezikwata ku buto bwe."],
    [275,"They accused him of corruption.","Baamuvunaana gwa bukenuzi."],
    [276,"He encouraged the youth to start small businesses to support themselves.","Yakubiriza abavubuka okutandikawo obulimu obutono okusobola okweyimirizaawo."],
    [277,"I want to expand my poultry business so that I can get more profits.","Njagala kugaziya bizinensi yange ey'okulunda enkoko okusobola okwongera ku magoba ge nfuna."],
    [278,"Everyone in this organization knows that the manager is a very hardworking man.","Buli omu mu kitongole kino akimanyi nti maneja musajja mukozi nnyo."],
    [279,"He smokes at least five cigarettes everyday.","Afuuweeta waakiri eminwe gya ssigala etaano buli lunaku."],
    [280,"He stayed with me for three months when he was evicted from his house.","Yabeera nange okumala emyezi esatu ng'agobeddwa mu nju ye."],
    [281,"She spread a rumour that I have been stealing money from the company.","Yasaasaanya olugambo nti mbadde nziba ssente okuva mu kkampuni."],
    [282,"He revealed the bakery's recipe to its biggest competitor.","Yabikkulira abasinga okuvubavuganya endagiriro y'okufumba eya bbeekeeri yaabwe."],
    [283,"I supported him throughout his sickness last month.","Nnamuwagira mu kiseera ky'obulwadde kyonna omwezi oguyise."],
    [284,"He was caught on camera stealing things from the supermarket.","Yakwatibwa ku kkamera ng'abba ebintu okuva mu ssemaduuka."],
    [285,"She requested us to forget what we lost in the fire.","Yatusaba okwerabira bye twafiirwa mu muliro."],
    [286,"He explained why he arrived at home late last night.","Yannyonnyodde lwaki yatuuse kikeerezi eka ekiro ekyayise."],
    [287,"She denied eating my leftover food.","Yeegaana eky'okulya amawolu gange."],
    [288,"You should stand six feet away from other people to protect yourself against coronavirus.","Olina okuyimirira ffuuti mukaaga okuva awali abantu abalala okwetangira okufuna akawuka ka kkolona."],
    [289,"He held her in his arms the whole night.","Yamuwambaatira mu mikono gye okumala ekiro kiramba."],
    [290,"She ran to hug her father when he came back home from work.","Yadduka n'awambaatira kitaawe ng'akomyewo okuva ku mulimu."],
    [291,"The baby smiled when I carried her.","Omwana yamwenya nga mmusitudde."],
    [292,"That child will continue crying until his mother holds him.","Omwana oyo ajja kugenda mu maaso n'okukaaba okutuusa nga nnyina amusitudde."],
    [293,"I hug my son every morning before he goes to school.","Mutabani wange mmuwambaatira buli ku makya nga tannagenda ku ssomero."],
    [294,"His daughter cries every time a stranger carries her.","Muwala we akaaba buli lw'asitulwa omuntu gw'atamanyi."],
    [295,"Parents should hug their children to build a bond with them.","Abazadde balina okuwambaatira abaana baabwe okusobola okuteekawo enkwatagana wakati waabwe."],
    [296,"I feel so happy when my husband hugs me.","Mpulira essanyu nga baze ampambaatidde."],
    [297,"My mother loves hugging us every time she comes back from work.","Maama ayagala okuwambaatira buli lw'akomawo okuva ku mulimu."],
    [298,"She smiled when he held her hand in the cinema.","Yamwenya bwe yamukwata mu mukono nga bali mu kibanda kya ffirimu."],
    [299,"That disease has made him very sensitive to everything around him.","Endwadde eyo emuleetedde okubeera nga akosebwa buli kimwetoolodde."],
    [300,"She jumped away when he tried to hug her.","Yabuuka n'avaawo bwe yagezaako okumuwambaatira."],
    [301,"Her son is ten years but he still has trouble speaking.","Mutabani we alina emyaka kkumi naye akyalina obuzibu mu kwogera."],
    [302,"At twelve months, your baby should be able to see pretty clearly.","Ku myezi kkumi n'ebiri, omwana wo alina okuba ng'asobola okulaba obulungi ddala."],
    [303,"She had an abortion because she knew that she couldn't raise a baby on her own.","Yaggyamu olubuto kubanga yakimanya nti tasobola kukuza mwana ku lulwe yekka."],
    [304,"Some youths are ignorant about the effects of having unprotected sex.","Abavubuka abamu tebalina kye bamanyi ku bya kwegatta nga tebambadde bupiira."],
    [305,"I am four months pregnant.","Nnina olubuto lwa myezi ena."],
    [306,"She went to the party with her friends.","Yagenda ku kabaga ne mikwano gye."],
    [307,"Teenagers should be taught how to protect themselves from unwanted pregnancies.","Abaana abaakavubuka balina okusomesebwa ku ngeri y'okwekuumamu okuva eri embuto ze bateeyagalidde."],
    [308,"Most parents are shy to talk to their children about sex.","Abazadde abasinga batya okwogerako n'abaana baabwe ku bikwatagana n'okwegatta."],
    [309,"She is old enough to make her own decisions.","Mukulu ekimala okukola okwesalirawo."],
    [310,"In the old days, aunties taught their young girls how to behave.","Edda, ba ssenga baasomesa bawala baabwe engeri y'okweyisaamu."],
    [311,"It's a miracle that I am here.","Kyamagero okuba nga ndi wano."],
    [312,"The organisation distributes free condoms to students' hostels in universities.","Ekitongole kigaba obupiira obw'obwereere eri ebisulo by'abayizi mu zi yunivaasite."],
    [313,"Some women abort because they feel like they are not ready to have children.","Abakazi abamu baggyamu embuto kubanga balowooza nti si beetegefu kuzaala baana."],
    [314,"In some cultures, women are expected to stay home and raise their children.","Mu buwangwa obumu, abakazi baasuubirwa okusigala awaka bakuze abaana baabwe."],
    [315,"The science syllabus gets broader as one advances in education level.","Ebisomesebwa mu ssaayansi bigenda bigaziwa buli omuntu lwe yeeyongerayo ku ddaala ly'ebyenjigiriza eddala."],
    [316,"In some countries, the number of children a couple has depends on their income.","Mu mawanga agamu, omuwendo gw'abaana abafumbo be bazaala gusinziira ku nfuna yaabwe."],
    [317,"Having unprotected sex is one of the leading causes of unwanted pregnancies.","Okwegatta awatali kwetangira kye kimu ku bisinga okuvaako embuto eziteetaagibwa."],
    [318,"I bought a packet of three condoms at just two thousand Ugandan shillings.","Nnagula akapakiti k'obupiira busatu ku nkumi bbiri zokka eza siringi za Uganda."],
    [319,"She swallowed tablets to get rid of her pregnancy.","Yamira amakerenda okuggyamu olubuto."],
    [320,"Some girls nowadays abort out of fear of being single mothers.","Abawala abamu ensangi zino baggyamu embuto olw'okutya okukuza abaana bokka."],
    [321,"My friend passed away due to excessive bleeding after an unsafe abortion.","Mukwano gwange yafa lwa kuvaamu musaayi mungi oluvannyuma lw'okuggyamu olubuto mu ngeri ey'obulabe."],
    [322,"I am attending a free business class for the next five days.","enda kubeera mu musomo gw'ebyobusuubuzi ogw'obwereere ennaku ttaano ezijja."],
    [323,"She uses a fake name when talking to strangers.","Akozesa erinnya ery'ekikwangala ng'ayogera n'abantu b'atamanyi."],
    [324,"I was in so much pain when I broke my arm.","Nnali mu bulumi bungi bwe nnamenyeka omukono."],
    [325,"She was shy to wear her swimming costume at the pool.","Yalina ensonyi okwambala akagoye ke akawugirwamu ng'ali ku kidiba ekiwugirwamu."],
    [326,"She gave birth to her firstborn when she was just eighteen years old.","Yazaala omwana we omuggulanda ng'alina emyaka kkumi na munaana gyokka."],
    [327,"You can get that medicine at any pharmacy in the area.","Osobola okufuna eddala eryo ku ttundiro ly'eddagala lyonna mu kitundu kyo."],
    [328,"She advised us to have protected sex to prevent contracting sexually transmitted diseases.","Yatuwa amagezi okukozesa obupiira nga twegatta okwewala okukwatibwa endwadde ezitambuzibwa okuyita mu kwegatta."],
    [329,"Many couples nowadays have sex before they are married.","Abaagalana bangi ensangi zino beegatta nga tebannafumbiriganwa."],
    [330,"She contracted gonorrhea from her ex-boyfriend last year.","Yakwatibwa enziku okuva ku mulenzi gwe yayawukana naye omwaka oguwedde."],
    [331,"She hates talking about her divorce.","Yakyawa okwogera ku kugattululwa kwe."],
    [332,"My mother taught me how to cook fish yesterday.","Maama yanzigirizza okufumba ekyennyanja eggulo."],
    [333,"That organization awards scholarships to the best students.","Ekitongole ekyo kiwa sikaala abaana abasinze bannaabwe."],
    [334,"He has donated sanitary towels to some of the girls in this village.","Agabidde abamu ku bawala b'oku kyalo kino ppaadi."],
    [335,"Some teenagers do not know anything about reproductive health.","Abaana abamu abaakavubuka tebalina kye bamanyi ku bikwatagana ku bya bulamu bya kuzaala."],
    [336,"Some children dropped out of school during the pandemic.","Abaana bamu baawanduka mu ssomero mu biseera by'ekirwadde ky'ekikungo."],
    [337,"Some children are forced to work so as to raise money for school fees.","Abaana abamu bakakibwa okukola okusobola okufuna ssente z'ebisale by'essomero."],
    [338,"She resorted to farming because she lost her job during the pandemic.","Yadda mu bulimi kubanga yafiirwa omulimu gwe mu biseera by'ekirwadde ky'ekikungo."],
    [339,"He has no source of income because he lost his job during the pandemic.","Talina mw'ajja nsimbi kubanga yafiirwa omulimu gwe mu biseera by'ekirwadde ky'ekikungo."],
    [340,"That child has been selling bananas along the roadside for six months.","Omwana oyo abaddenga atunda amatooke ku luguudo okumala emyezi mukaaga."],
    [341,"You could be suspended if you miss work without a valid reason.","Oyinza okuyimirizibwa ku mulimu singa tojja ku mulimu awatali nsonga etaliimu ggumba."],
    [342,"He takes care of his younger siblings because their parents died in a car accident.","Alabirira bato be ababiri kubanga bazadde baabwe baafiira mu kabenje k'emmotoka."],
    [343,"Some young girls are being forced into early marriages.","bawala abamu abato bakakibwa okugenda mu bufumbo nga bakyali bato."],
    [344,"He walks around the village every day selling the pancakes that his mother makes.","Atambula okwetoloola ekyalo buli lunaku ng'agenda atunda kabalagala nnyina gw'akola."],
    [345,"I do not have enough money to pay for my children's school fees this term.","Sirina ssente zimala kusasulira baana bange bisale bya ssomero olusoma luno."],
    [346,"Sending children to school improves their future.","Okusindika abaana ku ssomero kibalongooseza ebiseera byabwe eby'omu maaso."],
    [347,"She has written a report on the monthly activities conducted at the office.","Awandiise alipoota ku mirimu egyakolebwa ku woofiisi egy'omwezi."],
    [348,"The village chairperson said that he will not contest in the next term.","Ssentebe w'ekyalo yagamba nti tajja kuvuganya ku kisanja ekijja."],
    [349,"He has been voted district chairperson for the last three terms.","Abadde alondebwa okubeera ssentebe wa disitulikiti okumala ebisanja bisatu kati."],
    [350,"He is a member of the ruling political party.","Mmemba wa kibiina ekiri mu buyinza."],
    [351,"He is a doctor at one of the biggest hospitals in this country.","Ddokita mu limu ku malwaliro agasinga obunene mu ggwanga lino."],
    [352,"She is a sports news reporter.","Asaka mawulire ga bya mizannyo."],
