<data xmlns:xsi="http://www.w3.org/2001/XMLSchema-instance">
<row _id="1"><English>I started getting my menstruation periods when I was thirteen years old.</English><Luganda>Nnatandika okugenda mu nsonga z'ekikyala nga nnina emyaka kkumi n'esatu.</Luganda></row>
<row _id="2"><English>My brother has trained his daughters to greet people while kneeling down.</English><Luganda>Muganda wange/mwannyinaze atendese bawala be okubuuza abantu nga bafukamidde.</Luganda></row>
<row _id="3"><English>In our culture, women are supposed to kneel when greeting elders.</English><Luganda>Mu buwangwa bwaffe abakazi bateekeddwa okufukamira nga babuuza abantu abakulu.</Luganda></row>
<row _id="4"><English>The school needs a new mathematics teacher for the primary five pupils.</English><Luganda>Essomero lyetaaga omusomesa w'essomo ly'okubala omupya ow'abayizi ab'ekibiina ekyokutaano.</Luganda></row>
<row _id="5"><English>My pregnant sister is always craving for raw mangoes.</English><Luganda>Muganda wange/mwannyinaze ali olubuto buli kaseera abeera ayoya obuyembe obuto.</Luganda></row>
<row _id="6"><English>My husband is stressed about the children's school fees.</English><Luganda>Baze mweraliikirivu ku bisale by'abaana eby'essomero.</Luganda></row>
<row _id="7"><English>I was attracted to him by his bright smile.</English><Luganda>Nnasikirizibwa akamwenyumwenyu ke akalungi.</Luganda></row>
<row _id="8"><English>She went for a walk to calm herself down after having an argument with her husband.</English><Luganda>Yagenda okutambulamu okusobola okwekkakkanya oluvannyuma lw'oluyombo ne bba.</Luganda></row>
<row _id="9"><English>He received the good news about the birth of his daughter while on his way to the hospital.</English><Luganda>Yafuna amawulire amalungi ag'okuzaalibwa kwa muwala we bwe yali akyali mu kkubo ng'agenda mu ddwaliro.</Luganda></row>
<row _id="10"><English>I saw your mother in the market yesterday.</English><Luganda>Nnalabye maama wo mu katale eggulo.</Luganda></row>
<row _id="11"><English>The doctor advised my father to stop drinking alcohol.</English><Luganda>Ddokita yawa taata amagezi okulekera awo okunywa omwenge.</Luganda></row>
<row _id="12"><English>His cheating habits made his wife to divorce him.</English><Luganda>Emize gye egy'obwenzi gyaleetera mukyala we okugattululwa naye.</Luganda></row>
<row _id="13"><English>I temporarily lost vision in one eye.</English><Luganda>Eriiso lyange erimu lyamala akaseera nga teriraba.</Luganda></row>
<row _id="14"><English>He has been dating my best friend for five years.</English><Luganda>Abadde akwana mukwano gwange asinga okumala emyaka etaano.</Luganda></row>
<row _id="15"><English>My wife was so taken up by the television that she did not hear me knocking.</English><Luganda>Mukyala wange yabadde ebirowoozo abimalidde ku ttivvi n'okutuuka obutampulira nga nkonkona.</Luganda></row>
<row _id="16"><English>She sold her phone because she wanted to buy a new one.</English><Luganda>Yatunda essimu ye kubanga yali ayagala kugula mpya.</Luganda></row>
<row _id="17"><English>He received a phone call from his daughter this morning.</English><Luganda>Muwala we yamukubidde essimu amakya ga leero.</Luganda></row>
<row _id="18"><English>Some students can't attend online classes because they don't have access to computers while at home.</English><Luganda>Abayizi abamu tebasobola kusomera ku mutimbagano kubanga tebalina kompyuta za kukozesa nga bali awaka.</Luganda></row>
<row _id="19"><English>The teacher gave us several assignments so that we could understand that topic better.</English><Luganda>Omusomesa yatuwa emirimu egy'enjawulo okusobola okutegeera obulungi omulamwa gwe twali tusomako.</Luganda></row>
<row _id="20"><English>The lecturer records the lessons for students who aren't able to attend the classes in real-time.</English><Luganda>Omuyigiriza akwatira abayizi abatasobola kwetaba mu kusoma obutambi bw'ebisomesebwa ng'okusoma kugenda mu maaso.</Luganda></row>
<row _id="21"><English>The school issued a directive that all students who attend online classes should pay fees on time.</English><Luganda>Essomero lyayisa ekiragiro nti abayizi bonna abasomera ku mutimbagano balina okusasula ebisale byabwe eby'essomero mu budde.</Luganda></row>