    [353,"He contested for guild president in last year's campus elections.","Yavuganya ku kifo ky'okukulira abayizi ba yunivaasite mu kulonda kw'omwaka oguwedde."],
    [354,"I am not affiliated with any political party in this country.","Sirina kibiina kya byabufuzi kye ndimu mu ggwanga lino."],
    [355,"She resigned from her job because they were paying her little money.","Yalekulira ku mulimu kubanga baali bamuwa obusente butono."],
    [356,"She has several businesses which are hiring some of the locals in that area.","Alina bizinensi nnyingi eziwa abatuuze abamu ab'ekiundu ekyo emirimu."],
    [357,"She is sure that she passed her examinations.","Yeekakasa nti ebigezo bye yabiyita."],
    [358,"He donated five million Ugandan shillings to the orphanage yesterday.","Yatonedde ekifo ekirabirira ba mulekwa obukadde bwa siringi za Uganda butaano eggulo."],
    [359,"Some youths fail to get jobs after graduation.","Abavubuka abamu balemererwa okufuna emirimu oluvannyuma lw'okutikkirwa."],
    [360,"There will be peace in this country if all the tribes work together.","Wajja kubaawo emirembe mu ggwanga lino singa amawanga gonna gakolaganira wamu."],
    [361,"Our opponents in the football match were disqualified for being indiscipline.","Abatuvuganya mu muzannyo gw'okusamba omupiira baasalibwako olw'okusiiwuuka empisa."],
    [362,"His opponent was seen campaigning from house to house.","Amuvuganya yalabiddwako ng'akuba kakuyege wa nju ku nju."],
    [363,"He lost the presidential flag bearer race for his political party.","Yawangulwa mu kamyufu k'ekibiina kye ak'anaakwatira ekibiina kye bendera ku bwa pulezidenti."],
    [364,"He is planning to contest for village chairperson in the coming elections.","  Ateekateeka okuvuganya ku bwa ssentebe bw'ekyalo mu kulonda okujja."],
    [365,"He won his opponent in the elections for village chairperson.","Yawangula amuvuganya mu kulonda ssentebe w'ekyalo."],
    [366,"The current village chairperson had the highest number of votes in this election.","Ssentebe w'ekyalo aliko kati ye yafuna omuwendo gw'obululu ogusinga obungi mu kulonda kuno."],
    [367,"He withdrew from the mayoral race because of finances.","Yawanduka mu kuvuganya ku kifo ky'obwa mmeeya lwa nsonga za nsimbi."],
    [368,"He lost in the elections for district youth councillor.","Yawangulwa mu kulonda kwa kkansala wa disitulikiti ow'abavubuka."],
    [369,"She does not have the money to buy a car.","Talina ssente za kugula mmotoka."],
    [370,"He has been nominated for another presidential term.","Asunsuddwa okuvuganya ku kisanja ky'obwa pulezidenti ekirala."],
    [371,"He pledged five million Ugandan shillings towards the District Widows Association.","Yeeyama okuwa obukaddde bwa siringi za Uganda butaano eri Ekibiina kya Bannamwandu ekya Disitulikiti."],
    [372,"She has started her campaign for the position of district councillor.","Atandise kakuyege w'okunoonya akalulu akanaamutuusa ku bwa kkansala bwa disitulikiti."],
    [373,"He has injected more money in his businesses in the area to help the women increase house hold income.","Ayongedde okuteeka ssente mu bizinensi ze eziri mu kitundu okuyambako abakyala okwongera ku nnyingiza yaabwe mu maka."],
    [374,"The manager hired her out of pity that she is a single mother.","Maneja yamuwa omulimu olw'okumusaasira okuba nga y'alabirira abaana be ku bwa nnamunigina."],
    [375,"His brother died in a car accident last month.","Muganda we yafiira mu kabenje ka mmotoka omwezi oguwedde."],
    [376,"He is representing our school in the national interschool marathon.","Akiikirira essomero lyaffe mu misinde gy'amasomero egy'eggwanga lyonna."],
    [377,"She came second in the swimming competition yesterday.","Yabadde waakubiri mu mpaka z'okuwuga eggulo."],
    [378,"He donates money to the orphanage every year.","Buli mwaka atonera ekifo ekirabirira ba mulekwa ssente."],
    [379,"She was conned ten million Ugandan shillings this morning.","Afereddwa obukadde bwa siringi za Uganda kkumi amakya ga leero."],
    [380,"The employees of this organization are dedicated to serving the clients with integrity.","Abakozi b'ekitongole kino beewaayo okuweereza ba kasitooma baabwe n'obwesimbu."],
    [381,"He is a member of the board of governors of that organization.","Mmemba wa kakiiko akafuzi ak'ekitongole ekyo."],
    [382,"The leader encouraged the mourners to support the children of the deceased.","Omukulembeze yakubiriza abakungubazi okuyamba abaana b'omugenzi."],
    [383,"My sister succumbed to cancer last year.","Muganda wange/mwannyinaze yafa ekirwadde kya kookolo omwaka oguwedde."],
    [384,"He came to work just two days after his wifes funeral.","Yajja okukola nga wayise ennaku bbiri zokka oluvannyuma lw'olumbe lwa mukyala we."],
    [385,"He died of malaria.","Yafa musujja gwa nsiri."],
    [386,"My brother was among the soldiers who were deployed this morning.","Muganda wange/mwannyinaze y'omu ku bajaasi abaayiriddwa mu kitundu enkya ya leero."],
    [387,"He hired a musician to sing at his wedding.","Yapangisa omuyimbi okuyimba ku mbaga ye."],
    [388,"My partner and I won the national singing competitions.","Nze ne munnange twawangudde empaga z'eggwanga ez'okuyimba."],
    [389,"He is suffering from whooping cough.","Yalwala akalaakiiro."],
    [390,"The injured part of her arm was bandaged.","Ekitundu ky'omukono gwe ekyafunye obuvune kyasibiddwako bbandegi."],
    [391,"He moved all his property into the new house.","Ebintu bye byonna yabisengulira mu nnyumba empya."],
    [392,"The boys who were fighting in the school dormitory were suspended.","Abalenzi abaali balwanira mu kisulo ky'essomero baagobeddwa."],
    [393,"She went to the hospital to test for breast cancer.","Yagenda mu ddwaliro okwekebeza kookolo w'amabeere."],
    [394,"He works for an international company.","Akolera kkampuni y'ensi yonna."],
    [395,"She insisted on carrying out an abortion.","Yalemera ku ky'okuggyamu olubuto."],
    [396,"The children will depart for the school tour at ten o'clock in the morning.","Abaana bajja kusimbula ssaawa nnya ez'oku makya okugenda mu kulambula kw'essomero."],
    [397,"She was able to join the school of her first choice.","Yasobola okwegatta ku ssomero gye yateeka okusaba kwe okusooka."],
    [398,"He had a rough experience with a client today.","Yayise mu kaseera akazibu ng'akola ku kasitooma olwaleero."],
    [399,"She became very depressed after testing positive for the Human Immunodeficiency Virus.","Yajjula ennyiike nnyingi nnyo oluvannyuma lw'okuzuulibwamu akawuka akalwaza mukenenya."],
    [400,"He has some relatives living in Germany.","Alina ab'eanda ababeera mu Bugirimaani."],
    [401,"His goods were cleared at the Kenyan border.","Ebyamaguzi bye byayisibwa ku nsalo ya Kenya."],
    [402,"Despite his busy schedule, he spares time for his family.","Newankubadde ng'abeera n'emirimu mingi, afissizaawo famire ye obudde."],
    [403,"Civil workers are paid their pension on retirement.","Abakozi ba gavumenti basasulwa akasiimo kaabwe nga bawummudde emirimu."],
    [404,"He promised to pay his rent by Wednesday this week.","Yasuubiza okusasula ebisale by'ennyumba ye ku Lwokusatu lwa wiiki eno."],
    [405,"She had a different opinion on that matter.","Yalina endowooza ey'enjawulo ku nsonga eyo."],
    [406,"She revised the notes with her friend.","Yejjukanya ebiwandiike ng'ali ne mukwano gwe."],
    [407,"The chairman of electoral commission organises, conducts and supervises elections.","Ssentebe w'akakiiko k'ebyokulonda ateekateeka, addukanya wamu n'okulondoola okulonda."],
    [408,"She is not consistent at keeping time.","Tamanyi bya kukwata budde."],
    [409,"The president had a meeting with his new cabinet.","Pulezidenti yatuuza olukiiko n'olukiiko lwe olupya."],
    [410,"Most of the leaders get into power through elections.","Abakulembeze abasinga bajja mu buyinza oluvannyuma lw'okulondebwa."],
    [411,"How did Uganda benefit from acquiring her independence?","Uganda yaganyulwa ki mu kufuna obwetwaze?"],
    [412,"Who was the first president of Uganda?","Ani yali pulezidenti wa Uganda eyasooka?"],
    [413,"He usually falls asleep in the classroom during the afternoon lessons.","Atera nnyo okusumagirira mu kibiina mu kusoma okw'olweggulo."],
    [414,"She has been miserable since her husband's death.","Abaddenga mu nnaku okuva bba lwe yafa."],
    [415,"Some old people are not on social media.","Abakadde abamu tebali ku mikutu migattabantu."],
    [416,"His wife travelled to New York City.","Mukyala we yagenda mu kibuga kye New York."],
    [417,"Sex education among children is a very sensitive issue.","Okusomesa abaana ku byokwegatta nsonga ya kwegendereza nnyo."],
    [418,"The manager fired some employees due to indiscipline.","Maneja yagoba abamu ku bakozi lwa kusiiwuuka mpisa."],
    [419,"He dreams of becoming a pilot someday.","Aloota okubeera omuvuzi w'ennyonyi olunaku olumu."],
    [420,"One can quarantine oneself from home.","Omuntu asobola okweyawulira mu maka ge."],
    [421,"His name was not found in the voter's register.","Erinnya lye teryasangibwa mu nkalala z'abalonzi."],
    [422,"Some institutions provide skills to students.","Amatendekero agamu gawa abayizi obukugu."],
    [423,"Her brother drove her to the airport.","Mwannyina yamuvuga okumutwala ku kisaawe ky'ennyonyi."],
    [424,"He went to print some of the photographs on his phone.","Yagenze kufulumya ebimu ku bifaananyi ebiri ku ssimu ye."],
    [425,"Most of her friends attended her wedding launch.","Mikwano gye egisinga gyetaba ku kutongoza enteekateeka z'embaga ye."],
    [426,"You have a right to privacy.","Olina eddembe ly'okwekisiza."],
    [427,"He found it hard to initiate a conversation with her.","Kyamuzibuwalira okutandika okunyumya naye."],
    [428,"I do not have a credit card.","Sirina kkaadi egulirwako ebintu ku bbanja."],
    [429,"She decided to wear two jackets since it was very cold.","Yasalawo okwambala ebizibaawo bibiri kubanga obudde bwali bunnyogovu nnyo."],
    [430,"He went with his girlfriend to the beach.","Yagenda ne muganzi we ku lubalama."],
    [431,"He killed the old woman with the motive of taking over her land.","Yatta omukazi omukadde n'ekigendererwa ky'okweddiza ettaka lye."],
    [432,"Health experts warned people against violating the coronavirus Standard Operating Procedures.","Ba kakensa mu byobulamu baalabula abantu ku ky'okumenya Enkola n'Emitendera Ebigobererwa mu kutangira okusaasaana kw'akawuka ka kkolona."],
    [433,"He is fond of making jokes.","Ayagala nnyo okusaaga."],
    [434,"She thought of dropping out of school.","Yalowooza ku ky'okuwanduka mu ssomero."],
    [435,"His company employees over fifty employees.","Kkampuni ye ekozesa abakozi abasoba mu makumi ataano."],
    [436,"She was coming from the bank when the thief robbed her.","Yali ava mu bbanka omubbi we yamunyagira."],
    [437,"Parents should keep their children safe.","Abazadde balina okukuuma abaana baabwe nga tebafunye buzibu."],
    [438,"Her parents warned her against moving at night.","Bazadde be baamulabula ku ky'okutambula ekiro."],
    [439,"She serves her husband food whenever he comes back home.","Agabula bba emmere buli lw'akomawo eka."],