<row _id="22"><English>All students will be expected to carry at least five reusable masks when reporting to school.</English><Luganda>Abayizi bonna bajja kusuubirwa okutwala waakiri obukookolo obusobola okuddamu okukozesebwa butaano nga baddayo ku ssomero.</Luganda></row>
<row _id="23"><English>The teacher taught us how to multiply numbers yesterday.</English><Luganda>Omusomesa yatusomesezza okukubisa emiwendo eggulo.</Luganda></row>
<row _id="24"><English>The doctor asked to see me physically because he couldn't diagnose me without a proper checkup.</English><Luganda>Ddokita yasaba okundaba mu buliwo kubanga yali tasobola kumanya kinnuma nga takoze kukebera kutuufu.</Luganda></row>
<row _id="25"><English>The manager has invited us for a brief meeting in her office.</English><Luganda>Maneja atuyise mu woofiisi ye mu lukiiko olw'amangu.</Luganda></row>
<row _id="26"><English>Some students prefer evening lectures to morning lectures.</English><Luganda>Abayizi abamu baagala okusoma mu budde bw'akawungeezi okusinga ku makya.</Luganda></row>
<row _id="27"><English>The university has added computer lessons to the syllabus.</English><Luganda>Yunivaasite eyongeddeko essomo lya kkompyuta ku bisomesebwa.</Luganda></row>
<row _id="28"><English>My father has been a teacher for thirty years.</English><Luganda>Kitange abadde musomesa okumala emyaka amakumi asatu.</Luganda></row>
<row _id="29"><English>My sister is studying medicine at the university.</English><Luganda>Muganda wange/mwannyinaze asoma busawo ku yunivaasite.</Luganda></row>
<row _id="30"><English>My mother wrote down the recipe to guide me when cooking the chicken.</English><Luganda>Mmange yawandiika bye nnina okugoberera nga nfumba enkoko.</Luganda></row>
<row _id="31"><English>The assistant manager has been sick for two weeks.</English><Luganda>Amyuka maneja abadde mulwadde okumala wiiki bbiri.</Luganda></row>
<row _id="32"><English>My mother is a qualified nurse.</English><Luganda>Mmange mujjanjabi mutendeke.</Luganda></row>
<row _id="33"><English>Half of the students in our class do not know how to use computers.</English><Luganda>Amakkati g'abayizi mu kibiina kyaffe tebamanyi kukozesa kompyuta.</Luganda></row>
<row _id="34"><English>My aunt has applied for a job as a receptionist at the bank.</English><Luganda>Ssenga wange/maama omuto asabye omulimu gw'okukola ng'ayaniriza abagenyi mu bbanka.</Luganda></row>
<row _id="35"><English>I have to attend a lecture in thirty minutes.</English><Luganda>Nina okugenda mu kibiina okusoma mu ddakiika amakumi asatu.</Luganda></row>
<row _id="36"><English>The pastor advised the newlyweds to respect each other in their marriage.</English><Luganda>Omusumba yawa abagole amagezi okuwaana ekitiibwa mu bufumbo bwabwe.</Luganda></row>
<row _id="37"><English>My son joined the university two months ago.</English><Luganda>Mutabani wange yeegatta ku yunivaasite emyezi ebiri egiyise.</Luganda></row>
<row _id="38"><English>My brother failed to solve the riddle I gave him.</English><Luganda>Muganda wange/mwannyinaze yalemereddwa okutta ekikokko kye nnamuwadde.</Luganda></row>
<row _id="39"><English>Some children are afraid of the dark.</English><Luganda>Abaana abamu batya enzikiza.</Luganda></row>
<row _id="40"><English>The students have agreed to work in teams on the assignment.</English><Luganda>Abayizi bakkiriziganyizza okukolera mu bibinja nga bakola omulimu.</Luganda></row>
<row _id="41"><English>I swallowed painkillers to treat the headache.</English><Luganda>Nnamira obuweke obukkakkanya ku bulumi okujjanjaba omutwe ogwali gunnuma.</Luganda></row>
<row _id="42"><English>The patient is having visions of him being discharged.</English><Luganda>Omulwadde afuna okwolesebwa ng'asiibuddwa.</Luganda></row>
<row _id="43"><English>I felt a strong urge to drink a soda when I saw the advert.</English><Luganda>Nnawulidde okulookalooka okw'amaanyi okw'okunywa soda oluvannyuma lw'okulaba akalango.</Luganda></row>
<row _id="44"><English>She is always smelling good.</English><Luganda>Buli kaseera abeera awunya bulungi.</Luganda></row>
<row _id="45"><English>She was wrong about him.</English><Luganda>Yamufuna bukyamu.</Luganda></row>
<row _id="46"><English>Our father was very angry when we spoilt the new television.</English><Luganda>Kitaffe yali munyiivu nnyo bwe twayonoona ttivvi empya.</Luganda></row>
<row _id="47"><English>The students will start their examinations next week on Monday.</English><Luganda>Abayizi bajja kutandika ebigezo byabwe ku Lwokusooka lwa wiiki ejja.</Luganda></row>