    [440,"Why do doctors wear gloves while giving treatment to patients?","Lwaki abasawo bambala ggiraavu nga bawa abalwadde obujjanjabi?"],
    [441,"Some medical personels are rude to patients.","Abasawo abamu bakambuwalira abalwadde."],
    [442,"Some patients request for financial support from the public through the media.","Abalwadde abamu basaba obuyambi bw'ensimbi okuva mu bantu nga bayita ku mikutu gy'ebyempuliziganya."],
    [443,"He was sued for pretending to be what he is not.","Yawawaabirwa olw'okwefuula ky'atali."],
    [444,"He has been serving in government for thirty years.","Abadde aweereza mu gavumenti okumala emyaka amakumi asatu."],
    [445,"He died from a heart attack.","Yafa lwa mutima gwe kwesiba."],
    [446,"He was born on new year's day.","Yazaalibwa ku lunaku olusooka ku mwaka."],
    [447,"His children fear him because he is very tough.","Abaana be bamutya kubanga mukambwe nnyo."],
    [448,"She managed to adapt to the winter weather.","Yasobola okumanyiira obudde bw'obutiti."],
    [449,"Is it true that some people are naturally born leaders?","Kituufu nti abantu abamu bazaalibwa nga bakulembeze?"],
    [450,"He stays at his brother's place.","Abeera wa muganda we."],
    [451,"Everyone was impressed by his speech.","Buli muntu yasiiimye okwogera kwe."],
    [452,"He learnt how to control his anger.","Yayiga okufuga obusungu bwe."],
    [453,"The police requested her to describe the appearance of the man.","Poliisi yamusaba okunnyonnyola enfaanana y'omusajja."],
    [454,"Her sister is a reserved person.","Muganda we muntu yeezibira nnyo."],
    [455,"She seems to be very interested in music.","Alabika okuba ng'ayagala nnyo eby'okuyimba."],
    [456,"In the past marrying many wives was prestigious in society.","Edda ng'okuwasa abakyala abangi kya kitiibwa mu kitundu."],
    [457,"Her friend died in two thousand nineteen.","Mukwano gwe yafa mu nkumi bbiri mu kkumi na mwenda."],
    [458,"She got married into the royal family.","Yafumbirwa mu famire y'olulyo olulangira."],
    [459,"He is a very handsome young man.","Muvubuka muto omulungi ennyo."],
    [460,"She is more comfortable living alone.","Awulirira emirembe mu kubeera yekka."],
    [461,"During the fight, she bit her friend's ear.","Yaluma okutu kwa mukwano gwe mu kulwanagana."],
    [462,"He first met his wife at a friend's party.","Mukyala we yasooka kumusisinkana ku kabaga ka mukwano gwe."],
    [463,"Some leaders resisted the colonial rule.","Abakulembeze abamu baawakanya obufuzi bw'amatwale."],
    [464,"Life became difficult for him when his mother died.","Obulamu bwamukaluubirira nnyina bwe yafa."],
    [465,"He walked a two kilometre distance from home to school.","Yatambula kiromita bbiri okuva eka okutuuka ku ssomero."],
    [466,"He fell in the trench and hurt his ankle.","Yagwa mu mufulejje n'afuna obuvune mu kakongovule."],
    [467,"He had very many supporters although he did not win the elections.","Yalina abawagizi bangi newankubadde nga teyawangula kulonda."],
    [468,"He was defeated in courts of law.","Yawangulwa mu kkooti y'amateeka."],
    [469,"Her father owns the largest herd of cattle in the village.","Kitaawe y'asinza eggana ly'ente eddene ku kyalo."],
    [470,"His immediate family was killed by rebels.","Famire ye ey'okulusegere yattibwa abayeekera."],
    [471,"He is very determined to marry her.","Mumalirivu nnyo okumuwasa."],
    [472,"He is also a citizen of Britain.","Naye mutuuze wa Bungereza."],
    [473,"She wants to join the army.","Ayagala kwegatta ku magye."],
    [474,"My sister's birthday is in the month of April.","Amazaalibwa ga muganda wange ga mu mwezi Gwokuna."],
    [475,"He died of sickle cells while at the university.","Yafa obulwadde bwa nnalubiri ng'ali ku yunivaasite."],
    [476,"He says he loves her with all his heart.","Agamba nti amwagala n'omutima gwe gwonna."],
    [477,"He is willing to do anything for his country.","Mwetegefu okukola kyonna ku lw'eggwanga lye."],
    [478,"Her mother is fifty years old.","Nnyina wa myaka amakumi ataano."],
    [479,"His business failed because of the poor customer care.","Bizinensi ye yagwa kubanga yali tamanyi nkwata ya ba kasitooma."],
    [480,"The twins' identity confuses him.","Abuzaabuzibwa okwawula abalongo."],
    [481,"It is assumed that men are good decision makers.","Kirowoozebwa nti abasajja balungi mu kukola okusalawo."],
    [482,"He is a president to one of the political parties.","Pulezidenti w'ekimu ku bibiina by'ebyobufuzi."],
    [483,"She reacted in a very rude way.","Yaddamu mu ngeri ey'ebboggo eriyitiridde."],
    [484,"He invested his money in buying assets like land.","Yateeka ssente ze mu kugula ebyobugagga ng'ettaka."],
    [485,"He failed his national examinations.","Yagwa ebigezo bye eby'eggwanga lyonna."],
    [486,"The court agreed to grant him bail.","Kkooti yamukkiriza okweyimirirwa."],
    [487,"I think it was wise to postpone the elections.","Ndowooza kyali kya magezi okwongezaayo okulonda."],
    [488,"He was detained at the police station for three hours.","Yasibirwa ku kitebe kya poliisi okumala essaawa ssatu."],
    [489,"Her uncle paid for her tuition this semester.","Kkojja we/kitaawe omuto yamusasulira ebisale by'ettendekero erya waggulu eby'olusoma luno."],
    [490,"In Nigeria, gunmen kidnapped students from school in order to get a ransom from government.","Mu Nigeria, bamukwatammundu baawamba abayizi okuva ku ssomero basobole okufuna ssente z'ekyenunulo okuva mu gavumenti."],
    [491,"Food is a basic need for man.","Emmere kyetaago kya bulamu obwa bulijjo eri omuntu."],
    [492,"The students' school fees is paid through the bank.","Ebisale by'abayizi eby'essomero bisasulwa okuyita mu bbanka."],
    [493,"It is not so common to find women driving motorcycles in Uganda.","Tekitera kulabikalabika abakazi okuvuga ppikippiki mu Uganda."],
    [494,"She had an argument with her mother.","Yafunamu obutakkaanya ne nnyina."],
    [495,"The youth are encouraged to work hard while in their youthful age.","Abavubuka bakubirizibwa okukola ennyo nga bakyali mu myaka gyabwe egy'ekivubuka."],
    [496,"He knows how to ride a speed boat.","Amanyi okuvuga akaato akadduka embiro."],
    [497,"She boasts about her children's achievements.","Yenyumiririza mu ebyo abaana be bye batuuseeko."],
    [498,"He left his family in the village and came to Kampala to make money.","Yaleka famire ye mu kyalo n'ajja e Kampala okukola ssente."],
    [499,"He is a professional photographer.","Mukubi wa bifaananyi omutendeke."],
    [500,"She is usually busy on Monday.","Atera okubeera n'emirimu emingi ku Lwokusooka."],
    [501,"I doubt whether there is anyone that knows what happened five hundred years back.","Mbuusabuusa nti waliwo omuntu yenna amanyi ebyatuukawo emyaka ebikumi bitaano emabega."],
    [502,"He missed his favourite television show.","Yasubiddwa puloogulaamu ye esinga okumunyumira ku ttivvi."],
    [503,"He fuels his car every Monday.","Ateeka amafuta mu mmotoka ye buli Lwakusooka."],
    [504,"She said that the children frustrate her.","Yagamba nti abaana baamulemesa."],
    [505,"Lawyers act on behalf of the clients.","Bannamateeka bakola ku lw'abo ababawadde emirimu."],
    [506,"He got a contract to supply materials to the company.","Yafuna kontulakiti y'okuwa kkampuni ebikozesebwa."],
    [507,"Law firms have created jobs for lawyers in Uganda.","Ebitongole by'amateeka bitonzeewo emirimu gya bannamateeka mu Uganda."],
    [508,"He hired a piece of land for farming.","Yapangisa ettaka ery'okulimirako."],
    [509,"The doctors carried out a surgery to separate the twins who were joined in the chest.","Abasawo baalongoosa abalongo bannabansansaana abaali beegattidde mu kifuba okusobola okubagattulula."],
    [510,"She was seeking for forgiveness from her parents.","Yali anoonya kisonyiwo okuva eri bakadde be."],
    [511,"Is her driving permit still valid?","Ebbaluwa emuwa olukusa okuvuga ebidduka ekyaliko?"],
    [512,"Most male lawyers are always dressed in suits on official working days.","Bannamateeka abasajja abasinga obungi babeera bambadde amasuuti ku nnaku ez'okukola entongole."],
    [513,"You should earn a doctorate in order to be given a title of a professor.","Olina okutikkirwa ddiguli eyookusatu okusobola okuweebwa ekitiibwa ky'omukenkufu."],
    [514,"Women groups have skilled and motivated women to work.","Ebibiina by'abakazi birina abakazi abalina obuguku era nga beewaayo okukola."],
    [515,"He has contributed generously towards the construction of the church.","Awaddeyo obuteebalira ku lw'okuzimba ekkanisa."],
    [516,"She initiated the business idea that was funded under the Swedish government program.","Yagunjaawo ekirowoozo kya bizinensi ekyavujjirirwa okuyita mu nteekateeka ya gavumenti y'e Sweden."],
    [517,"He took out the eggs one by one from the box.","Yaggya amagi limu ku limu mu bbookisi."],
    [518,"My sister is two years older than me.","Muganda wange/mwannyinaze ansingako emyaka ebiri."],
    [519,"She drank three bottles of beer.","Yanywa eccupa za bbiya ssatu."],
    [520,"My son has been sick for four days.","Mutabani wange abadde mulwadde okumala ennaku nnya."],
    [521,"My young sister is six years old.","Muto wange omuwala alina emyaka mukaaga."],
    [522,"I work eight hours a day.","Nkolera essaawa munaana olunaku."],
    [523,"My neighbour is nine months pregnant.","Muliraanwa wange alina olubuto lwa myezi mwenda."],
    [524,"My uncle has lived in France for more than ten years.","Kkojjange abadde mu Bufalansa okumala emyaka egisoba mu kkumi."],
    [525,"Our headteacher has two children, aged nine and eleven.","Omukulu w'essomero lyaffe alina abaana babiri, ow'emyaka omwenda n'ekkumi n'ogumu."],
    [526,"That couple has been happily married for thirteen years.","Abafumbo abo baakamala emyaka kkumi n'esatu mu bufumbo obw'essanyu."],
    [527,"Children under the age of fourteen should be accompanied by a parent.","Abaana abali wansi w'emyaka ekkumi n'ena basaanye bawerekerweko omuzadde."],
    [528,"I was fifteen minutes late for the job interview.","Nnakeerewa eddakiika kkumi na ttaano ku kubuuzibwa kw'okufuna omulimu."],
    [529,"He began living by himself at the age of sixteen.","Yatandika okubeera yekka ng'alina emyaka kkumi na mukaaga."],
    [530,"I walk twenty miles a day.","Ntambula mmayiro amakumi abiri olunaku."],
    [531,"At the age of twenty two, he lost his father.","Yafiirwa kitaawe ng'alina emyaka amakumi abiri mu ebiri."],
    [532,"The pastor told us to fast for twenty four hours.","Omusumba yatugamba okusiiba okumala essaawa amakumi abiri mu nnya."],
    [533,"My eldest daughter got married at thirty three years.","Muwala wange omukulu yafumbirirwa ku myaka amakumi asatu mu esatu."],
    [534,"He drove at a speed of sixty miles per hour.","Yavugira ku misinde gya mmayiro nkaaga buli ssaawa."],
    [535,"I bought those shoes at six thousand Ugandan shillings.","Engatto ezo nnazigula siringi za Uganda kakaaga."],
    [536,"She earns a salary of eight hundred thousand Ugandan shillings","Afuna omusaala gwa mitwalo gya siringi za Uganda kinaana."],
    [537,"My grandmother is seventy years old.","Jjajjange alina emyaka nsanvu egy'obukulu."],
    [538,"I have saved one hundred United States dollars on my account.","Nterese ddoola za Amerika kikumi ku akaawunti yange."],
    [539,"The musician has just released his first album.","Omuyimbi yaakafulumya olutambi lwe olusooka."],
    [540,"My son was the second in the one hundred meter race.","Mutabani wange ye yali owookubiri mu kudduka kwa mmita ekikumi."],
    [541,"My office is on the third floor of that building.","Woofiisi yange eri ku mwaliiro ogwokusatu ogw'ekizimbe ekyo."],
    [542,"She held the fourth position in the singing competition.","Yakwata ekifo kyakuna mu mpaka z'okuyimba."],
    [543,"My mother gave birth to her fifth child.","Maama yazaala omwana we owookutaano."],
    [544,"I am the eighth child in a family of eleven.","Nze mwana ow'omunaana mu famire ey'abaana ekkumi n'omu."],
    [545,"He postponed his trip at the eleventh hour.","Yayongezaayo olugendo lwe ku ssaawa esembayo."],
    [546,"The leader bought a car as a present for her daughter's twelfth birthday.","Omukulembeze yagula emmotoka ng'ekirabo ky'amazaalibwa ga muwala we ag'emyaka ekkumi n'ebiri."],
    [547,"I completed the race in the fourteenth position.","Empaka nazimalidde mu kifo kya kkumi na bina."],
    [548,"I am planning to leave the country on the fifteenth of this month.","Nteekateeka okuva mu ggwanga nga kkumi na ttaano omwezi guno."],
    [549,"I met my husband on my eighteenth birthday.","Nnasisinkana omwami wange ku mazaalibwa gange ag'emyaka ekkumi n'omunaana."],
    [550,"He scored his nineteenth goal in the league.","Yateeba ggoolo ye ey'ekkumi n'omwenda mu liigi."],
    [551,"She got married one month to her twentieth birthday.","Yafumbirwa nga wabula omwezi gumu okutuuka ku mazaalibwa ge ag'emyaka amakumi abiri."],
    [552,"His father has planned to hand over the business to him on his twenty third birthday.","Taata we ateeseteese okumukwasa bizinensi ku mazaalibwa ge eg'emyaka amakumi abiri mu esatu."],
    [553,"My contract will be renewed on the twenty fourth of June next year.","Kontulakiti yange ejja kuzzibwa buggya nga abiri mu nnya Ogwomukaaga omwaka ogujja."],
    [554,"The football team will play it's thirty first game in the next match.","Ttiimu y'omupiira gw'ebigere ejja kusamba omupiira gwayo ogw'amakumi asatu mu ogumu mu luzannya oluddako."],
    [555,"He was the thirty second king of our kingdom.","Ye yali kabaka ow'amakumi asatu mu ababiri ow'obwakabaka bwaffe."],
    [556,"He was elected as the thirty fourth leader of the opposition political party.","Yalondebwa ng'omukulembeze ow'amakumi asatu mu abasatu ow'ekibiina ky'ebyobufuzi eky'oludda oluvuganya."],
    [557,"She is in her fortieth year but she is still very strong.","Ali mu mwaka gwe ogw'amakumi ana naye akyali mugumu nnyo."],
    [558,"He retired from the army on his fiftieth birthday.","Yawummula okuva mu magye ku mazaalibwa ge ag'emyaka amakumi ataano."],
    [559,"My grandfather passed away on his eightieth birthday.","Jjajjange yafa ku mazaalibwa ge ag'emyaka ekinaana."],
    [560,"My daughter weighs fifty kilograms now.","Muwala wange kati azitowa kilo amakumi ataano."],
    [561,"I bought fifty kilograms of meat for the graduation party.","Nnagula kilo z'ennyama amakumi ataano ku kabaga k'amatikkira."],
    [562,"The doctor advised me to take at least two litres of water every day.","Omusawo yampa amagezi okunywa wakiri liita z'amazzi bbiri buli lunaku."],
    [563,"I won the sixty meter race.","Nnawangula okutolontoka kwa mmita enkaaga."],
    [564,"The master left his money with a trustworthy servant.","Omuweereza omwesigwa mukama we yamulekera ssente ze."],
    [565,"She got married last Saturday.","Yafumbirwa ku Lwamukaaga oluwedde."],
    [566,"The doctor worked on many patients yesterday.","Ddokita yakoze ku balwadde bangi eggulo."],
    [567,"He wrote a note to the professor explaining why he missed the exam.","Yawandiikira omukenkufu ebbaluwa ng'amubuulira lwaki yasubwa ekigezo."],
    [568,"His feet are swollen because of a rare disease.","Ebigere bye bizimbye olw'obulwadde obutali bwa bulijjo."],
    [569,"I gave my seat to an elderly lady.","Ekifo kyange nnakiwa omukyala omukadde."],
    [570,"That gentleman is a doctor.","Omwami oyo ddokita."],
    [571,"I work at the local radio station.","Nkola ku mukutu gwa leediyo ogw'omu kitundu."],
    [572,"I open my retail shop at seven in the morning.","Edduuka lyange erya ccakala ndiggula ku ssaawa emu ey'oku makya."],
    [573,"How do farmers prepare themselves for the planting season?","Abalimi beetegekera batya ekiseera ky'okusiga?"],
    [574,"The twins confuse me, I can hardly differentiate them.","Abalongo bambuzaabuza era kinzibuwalira okubaawula."],
    [575,"Some children have to cross rivers in order to get to school.","Abaana abamu basala emigga okusobola okugenda ku ssomero."],
    [576,"Father was disappointed by her academic performance.","Taata yanakuwala ku lw'engeri gye yali asomyemu."],
    [577,"Christians believe in God's blessings.","Abakiristo bakkiririza mu mikisa gya Katonda."],
    [578,"Her parents died when she was ten years old.","Bazadde be baafa bwe ng'alina emyaka kkumi egy'obukulu."],
    [579,"I take long to here from most of my distant relatives.","Ndwawo okuwuliza ab'eanda zange abatali ba kulusegere."],
    [580,"The old woman is very poor.","Omukazi omukadde mwavu nnyo."],
    [581,"She visits her mother's grave every month.","Akyalira amalaalo ga nnyina buli mwezi."],
    [582,"His wife bought him a watch as a gift.","Mukyala we yamugulira essaawa ng'ekirabo."],
    [583,"I fear going to the graveyard.","Ntya okugenda mu malaalo."],
    [584,"Her late mother was a very generous woman.","Maama we omugenzi yali mukazi mugabi nnyo."],
    [585,"She tried to console him but he pushed her away.","Yagezaako okumuddaabiriza nye n'amusindika eri."],
    [586,"Something bit her eye and it got swollen.","Waliwo ekyaluma eriiso lye ne lizimba."],
    [587,"The pot accidentally fell out of her hands and it broke.","Ensuwa mu butanwa yamuva mu ngalo n'egwa era n'eyatika."],
    [588,"She said that her first boyfriend broke her heart.","Yagamba nti omulenzi gwe yasooka okuganza yamumenya omutima."],
    [589,"He picked up the pieces of the broken glass.","Yalondawo obupapajjo bwa ggiraasi eyali eyatise."],
    [590,"I gave the visitor something to eat.","Omugenyi nnamuwa eky'okulya."],
    [591,"She always consulted her mother and father before doing anything.","Bulijjo yeebuuzanga ku nnyina ne kitaawe nga tannakola kintu kyonna."],
    [592,"He went with the neighbours to fetch water from the well.","Yagenda ne baliraanwa okukima amazzi ku luzzi."],
    [593,"She is a very obedient wife to her husband.","Mukyala muwulize nnyo eri bba."],
    [594,"He goes with his wallet everywhere.","Agenda ne waleti ye buli w'adda."],
    [595,"I asked her to watch over my property while am away.","Nnamusaba okulabirira ebintu byange nga siriiwo."],
    [596,"The three grand children help their grand mother with most of the work at home.","Abazzukulu abasatu bayambako jjajjaabwe ku mirimu gy'awaka egisinga obungi."],
    [597,"She woke up with a strong headache.","Yazuukuse ng'omutwe gumuluma nnyo."],
    [598,"The doctor sent the patient home.","Ddokita yasindise omulwadde eka."],
    [599,"The old woman and the two children went to the garden together.","Omukazi omukadde n'abaana ababiri baagenda mu nnimiro bonna."],
    [600,"She has ten grandchildren.","Alina abazzukulu kkumi."],
    [601,"The thief denied all the accusations.","Omubbi yeegaana emisango gyonna egyali gimuvunaanibwa."],
    [602,"He does not know how to knot a tie.","Tamanyi kusiba ttaayi."],
    [603,"How did you know that she was telling the truth?","Wamanya otya nti yali ayogera mazima?"],
    [604,"My sister won the singing competitions.","Muganda wange/mwannyinaze yawangula empaka z'okuyimba."],
    [605,"I felt so tired after climbing the hill.","Nnawulira nga nkooye oluvannyuma lw'okulinnya akasozi."],
    [606,"He has never boarded an aeroplane.","Talinnyanga ku nnyonyi."],
    [607,"The sisters are fond of arguing with each other.","Abooluganda baagala nnyo okwekaayanya."],
    [608,"He died the next day after being admitted in the hospital.","Yafa olunaku olwaddirira lwe yaweerwako ekitanda mu ddwaliro."],
    [609,"When it was her turn to go to the market she refused.","Omulundi gwe ogw'okugenda mu katale bwe gwatuuka, yagaana okugenda."],
    [610,"The children are skipping the rope.","Abaana babuuka mugwa."],
    [611,"She called out for help but nobody came for her rescue.","Yakoowoola obuyambi naye tewali yavaayo kumutaasa."],
    [612,"He was found guilty of three crimes.","Emisango esatu gyamukka mu vvi."],
    [613,"The girl drowned in the lake because she did not know how to swim.","Omuwala yabbira mu nnyanja kubanga yali tamanyi kuwuga."],
    [614,"My father is a very truthful man.","Kitange musajja wa mazima nnyo."],
    [615,"I do not go to school any more.","Sikyagenda ku ssomero."],
    [616,"She watches television almost the whole day.","Alaba ttivvi kumpi okumala olunaku lulamba."],
    [617,"He kept wondering what to do for his stubborn child.","Yeewuunaganyanga eky'okukolera omwana we ow'emputtu."],
    [618,"He experienced difficulty in breathing because of asthma.","Yafuna obuzibu mu kussa olw'okubeera n'obulwadde bw'okuziyira."],
    [619,"She has a softer voice compared to her sister's.","Allina eddoboozi eggonvu bw'oligeraageranya n'erya muganda we."],
    [620,"He narrated to us his testimony.","Yatunyumiza ku bujulizi bwe."],
    [621,"You need to do exercises in order to keep healthy and fit.","Weetaaga okukola dduyiro okusobola okuwekuuma ng'oli mulamu era nga weesobola."],
    [622,"He fell down and injured his wrist.","Yagwa era n'afuna obuvune mu kiseke kye."],
    [623,"She does not want other people to see her crying.","Tayagala bantu balala kumulaba ng'akaaba."],
    [624,"He cannot clap because he does not have hands.","Tasobola kukuba mu ngalo kubanga talina mikono."],
    [625,"She said that her stomach started growling after eating food.","Yagamba nti olubuto lwe lwatandika okugulumba oluvannyuma lw'okulya emmere."],
    [626,"My mother knows how to bake cakes.","Mmange amanyi okufumba kkeeki."],
    [627,"After school, she threw away all her old books.","Oluvannyuma lw'okusoma yakasuka ebitabo bye byonna ebikadde."],
    [628,"I decided to eat fruits for super.","Nasazeewo ku kyeggulo ndye bibala."],
    [629,"She carried the baby from her back.","Omwana yamuweeka ku mugongo."],
    [630,"My sister does not eat pawpaws.","Muganda wange/mwannyinaze talya mapaapaali."],
    [631,"She does not want to share her things with anyone.","Tayagala kugabana bintu bye na muntu yenna."],
    [632,"She impatiently did not wait for the food to get ready.","Teyagumiikiriza kulinda mmere kuggya."],
    [633,"Women give birth after a period of nine months.","Abakazi bazaala oluvannyuma lw'emyezi omwenda."],
    [634,"She made sure that I grow up healthy and strong.","Yakakasa nti nkula nga ndi mulamu era ow'amaanyi."],
    [635,"She bought new clothes for her husband.","Yagulira bba engoye empya."],
    [636,"I prefer to put on my own shoes and clothes.","Nsinga kwagala kwambala ngatto n'engoye ebyange ku bwange."],
    [637,"My mother always counselled me whenever I went wrong.","Mmange yambuuliriranga buli lwe nnagwanga mu nsobi."],
    [638,"She said that he is the love of her life.","Yagamba nti ye mwagalwa w'obulamu bwe."],
    [639,"Mothers play a very special role in the children's up bringing.","Bamaama bakola omulimu ogw'enjawulo mu nkuza y'abaana."],
    [640,"He rescued the boy from drowning in the swimming pool.","Yataasa omulenzi obutabbira mu kidiba kiwugirwamu."],
    [641,"By the time we rescued her from the water, she had died.","We twamununulira okuva mu mazzi yali amaze okufa."],
    [642,"She decided to give away her old clothes.","Yasalawo okugaba engoye ze enkadde."],
    [643,"He bought a new ball for the soccer team.","Yagulira ttiimu y'omupiira omupiira omupya."],
    [644,"The police rescued him from the robbers.","Poliisi yamutaasa ku babbi."],
    [645,"She enrolled into an institute for further studies.","Yeegasse ku ttendekero okusobola okweyongerayo n'emisomo gye."],
    [646,"I saw a few trees in the school compound.","Nnalaba emiti emitonotono mu luggya lw'essomero."],
    [647,"I saw chimpanzees, baboons, and monkeys in the zoo.","Nnalaba enkobe, amazike n'enkima mu kkuumiro ly'ebisolo eby'omu nsiko."],
    [648,"I saw many different animals, birds and plants in the forest.","Nnalaba ebisolo eby'enjawulo, ebinyonyi wamu n'ebimera mu kibira."],
    [649,"My friend and I love to explore new places.","Mukwano gwange nange twagala nnyo okuvumbula ebifo ebiggya."],
    [650,"Her father told us to not visit their home again.","Kitaawe yatugaana okuddamu okukyala mu maka gaabwe."],
    [651,"The man was wearing a black long coat.","Omusajja yali ayambadde ekizibaawo ekiddugavu ekiwanvu."],
    [652,"He slowed down his car so that the children could cross the road.","Yattamu ku misinde gy'emmotoka ye abaana basobole okusala ekkubo."],
    [653,"Her face was full of pimples.","Ffeesi ye yali ejjudde embalabe."],
    [654,"My brother has a scar on his face.","Muganda wange/mwannyinaze alina enkovu ku ffeesi ye."],
    [655,"The old man was wearing ragged clothes.","Omusajja omukadde yali ayambadde engoye enziina."],
    [656,"I looked at him keenly.","Nnamutunuulira nkaliriza."],
    [657,"He was not fast enough to win the race.","Yali tayanguwa kimala kutuuka okuwangula empaka."],
    [658,"He grabbed the boy by the shirt and pulled him back roughly.","Yakwata omulenzi essaati n'amusika ng'amuzza emabega mu bukambwe."],
    [659,"The man held me so tight that I thought my ribs would crack.","Omusajja yankwata n'annyweza nnyo ne ntuuka n'okulowooza nti oboolyawo embiriizi zange zigenda kumenyeka."],
    [660,"I felt very sleepy at work today.","Leero nnawulidde otulo tungi nnyo ku mulimu."],
    [661,"She could not see where she was going because she was blindfolded.","Yali tasobola kulaba gy'agenda kubanga yali asibiddwa kantuntunu."],
    [662,"He untied his shoe laces and entered the house.","Yasumulula obuguwa bw'engatto ze n'ayingira mu nju."],
    [663,"She rescued herself from the rapists.","Yeetaasa ku balisaamaanyi."],
    [664,"The leader of the rebel group was arrested.","Omukulembeze w'ekibinja ky'abayeekera yakwatibwa."],
    [665,"Mother ordered the children to stay inside the house until she comes back.","Maama yalagira abaana okusigala mu nnyumba okutuusa ng'akomyewo."],
    [666,"He does not like it when his friends bully others.","Takyagala nga mikwano gye gijooga abalala."],
    [667,"I do not know why mother and father were arguing.","Simanyi lwaki maama ne taata baali bakaayana."],
    [668,"I know her parents.","Mmanyi bazadde be."],
    [669,"I wonder how I lost my pen.","Nneebuuza engeri gye nnabuzizzaamu ekkalaamu yange eya bwino."],
    [670,"The children who escaped from school were expelled.","Abaana abaatoloka okuva ku ssomero baagobebwa."],
    [671,"She did not have money to pay for tuition.","Yali talina ssente kusasula bisale bya ttendekero erya waggulu."],
    [672,"I do not know why he likes fighting.","Simanyi lwaki ayagala okulwana."],
    [673,"The old timber was eaten by termites.","Embaawo enkadde zaalibwa enkuyege."],
    [674,"I helped him with his work.","Nnamuyambako n'emirimu gye."],
    [675,"The baby tried to stand up on its feet and fell.","Omwana yagezaako okuyimirira n'agwa."],
    [676,"He has joined the same school where his sister is also studying from.","Yeegasse ku ssomero lye limu ne muganda we ly'asomerako."],
    [677,"The men kicked the wooden door open.","Abasajja baasamba oluggi lw'omuti ne lweggula."],
    [678,"He is a leader of integrity.","Mukulembeze omwesimbu."],
    [679,"Her father paid for her school fees from nursery until university.","Kitaawe yamusasulira ebisale by'essomero okuva mu nnassale okutuuka ku yunivaasite."],
    [680,"He got lung cancer as a result of over smoking.","Yafuna kookolo w'amawuggwe oluvannyuma lw'okufuuweeta ennyo ssigala."],
    [681,"He is the newly appointed clan leader.","Ye mukulembeze w'ekika omuggya eyaakalondebwa."],
    [682,"Her family was very scared when she suddenly fainted.","Famire ye yatya nnyo bwe yazirika embagirawo."],
    [683,"While in bed he covers his head in the blanket.","Bw'aba mu buliri abikka omutwe gwe munda mu bulangiti."],
    [684,"She could not move properly because her leg was paralysed.","Yali tasobola kutambula bulungi kubanga okugulu kwe kwali kusannyaladde."],
    [685,"The policewomen look smart in their uniform.","Abapoliisi abakazi banyumira mu yunifoomu yaabwe."],
    [686,"She picked me up off the floor.","Yansitulawo wansi."],
    [687,"Out of the one hundred applicants, she was the one that was offered the job.","Ku baasaba omulimu ekikumi ye yalondebwamu okuweebwa omulimu."],
    [688,"His sister was enrolled into the police.","Mwannyina yayingizibwa mu poliisi."],
    [689,"My parents were very worried when I got back home late.","Bazadde bange baali beeraliikirivu nnyo bwe nnakomawo eka ekikeerezi."],
    [690,"The school is preparing a tour for the children.","Essomero liteekateeka okulambula kw'abaana."],
    [691,"He knows how to read English sentences.","Amanyi okusoma sentensi ez'Olungereza."],
    [692,"I have never eaten mutton.","Siryanga ku nnyama ya ndiga."],
    [693,"The couple went for their honey moon.","Abagole baagenze mu luwummula lw'abakafumbiriganwa."],
    [694,"I was surprised that he could not speak.","Nneewuunya okulaba nti tasobola kwogera."],
    [695,"Houseflies spread germs that cause diseases.","Enswera zisaasaanya obuwuka obuleeta endwadde."],
    [696,"Her husband came back drunk yesterday and beat her.","Bba yakomyewo eggulo ng'atamidde n'amukuba."],
    [697,"His wife has a big nose.","Mukyala we alina ennyindo ennene."],
    [698,"My little brother is very lazy.","Muto wange omulenzi munafu nnyo."],
    [699,"Most children from the city do not know how to chop firewood.","Abaana abasinga obungi abava mu kibuga tebamanyi kwasa nku."],
    [700,"I find pot water very sweet.","Amazzi g'ensuwa gampoomera nnyo."],
    [701,"She sweeps the floor every morning.","Ayera wansi buli ku makya."],
    [702,"I work hard in order to have a good life.","Nkola nnyo okubeera n'obulamu obulungi."],
    [703,"Her uncle died of corona virus.","Kkojja we yafa kawuka ka kkolona."],
    [704,"After taking their vows, the priest announced them husband and wife.","Oluvannyuma lw'okukuba ebirayiro byabwe, kabona yabalangirira ng'omwami n'omukyala."],
    [705,"He left home to go and find a job in the city.","Yava ewaka agende anoonye omulimu mu kibuga."],
    [706,"My sister is three months pregnant.","Muganda wange/mwannyinaze alina olubuto lwa myezi esatu."],
    [707,"He has been away from home for two weeks.","Abadde tali waka okumala wiiki bbiri."],
    [708,"She consulted her parents before getting married.","Yeebuuza ku bazadde be nga tannaba kufumbirwa."],
    [709,"I want to go back to school for further studies.","Njagala kuddayo ku ssomero okweyongerayo n'emisomo gyange."],
    [710,"Parents should bless and not curse their children.","Abazadde balina okuwa abaana baabwe emikisa mu kifo ky'okubakolimira."],
    [711,"He used a short cut to get there before others.","Yakozesa ppanya okutuuka ng'abalala tebannaba kutuuka."],
    [712,"The old man advised him to not make decisions while he is angry.","Omusajja omukadde yamuwa amagezi obutakola kusalawo nga munyiivu."],
    [713,"He is setting off to go to his village.","Asimbula kugenda mu kyalo ky'ewaabwe."],
    [714,"She feared to cross the busy road.","Yatya okusala oluguudo oluyisa ennyo ebidduka."],
    [715,"The old man's advice helped him a lot.","Amagezi omusajja omukadde ge yamuwa gaamuyamba nnyo."],
    [716,"She has been moving up and down the whole day.","Abadde atawuka olunaku lulamba."],
    [717,"He recently finds her characters very strange.","Ennaku zino embeera ze tazitegeera n'akatono."],
    [718,"He slept outside on the verandah.","Yeebaka wabweru ku lubalaza."],
    [719,"She pointed to the dress that she wanted to buy.","Yasonga ku kiteeteeyi kye yali ayagala okugula."],
    [720,"His house is very organised and neat.","Ennyumba ye nteeketeeke bulungi era nnyonjo."],
    [721,"He likes mountain climbing.","Ayagala nnyo okuwalampa ensozi."],
    [722,"The king's wife is very elegant and descent.","Nnabagereka mukyala muyonjo nnyo era eyeewa ekitiibwa."],
    [723,"I was inspired by his testimony.","Obujulizi bwe bwanzizaamu amaanyi."],
    [724,"He is a member of the royal family.","Wa famire ey'olulyo olulangira."],
    [725,"His wife is fat and light skinned.","Mukyala we munene ate mweru."],
    [726,"He is going for a one week's trip.","Agenda ku lugendo lwa wiiki emu."],
    [727,"He knocked on the door, but no one opened it.","Yakonkona ku luggi naye tewali n'omu yaggulawo."],
    [728,"She placed the key into the lock in order to open the door.","Yateeka ekisumuluzo mu kkufulu asobole okuggulawo oluggi."],
    [729,"He divorced his wife after finding her sleeping with another man.","Yayawukana ne mukyala we oluvannyuma lw'okukizuuala nti yali yeebaka n'omusajja omulala."],
    [730,"Her two sons have never seen their father before.","Batabani be ababiri tebalabanga ku kitaabwe."],
    [731,"Our family reunited on mother's birthday party this year.","Famire yaffe yaddamu okusisinkana ku kabaga k'amazaalibwa ga maama omwaka guno."],
    [732,"My Muslim friend can read Arabic.","Mukwano gwange omusiraamu asobola okusoma Oluwalabu."],
    [733,"I was born in Kampala city.","Nnazaalibwa mu kibuga Kampala."],
    [734,"She cannot afford the pair of shoes she wants.","Tasobola kwegulira mugogo gwa ngatto gw'ayagala."],
    [735,"He put his money on the shop counter.","Yateeka ssente ze ku mmeeza y'edduuka."],
    [736,"Some children in the village do not wear shoes.","Abaana abamu mu kyalo tebambala ngatto."],
    [737,"The thief grabbed her bag and ran away.","Omubbi yakwakkula ensawo ye n'adduka."],
    [738,"I carried the baby and put her on my laps","Nnasitula omwana ne mmutuuza ku mubiri gwange."],
    [739,"He keeps his utensils in the cupboard.","Ebintu bye eby'omuffumbiro abitereka mu kkabada."],
    [740,"He wore a suit on his wedding day.","Yayambala essuuti ku lunaku lwe olw'embaga."],
    [741,"She walks with confidence.","Atambula n'okwekkiririzaamu."],
    [742,"She is very lazy when it comes to washing clothes.","Mugayaavu nnyo bwe kituuka ku kwoza engoye."],
    [743,"He pinched my cheek and it turned red.","Yansuna ku nsingo n'emyuka."],
    [744,"He keeps some of his money in the wallet.","Ssente ze ezimu azikuumira mu waleti."],
    [745,"She has very many pairs of shoes.","Alina emigogo gy'engatto mingi."],
    [746,"Babies need tender care.","Abaana beetaaga okufiibwako n'obwegendereza."],
    [747,"My parents are very hardworking people.","Bazadde bange bantu bakozi nnyo."],
    [748,"He takes care of his siblings.","Alabirira baganda be."],
    [749,"The children forgot to do their household chores because they were playing.","Abaana beerabira okukola emirimu gyabwe egy'awaka kubanga baali bazannya."],
    [750,"Children do not enjoy playing alone.","Abaana tebanyumirwa kuzannya bokka."],
    [751,"Boys love playing and watching soccer.","Abaana banyumirwa okuzannya n'okulaba omupiira."],
    [752,"The girls loved playing with dolls around the yard.","Abawala baayagalanga okuzannya ne ddole mu luggya."],
    [753,"She hired a nanny to take care of the baby.","Yapangisa omukozi ow'okulabirira omwana."],
    [754,"Children do not usually know a lot about taking care of babies.","Abaana tebatera nnyo kumanya bikwata ku kulabirira baana bato."],
    [755,"She breast fed her child for a period of two years.","Yayonsa omwana we okumala emyaka ebiri."],
    [756,"Mothers do not usually have time to play with their children.","Ba maama tebatera kubeera nnyo na budde bwa kuzannya na baana baabwe."],
    [757,"Her baby is five months old now.","Omwana we kati wa myezi etaano."],
    [758,"I do not think that birds can fly with a human baby.","Sirowooza nti ebinyonyi bisobola okubuuka mu bbanga n'omwana w'omuntu."],
    [759,"She threw stones to the birds and they flew away.","Yakasukira ebinyonyi amayinja ne bibuuka ne bigenda."],
    [760,"The children are learning how to play tennis.","Abaana bali mu kuyiga kuzannya ttena."],
    [761,"After a long day of hard work, father decided to rest once he got home.","Oluvannyuma lw'olunaku oluwanvu olw'okukola ennyo, taata yasalawo okuwummulamu bwe yatuuka ewaka."],
    [762,"I looked in the direction where the noise came from but there was nothing.","Nnatunula ku ludda ewaali wava okuleekaana naye tewaaliyo kiriyo."],
    [763,"My blanket is so old, I need to buy a new one.","Bulangiti yange nkadde nnyo nneetaaga okugulayo empya."],
    [764,"His wife does not keep any secrets from him.","Mukyala we tamukweka kyama kyonna."],
    [765,"After breast feeding, the baby immediately fell asleep.","Oluvannyuma lw'okuyonka, omwana amangu ago yeebakirawo."],
    [766,"The baby sleeps during the day.","Omwana yeebaka emisana."],
    [767,"Babies usually cry when they are hungry.","Abaana batera okukaaba bwe baba nga bayala."],
    [768,"The baby was wrapped in very many clothes to keep it warm.","Omwana yabikkibwa mu ngoye nnyingi okumukuuma ng'abuguma."],
    [769,"Are frogs dangerous in any way?","Ebikere birina engeri yonna gye bibeeramu eby'obulabe?"],
    [770,"He is not sure whether he is the biological father of the baby.","Teyeekakasa oba nga ye taata w'omwana owa ddala."],
    [771,"I swallowed my tablets with water.","Amakerenda gange nnagamizisa mazzi."],
    [772,"He begged his wife not to leave him.","Yasaba mukyala we obutamuleka."],
    [773,"She was mourning over the death of her newly born baby.","Yali akungubaga olw'okufa kw'omwana we gwe yali yaakazaala."],
    [774,"He has a breathing problem.","Alina ekizibu ky'okussa."],
    [775,"How did you tell that he was not breathing anymore?","Wakitegeera otya nti yali takyassa?"],
    [776,"He dialed on her cell phone but it was off.","Yakuba ku ssimu ye naye nga teriiko."],
    [777,"My cousin sells phones.","Kizibwe wange atunda masimu."],
    [778,"Every hospital should have an ambulance.","Buli ddwaliro lirina okubeera n'emmotoka etambuza abayi."],
    [779,"I will send you the link to our online forum.","Nja kukusindikira linki y'ekibanja kyaffe eky'oku mutimbagano."],
    [780,"My daughter participated in the dancing competition last week.","Muwala wange yeetaba mu mpaka z'amazina wiiki ewedde."],
    [781,"He could barely hide the excitement when he got a new job.","Yali tasobola kukweka ssanyu lye yalina olw'okufuna omulimu omuggya."],
    [782,"I am not afraid to take on challenges.","Sitya kukola bisoomooza."],
    [783,"His song was a big hit the whole of last year.","Oluyimba lwe lwacaaka nnyo omwaka oguwedde gwonna."],
    [784,"His fans welcomed him with a round of applause.","Abawagizi be baamwaniriza wakati mu mizira."],
    [785,"He is on night duty at the police station.","Akola luwalo lwa kiro ku kitebe kya poliisi."],
    [786,"My neighbour organised a surprise birthday party for his wife.","Muliraanwa wange yateekerateekera mukyala we akabaga k'amazaalibwa."],
    [787,"He is a popular musician in Uganda.","Muyimbi muganzi mu Uganda."],
    [788,"My internet connection was disrupted by the storm.","Yintaneeti yange yacankalanyizibwa omuyaga."],
    [789,"The boy was angry because his mother did not give him an apple.","Omulenzi yali munyiivu olw'okuba nnyina teyamuwa kibala kya apo."],
    [790,"He loves playing his guitar in the evening.","Ayagala okusuna endongo ye akawungeezi."],
    [791,"His song is played on various radio stations in Uganda.","Oluyimba lwe luzannyibwa ku mikutu gya leediyo egy'enjawulo mu Uganda."],
    [792,"His success as a politician is attributed to his character.","Obuwanguzi bwe nga munnabyabufuzi buva ku nneeyisa ye."],
    [793,"All women love gifts.","Abakazi bonna baagala ebirabo."],
    [794,"Some young couples use condoms to avoid unwanted pregnancies.","Abaagalana abamu abakyali abato bakozesa obupiira okuziyiza okufuna embuto ze bateetegekedde."],
    [795,"My brother owns the biggest electronic shop in this town.","Muganda wange/mwannyinaze y'alina edduuka ly'ebyamasannyalaze erisinga obunene mu kibuga kino."],
    [796,"Child marriage causes reproductive health problems like cervical cancer.","Okufumbiza abaana abatanneetuuka kivaako obuzibu mu byobulamu by'okuzaala nga kookolo wa nnabaana."],
    [797,"Health workers distributed contraceptive pills to the women in our village.","Abakozi mu byobulamu baagaba amakerenda agaziyiza okufuna olubuto eri abakyala b'oku kyalao kyaffe."],
    [798,"The truck driver delayed the delivery of the building materials.","Omuvuzi w'ekimotoka ekinene yalwawo okutuusa ebyokuzimbisibwa."],
    [799,"His tests for Human Immunodeficiency Virus came out negative.","Ebyava mu kukeberebwa kw'akawuka ka mukenenya byalaga nti takalina."],
    [800,"Parents can do anything to protect their children.","Abazadde basobola okukola kyonna okukuuma abaana baabwe."],
    [801,"Gender based violence is common in marriages nowadays.","Obutabanguko obwesigama ku kikula bucaase nnyo mu bafumbo ensangi zino."],
    [802,"He is a very creative artist.","Mukubi wa bifaananyi omuyiiya ennyo."],
    [803,"Child labour is still popular in Uganda.","Okubigika abaana emirimu kukyali kungi mu Uganda."],
    [804,"I wish my father was a minister.","Singa kale kitange yali minisita."],
    [805,"Her mother wanted her to go for further education.","Nnyina yali ayagala yeeyongere n'emisomo."],
    [806,"Labour officers are committed to their job.","Abakungu b'ekitongole ky'abakozi beewaayo eri omulimu gwabwe."],
    [807,"The children love when we pray together as a family.","Abaana bakyagala bwe tusabira awamu nga famire."],
    [808,"Women do not like being asked to reveal their age.","Abakazi tebaagala kubagamba kwogera myaka gyabwe."],
    [809,"Her book attracted a global audience.","Ekitabo kye kyasikiriza abasomi okwetoloola ensi yonna."],
    [810,"He requested them to raise the perimeter wall for security reasons.","Yabasaba bawanvuye ku kikomera olw'ensonga z'ebyokwerinda."],
    [811,"All we could think about was the well being of our son.","Kye twali tusobola okulowooza kyokka ye mutabani waffe okubeera obulungi."],
    [812,"The main theme in her novel is love.","Omulamwa omukulu mu lugero lwe kwe kwagala."],
    [813,"The law in Uganda prohibits the employment of children under the age of twelve.","Etteeka mu Uganda likugira okukozesa abaana abali wansi w'emyaka ekkumi n'ebiri ng'abakozi."],
    [814,"Education is one of the tools that can be used in preventing child labour.","Okusoma y'emu ku nkola esobola okukozesebwa mu kutangira okubigika abaana emirimu."],
    [815,"They had a lot of freedom under his leadership.","Baalina emirembe mingi nnyo wansi w'obukulembeze bwe."],
    [816,"My son loves waiting for the school bus in the morning.","Mutabani wange ayagala okulinda bbaasi y'essomero ku makya."],
    [817,"Their grandmother is their legal guardian.","Jjajjaabwe omukazi ye mukuza waabwe mu mateeka."],
    [818,"Some male employers ask for sex from women in exchange for jobs.","Abakozesa abasajja abamu basaba okwegatta n'abakazi balyoke babawe emirimu."],
    [819,"His suspension from the game led to victory","Okumuyimiriza mu muzannyo kwaleeta obuwanguzi."],
    [820,"Some children love doing house work.","Abaana abamu baagala okukola emirimu gy'awaka."],
    [821,"Employers like employees who report early to work.","Abakozesa baagala abakozi abakeera okujja ku mirimu."],
    [822,"I saw his photo in the newspapers.","Nnalaba ekifaananyi kye mu mpapula z'amawulire."],
    [823,"The police arrested the students who led the protests at that university.","Poliisi yakwata abayizi abaakulemberamu okwekalakaasa ku yunivaasite eyo."],
    [824,"He travels by train to work.","Agendera mu ggaali ya mukka ku mulimu."],
    [825,"He is the best photographer in our town.","Ye mukubi w'ebifaananyi asinga mu kibuga."],
    [826,"The operation was done to save her life.","Yalongoosebwa okusobola okutaasa obulamu bwe."],
    [827,"He walks bare footed in the grass every morning.","Atambulira mu muddo nga tali mu ngatto buli ku makya."],
    [828,"Here is a photo of my family.","Kino kye kifaananyi kya famire yange."],
    [829,"Young men do not cut off their hair these days.","Abavubuka tebakyasalako nviiri ennaku zino."],
    [830,"He had to go to the saloon to cut off his hair.","Yalina okugenda mu ssaluuni okusalako enviiri ze."],
    [831,"He loves taking photos.","Ayagala okwekubisa ebifaananyi."],
    [832,"He has fifteen years' experience in marketing.","Alina obumanyirivu bwa myaka kkumi n'etaano mu bwa kitunzi."],
    [833,"She is facing charges of theft.","Awerennemba na misango gya bubbi."],
    [834,"The headteacher issued a warning letter to the boy who was bullying girls.","Omukulu w'essomero yayisa ebbaluwa erabula omulenzi eyali ajooga abawala."],
    [835,"He continued with the journey despite the pain in his legs.","Yeeyongerayo n'olugendo newankubadde nga yalina obulumi mu magulu."],
    [836,"He witnessed a murder but did not report it to the police.","Yalaba obutemu nga bugenda mu maaso naye teyagamba ku poliisi."],
    [837,"She went to the nearby shop to buy cooking oil.","Yagenda ku dduuka eririraanyeewo okugula butto."],
    [838,"We toured with him around town.","Twalambula naye okwetoloola ekibuga."],
    [839,"When mother grew older, her back bent.","Maama bwe yeeyongera okukaddiwa, yakootakoota."],
    [840,"Our neighbour's children had lunch from our home today.","Abaana ba muliraanwa waffe ekyemisana leero baakiridde waffe."],
    [841,"My sister used to oftenly fall sick during her pregnancy.","Muganda wange/mwannyinaze yateranga okulwala ng'ali lubuto."],
    [842,"She walked with difficulty because her knee was hurting.","Yali awulira obuzibu ng'atambula kubanga evviivi lyali limuluma."],
    [843,"Every December holiday she takes the children to visit their grandparents.","Abaana abatwala okukyalira bajjajjaabwe buli luwummula lwa Desemba."],
    [844,"Youths are strong and energetic.","Abavubuka bagumu era ba maanyi."],
    [845,"Women usually change when they become mothers.","Abakazi ebiseera ebisinga bakyuka bwe bafuuka ba maama."],
    [846,"He has one of the biggest shops in the village.","Alina erimu ku maduuka agasinga obunene ku kyalo."],
    [847,"God has blessed the couple with three children.","Katonda abafumbo abawadde omukisa gwa zzadde lya baana basatu."],
    [848,"She helps her mother in the shop during the school holidays.","Ayambako nnyina mu dduuka mu biseera by'empummula z'okusoma."],
    [849,"She has a book where she keeps her business records.","Alina ekitabo mw'atereka ebikwata ku bizinensi ye."],
    [850,"He plans for his daily expenditures.","Ateekerateekera ensaasaanya ye eya buli lunaku."],
    [851,"Him and his wife can afford to buy a car.","Ye ne mukyala we balina obusobozi obugula emmotoka."],
    [852,"The children took over their parents' property.","Abaana beddiza ebintu bya bazadde baabwe."],
    [853,"His uncle is a shopkeeper.","Kkojja we/kitaawe omuto mutunzi wa dduuka."],
    [854,"I tickled her in the ribs and she laughed.","Nnamunyonyoogera mu mbiriizi n'aseka."],
    [855,"The babies hands are so soft and smooth.","Engalo z'omwana zigonda nnyo era nga ziweweera."],
    [856,"She is narrating an interesting story to the children.","Ali mu kunyumiza abaana akagero akanyuma ennyo."],
    [857,"He likes playing in the rain.","Ayagala okuzannyira mu nkuba."],
    [858,"She has curly hair.","Alina enviiri ez'amayengo."],
    [859,"She used to tease other children at school.","Yasojjanga abaana abalala ku ssomero."],
    [860,"Look, the dog is chasing him.","Laba, embwa eri mu kumugoba."],
    [861,"Look at yourself in the mirror and see how you look.","Weetunuulire mu ndabirwamu olabe bw'ofaanana."],
    [862,"When she was sick, she could not do most things by herself.","Bwe yali omulwadde, yali tasobola kwekolera bintu ebisinga."],
    [863,"She got over the thoughts of killing herself.","Ebirowoozo by'okwagala okwetta yabivaako."],
    [864,"What does she use to paint pictures?","Asiigisaaki ebifaananyi?"],
    [865,"She got so scared when someone knocked at her door at night.","Yatya omuntu bwe yakonkona ku luggi lwe ekiro."],
    [866,"You are free to believe in whatever you want.","Oli wa ddembe okukkiririza mu kyonna ky'oyagala."],
    [867,"Children would like to grow in an environment in which they can express themselves.","Abaana bandyetaaze okukulira mu mbeera nga basobola okweyabiza be balimu."],
    [868,"The children find grandmother's stories very interesting.","Abaana banyumirwa nnyo obugero bwa jjajja omukazi."],
    [869,"He began his business with capital of two hundred Uganda shillings.","Yatandika bizinensi ye n'entandikwa ya siringi za Uganda ebikumi bibiri."],
    [870,"Out of curiosity, the children asked the teacher very many questions.","Olw'okwagala okumanya, abaana baabuuza omusomesa ebibuuzo nkumuliitu."],
    [871,"He sold his car at a higher price than he bought it.","Emmotoka yagitunda ssente nnyingi okusinga ze yagigula."],
    [872,"Her wedding meetings will be held from home every Sunday evening.","Enkiiko z'embaga ye zijja kutuuzibwanga waka buli lwa Ssande akawungeezi."],
    [873,"He decided to quit his job.","Yasalawo okulekulira omulimu gwe."],
    [874,"My grandfather knows almost everyone in the village.","Jjajjange omusajja amanyi kumpi buli muntu ku kyalo."],
    [875,"The young man is working hard so that he can become rich in future.","Omuvubuka akola butaweera asobole okufuuka omugaga gye bujja."],
    [876,"He spent five days walking through the forest.","Yamala ennaku ttaano ng'atambulira mu kibira."],
    [877,"He was very happy that his wife gave birth to a baby boy.","Yasanyuka nnyo nti mukyala we yazaala omwana omulenzi."],
    [878,"We were surprised when she did not turn up on her sister's wedding.","Twewuunya nnyo bw'atajja ku mbaga ya muganda we."],
    [879,"I spent two hours talking with my sister on phone.","Nnamala essaawa bbiri nga njogera ne muganda wange/mwannyinaze ku ssimu."],
    [880,"I enjoy listening to music during my free time.","Nnyumiwa okuwuliriza ennyimba mu biseera byange eby'eddembe."],
    [881,"He is a humble man despite his wealth.","Musajja mwetowaze newankubadde nga mugagga."],
    [882,"He does not want people to know his true identity.","Tayagala bantu kumanya kituufu ky'ali."],
    [883,"The man decided to travel back to his home country.","Omusajja yasalawo okutambula okuddayo mu ggwanga lye gye bamuzaala."],
    [884,"He managed to chase away encroachers on his land.","Yasobola okugoba abaali beesenza ku ttaka lye."],
    [885,"The young man was praised for his courage.","Omuvubuka yatenderezebwa olw'obuvumu bwe."],
    [886,"Leadership comes from God.","Obukulembeze buva eri Katonda."],
    [887,"Leaders need wisdom in order to govern their people well.","Abakulembeze beetaaga amagezi okusobola okufuga abantu baabwe obulungi."],
    [888,"Everything he does is for the good of him and his family.","Buli ky'akola akikola ku lwa bulungi bwe ne famire ye."],
    [889,"He sat back and watched the dogs play.","Yatuula eri n'alaba embwa bwe zizannya."],
    [890,"My cousin sister and I are agemates.","Nze ne kizibwe wange tuli mu myaka gye gimu."],
    [891,"He is the youngest in his family but he acts mature.","Y'asinga obuto mu famire ye naye yeeyisa kikulu."],
    [892,"Being young has its own advantages.","Okubeera omuto kulina ebirungi byakwo."],
    [893,"He gave me a good business idea.","Yampa ekirowoozo kya bizinensi ekirungi."],
    [894,"I have never boarded a train before.","Sirinnyangako ku ggaali ya mukka."],
    [895,"My grandparents are still in love with each other.","Bajjajja bange bakyayagalana."],
    [896,"I had a chance of seeing my great grandmother before she died.","Nnafuna omukisa okulaba ku maama azaala jjajjange nga tannafa."],
    [897,"My nephews have not yet been introduced to other family members.","Abajjwa bange tebannayanjulirwa ba mmemba ba famire balala."],
    [898,"The clever students passed the examination with high scores.","Abayizi abagezi baayita ekigezo n'obubonero obwa waggulu."],
    [899,"He was caught trying to climb our neighbour's fence.","Yakwatibwa ng'agezaako okuwalampa ekikomera kya muliraanwa waffe."],
    [900,"He requested me to be his friend.","Yansaba mbeere mukwano gwe."],
    [901,"She agreed to the company policies and terms of operation.","Yakkiriziganya n'enkola za kkampuni wamu n'obukwakkulizo kw'ekolera emirimu gyayo."],
    [902,"He drew a picture of an antelope on the piece of paper.","Yakuba ekifaananyi ky'empala ku lupapula."],
    [903,"His wife became fat after giving birth.","Mukyala we yagejja oluvannyuma lw'okuzaala."],
    [904,"She was tempted to steal the neighbours ripe bananas from the garden.","Yakemebwa okubba amenvu ga muliraanwa agaali gengedde mu nnimiro."],
    [905,"Do not trust him because he is not a man of his word.","Tomwesiga kubanga musajja atakuuma kigambo kye."],
    [906,"Women cannot have children when they reach the age of sixty.","Abakazi tebasobola kuzaala bwe batuuka mu myaka nkaaga."],
    [907,"He cut off some of the tree branches.","Amatabi g'omuti agamu yagatemako."],
    [908,"We were shocked by her health status.","Embeera y'obulamu bwe yatukanga nnyo."],
    [909,"My friend likes begging.","Mukwano gwange ayagala okusabiriza."],
    [910,"Of the two boys, who is older?","Ku balenzi ababiri ani mukulu?"],
    [911,"Children spend more than five years in primary school.","Abaana bamala emyaka egisoba mu etaano nga bali mu kusoma kwa pulayimale."],
    [912,"English was his best subject.","Olungereza ly'essomo lye yali asinga okukola obulungi."],
    [913,"He is one of the best lawyers in town.","Y'omu ku bannamateeka abasinga obulungi mu kibuga."],
    [914,"The girls live with their mother.","Abawala babeera ne nnyaabwe."],
    [915,"She was a very hardworking farmer.","Yali mulimi omukakaalukanyi ennyo."],
    [916,"Her father died at fifty five years of age.","Kitaawe yafiira ku myaka amakumi ataano mu etaano egy'obukulu."],
    [917,"He kicked his friend in the stomach.","Yasamba mukwano gwe mu lubuto."],
    [918,"She felt sad when things did not go as planned.","Yawulira ennaku ebintu bwe bitaagenda nga bwe yali abiteeseteese."],
    [919,"The women's group in the village has come up with a number of projects.","Ekibiina ky'abakyala ku kyalo kigunjizzaawo puloojekiti ez'enjawulo."],
    [920,"My mother has very many friends.","Maama alina emikwano mingi nnyo."],
    [921,"Not all boys can play football.","Si buli mulenzi nti asobola okusamba omupiira."],
    [922,"She does not know how to peel food.","Tamanyi kuwaata mmere."],
    [923,"She forgot to lock her bedroom.","Yeerabira okusiba ekisenge kye."],
    [924,"The dog was playing with the little boy.","Embwa yali ezannya n'omulenzi omuto."],
    [925,"He pulled money out of his wallet.","Yasika ssente okuva mu waleti ye."],
    [926,"Bosses want obedient workers.","Abakozesa baagala abakozi abawulize."],
    [927,"His stepmother mistreats him.","Muka kitaawe amubonyaabonya."],
    [928,"She apologised for being cruel.","Yeetonda olw'okubeera omukambwe."],
    [929,"We left mother at home feeding the baby.","Maama twamuleka waka ng'aliisa mwana."],
    [930,"Her mother's friends have learned to be good to their dogs.","Mikwano gya nnyina giyize okubeera emirungi eri embwa zaabwe."],
    [931,"My brother is a very handsome man.","Muganda wange/mwannyinaze musajja mulungi nnyo."],
    [932,"Chefs must put on aprons while cooking.","Abafumbi abakugu bateekeddwa okwekubirako obugoye nga bafumba."],
    [933,"Most of the girls are jealousy of her beauty.","Abawala abasinga bamukwatirwa obuggya olw'obulungi bwe."],
    [934,"You need to get rid of some characters.","Weetaaga okweggyamu enneeyisa ezimu."],
    [935,"The twins used to wear similar clothes.","Abalongo baayambalanga engoye ezifaanagana."],
    [936,"She was wearing a very light cloth.","Yali ayambadde akagoye akawewere ennyo."],
    [937,"He splashed dirty water on me.","Yansammuliza amazzi agaddugala."],
    [938,"He decided to participate in the swimming competitions.","Yasalawo okwetaba mu mpaka z'okuwuga."],
    [939,"She is jealous of her sister.","Akwatirwa muganda we obuggya."],
    [940,"She tried to cry but there were no tears in her eyes.","Yagezaako okukaaba naye nga mu maaso ge temuli maziga."],
    [941,"She used to weep everyday because she did not have a child.","Yakaabanga buli lunaku kubanga yali talina mwana."],
    [942,"She did not like the taste of the food.","Teyayagala ngeri mmere gye yali ewoomamu."],
    [943,"It was so rude of her to spit in her friend's face.","Kyali kya jjoogo nnyo okuwandulira mukwano gwe amalusu mu maaso."],
    [944,"I think it is not good for people to just spit saliva anywhere.","Ndowooza si kirungi abantu okugenda nga bawanda amalusu buli we basanze."],
    [945,"After eating a lot of food, her stomach grew bigger.","Oluvannyuma lw'okulya emmere ennyingi ennyo, olubuto lwe lwagejja."],
    [946,"He has a bad odour.","Avaamu olusu."],
    [947,"Her beddings are smelling urine.","Ebikunta bye biwunya omusulo."],
    [948,"She ran so fast because some stranger was chasing her.","Yadduka nnyo kubanga omuntu gw'atamanyi yali amugoba."],
    [949,"As she was running, she fell down.","Bwe yali adduka n'agwa."],
    [950,"The mad man was very dirty and smelly.","Omusajja omulalu yali addugala nnyo ate ng'awunya."],
    [951,"The woman looked pale and upset.","Omukazi yalabika ng'apeeruuse era nga munyiivu."],
    [952,"She is allergic to certain smells.","Obuwoowo obumu bumutabangula."],
    [953,"He quickly ran into the office because he was late for the interview.","Yadduka bunnambiro mu woofiisi kubanga yali atuuse kikeerezi ku kubuuzibwa."],
    [954,"I could not tolerate the smell from her shoes.","Nnali sisobola kugumiikiriza kisu kyali kiva mu ngatto ze."],
    [955,"I feel more comfortable when I am at my grandmother's place.","Mpulira emirembe bwe mba ewa jjajjange omukazi."],
    [956,"He has a heart disease.","Alina obulwadde bw'omutima."],
    [957,"Her stepmother sent her away from home.","Muka kitaawe yamugoba awaka."],
    [958,"She washed her clothes from the rain.","Engoye ze yazooleza mu nkuba."],
    [959,"Girls must be clean.","Abawala bateekeddwa okubeera abayonjo."],
    [960,"She stayed with her grandmother for many years.","Yabeera ne jjajjaawe omukazi okumala emyaka mingi."],
    [961,"He asked his girl friend to marry him.","Yasaba muganzi we okumufumbirwa."],
    [962,"His parents did not agree to this marriage.","Bazadde be tebakkiriziganya na bufumbo buno."],
    [963,"Mother wants her sister to come and live with us.","Maama ayagala muganda we ajje tutandike okubeera naye."],
    [964,"She promised never to go back to their house.","Yasuubiza obutadda mu nju yaabwe."],
    [965,"Parents must love their children.","Abazadde bateekeddwa okwagala abaana baabwe."],
    [966,"She invited her grandmother to live with her in the house.","Yayita jjajjaawe omukazi okujja abeere naye mu nju."],
    [967,"His new boat has a very powerful engine.","Eryato lye eppya lirina yingini ey'amaanyi ennyo."],
    [968,"He told his friend about the family tour.","Yagamba mukwano gwe ku lugendo lwa famire."],
    [969,"The men built the boat out of wood.","Abasajja babajja eryato mu muti."],
    [970,"He drowned because he was not wearing a life jacket.","Yabbira kubanga yali tayambadde kizibaawo kimutangira kubbira."],
    [971,"It is very hard to drown in water if you know how to swim.","Kizibu okubbira mu mazzi singa obeera ng'omanyi okuwuga."],
    [972,"She waved back to the kids that were waving at her.","Yawuubira ku baana abaali bamuwuubirako."],
    [973,"He will be flown to the hospital.","Ajja kutwalibwa mu ddwaliro mu nnyonyi."],
    [974,"The fisher men need more fishing boats.","Abavubi beetaaga amaato agakozesebwa mu kuvuba amalala."],
    [975,"My teeth is very delicate.","Amannyo gange ga kwegendereza."],
    [976,"I drink water every day.","Nnywa amazzi buli lunaku."],
    [977,"Let us go with her to the party.","Tugende naye ku kabaga."],
    [978,"He swam across the river.","Yawuga n'asala omugga."],
    [979,"I knocked my toe on the stone.","Nakoona akagere kange ku jjinja."],
    [980,"He constructed his house on a hill.","Ennyumba ye yagizimba ku kasozi."],
    [981,"He encouraged him to make friends.","Yamukubiriza okukola emikwano."],
    [982,"She is very lucky to be the first lady of this country.","Wa mukisa nnyo okubeera mukyala wa pulezidenti w'eggwanga lino."],
    [983,"It is believed that Adam was the first man God created.","Kikkirizibwa nti, Adam ye muntu Katonda gwe yasooka okutonda."],
    [984,"Her mother took her to town, to choose her dream dress.","Nnyina yamutwala mu kibuga okwerondera ekiteeteeyi ky'ebirooto bye."],
    [985,"The dress we bought for her could not fit.","Ekiteeteeyi kye twamugulira tekyamutuuka."],
    [986,"She chose a yellow dress instead of the long skirt.","Yalonda ekiteeteeyi ekya kyenvu mu kifo kya ssikaati empanvu."],
    [987,"She was wearing an expensive necklace.","Yali ayambadde omukuufu ogw'ebbeeyi."],
    [988,"I saw an angel in my dream yesterday.","Nalabye malayika mu kirooto eggulo."],
    [989,"She did not have enough money to buy that hand bag.","Yali talina ssente zimala kugula nsawo ya mu ngalo eyo."],
    [990,"I was disappointed by the way our team played today.","Engeri ttiimu yaffe gy'ezannye leero ennennyamiza nnyo."],
    [991,"She puts some money in her saving box.","Ssente ezimu aziteeka mu kabookisi ke mw'aterekera."],
    [992,"My sister saved money in order to buy herself a new dress.","Muganda wange/mwannyinaze yatereka ssente asobole okwegulirayo ekiteeteeyi ekipya."],
    [993,"My mother's birthday is in the month of June.","Amazaalibwa ga maama ga mwezi Gwamukaaga."],
    [994,"All of us gave mother gifts on her birthday.","Ffenna twawa maama ebirabo ku mazaalibwa ge."],
    [995,"I am a person that loves to receive gifts from others.","Ndi muntu ayagala okufuna ebirabo okuva eri abalala."],
    [996,"She loves her daughter so much.","Ayagala nnyo muwala we."],
    [997,"He bought his wife a gold necklace.","Yagulira mukyala we omukuufu ogwa zzaabu."],
    [998,"I think there is no body that has never lied.","Sirowooza nti eriyo omuntu atalimbangako."],
    [999,"He hired a piece of land in order to grow tomatoes.","Yapangisa ettaka asobole okulima ennyaanya."],
    [1000,"His brother killed him.","Muganda we yamutta."],
    [1001,"You have the power to change the undesirable things around you.","Olina obuyinza okukyusa ebintu ebikwetoolodde ebitakusanyusa."],
    [1002,"She collected the plates from the dinning table and washed them.","Yategula essowaani okuva ku mmeeza eriirwako n'azooza."],
    [1003,"The water in her bucket poured.","Amazzi agaali mu kalobo ke gaayiika."],
    [1004,"She fell from the cliff of the mountain and died.","Yagwa okuva ku ndeboolebo y'olusozi n'afa."],
    [1005,"When she knocked me, the tea spilled on the flow.","Bwe yankoona, caayi yayiika wansi."],
    [1006,"He killed his wife as a way of getting rid of her.","Yatta mukyala we ng'engeri y'okumwewonya."],
    [1007,"Her jewellery is valuable to her.","Ebyokwewunda bye bya muwendo gy'ali."],
    [1008,"He packed the car at the bottom of the mountain and started climbing.","Yasimba emmotoka wansi w'olusozi n'atandika okulinnya."],
    [1009,"He failed to carry the big stone from the ground.","Yalemererwa okusitula ejjinja eddene okuva ku ttaka."],
    [1010,"One of the stones she was throwing landed and injured her brother's head.","Erimu ku mayinja ge yali akasuka lyakuba era ne lireeta obuvune ku mutwe gwa mwannyina."],
    [1011,"I look at this situation as an opportunity for me.","Ntunuulira embeera eno ng'omukisa gyendi."],
    [1012,"She said that she does not eat pork.","Yagamba nti talya nnyama ya mbizzi."],
    [1013,"He gave his wife a diamond ring.","Yawa mukyala we empeta eriko y'alimansi."],
    [1014,"She was feeling a bit dizzy.","Yali awuliramu kamunguluze."],
    [1015,"I was so happy when my friends came to visit me at home.","Nnali musanyufu nnyo mikwano gyange bwe gyankyalira ewaka."],
    [1016,"The usher guided her to a front seat.","Ayaniriza abagenyi yamutuuza mu kifo eky'omu maaso."],
    [1017,"The Chief Executive Officer will be visiting the company branches tomorrow morning.","Omukungu ow'oku Ntikko ajja kukyalira amatabi ga kkampuni enkya ku makya."],
    [1018,"What was her reaction when you told her the truth?","Yakola ki ng'omubuulidde amazima?"],
    [1019,"He prepared the party all by himself.","Akabaga yakategeka yekka."],
    [1020,"She never leaves her baby behind when going somewhere.","Taleka mwana we mabega ng'alina gy'alaga."],
    [1021,"I have just received some sad news.","Nnaakafuna amawulire amabi."],
    [1022,"Mother held his hand and led him outside.","Maama yamukwata omukono n'amufulumya ebweru."],
    [1023,"I think I know where the venue is located.","Ndowooza mmanyi ekifo we kisangibwa."],
    [1024,"Students rushed out of the class when it was break time.","Abayizi baayanguwa okufuluma ebweru w'ekibiina essaawa z'okuzannya bwe zaali zituuse."],
    [1025,"The man stared at us without blinking.","Omusajja yatutunuulira awatali kutemya."],
    [1026,"The child got lost when she went looking for her a dog in the garden.","Omwana yabula bwe yagenda ng'anoonya embwa ye mu nnimiro."],
    [1027,"Do you remember the late village chief?","Ojjukira omwami w'ekyalo eyafa?"],
    [1028,"He walks with his hat on the head.","Atambula n'enkofiira ye ku mutwe."],
    [1029,"His wife embarrassed him before her friends.","Mukyala we yamuswaza mu maaso ga mikwano gye."],
    [1030,"He went through a lot of hardships to get to where he is.","Yayita mu bizibu bingi okutuuka w'ali kati."],
    [1031,"He enjoyed the fruits of his hard work.","Yanyumirwa ebibala by'entuuyo ze."],
    [1032,"She smiled because most of her problems were solved.","Yamwenya kubanga ebizibu bye ebisinga obungi byali bigonjoddwa."],
    [1033,"The cow almost killed him with its horn.","Ente kata emutte n'ejjembe lyayo."],
    [1034,"Both her parents are tall people.","Bazadde be bombi bawanvu."],
    [1035,"Children prefer sweets with sticks.","Abaana basinga kwagala swiitikati."],
    [1036,"The girls' parents are so proud of her.","Bazadde b'omuwala bamwenyumiririzaamu nnyo."],
    [1037,"My birthday is a special day to me.","Amazaalibwa gange lunaku lwa njawulo gye ndi."],
    [1038,"By six in the evening, mother was already preparing supper.","We zaawerera essaawa kkumi na bbiri ez'akawungeezi, maama yali ateekateeka kyaggulo."],
    [1039,"Mother packs for him food whenever he is going to school.","Maama amusibirira emmere buli lw'aba agenda ku ssomero."],
    [1040,"I think it is risky to live in mountainous areas.","Ndowooza kya bulabe okubeera mu bitundu eby'ensozi."],
    [1041,"He put his house at the top of a hill.","Ennyumba ye yagiteeka ku ntikko ya lusozi."],
    [1042,"I want to learn how to make sandwiches.","Njagala kuyiga kukola migaati gye bateekamu eby'okulya ebirala wakati."]
]}