<row _id="48"><English>She makes summaries of her notes to guide her when reading for the final examinations.</English><Luganda>Afunza by'asoma okusobola okumuluamya ng'atuuse okusomera ebigezo bye eby'akamalirizo.</Luganda></row>
<row _id="49"><English>My brother is a skilled dentist.</English><Luganda>Muganda wange/mwannyinaze musawo w'amannyo omukugu.</Luganda></row>
<row _id="50"><English>The computer teacher taught the first-year students how to use their e-learning accounts to submit assignments.</English><Luganda>Omusomesa wa kompyuta yasomesa bayizi b'omwaka ogusooka engeri y'okuwaayo emirimu gyabwe nga bakozesa akaawunti zaabwe ez'okumutimbagano kwe basomera.</Luganda></row>
<row _id="51"><English>My father bought me a laptop when I joined university.</English><Luganda>Kitange yangulira kompyuta bwe nnatandika okusoma ku yunivaasite.</Luganda></row>
<row _id="52"><English>My brother repairs faulty computers.</English><Luganda>Muganda wange akanika kompyuta enfu.</Luganda></row>
<row _id="53"><English>I learnt how to bake during my senior six vacation.</English><Luganda>Nayiga okufumba mu luwummula lwange olwa siniya ey'omukaaga.</Luganda></row>
<row _id="54"><English>He partnered with his wife to start a bakery.</English><Luganda>Yakwatagana ne mukayala we okutandikawo bbeekeeri.</Luganda></row>
<row _id="55"><English>Some children do not go to school because their parents cannot afford to pay school fees.</English><Luganda>Abaana abamu tebagenda ku ssomero kubanga bazadde baabwe tebasobola kubasasulira bisale bya ssomero.</Luganda></row>
<row _id="56"><English>The organization has started a programme to support widows and orphans in this area.</English><Luganda>Ekitongole kitandiseewo enteekateeka y'okuyamba bannamwandu ne ba mulekwa mu kitundu kino.</Luganda></row>
<row _id="57"><English>She distributed free exercise books to the children in her village.</English><Luganda>Yagaba ebitabo ebiwandiikwamu eby'obwereere eri abaana b'oku kyalo kye.</Luganda></row>
<row _id="58"><English>Eighty percent of the students in Uganda have no access to internet.</English><Luganda>Abayizi ebitundu kinaana ku buli kikumi mu Uganda tebasobola kubeera ku mutimbagano.</Luganda></row>
<row _id="59"><English>My father lectures political science at the university.</English><Luganda>Kitange asomesa saayansi wa byabufuzi ku yunivaasite.</Luganda></row>
<row _id="60"><English>All new employees are trained for a month before they officially start working.</English><Luganda>Abakozi bonna abapya batendekebwa okumala omwezi gumu nga tebannatandika kukola mu butongole.</Luganda></row>
<row _id="61"><English>The manager is able to observe everything we do from his office.</English><Luganda>Maneja asobola okulaba byonna bye tukola ng'asinziira mu woofiisi ye.</Luganda></row>
<row _id="62"><English>The teacher cleaned her desk before she started the lesson.</English><Luganda>Omusomesa yalongoosa entebe ye nga tannatandika kusomesa.</Luganda></row>
<row _id="63"><English>The suspect failed to prove his innocence in court.</English><Luganda>Ateeberezebwa yalemererwa okukakasa nti talina musango ng'ali mu kkooti.</Luganda></row>
<row _id="64"><English>Some teachers use projectors during their lessons instead of writing on the blackboard.</English><Luganda>Abasomesa abamu bakozesa pulojekita nga basomesa mu kifo ky'okuwandiika ku lubaawo.</Luganda></row>
<row _id="65"><English>I downloaded the class notes to my phone for further revision.</English><Luganda>Nnawanudde ebirina okusomebwa mu kibiina ne mbissa ku ssimu yange okwongera okubyekenneenya.</Luganda></row>
<row _id="66"><English>The doctor has prescribed a cough syrup for my baby.</English><Luganda>Ddokita awadde omwana wange ssirapu y'ekifuba.</Luganda></row>
<row _id="67"><English>Every individual has a choice to choose the career they want to pursue.</English><Luganda>Buli muntu alina omukisa okusalawo ky'ayagala okukola mu bulamu bwe.</Luganda></row>
<row _id="68"><English>The nurse disinfected the surface of the wound before covering it with a bandage.</English><Luganda>Omujjanjabi yatta obuwuka obwali ku kiwundu nga tannaba kukisibako bbandegi.</Luganda></row>
<row _id="69"><English>I encourage my students to ask questions when they do not understand something in class.</English><Luganda>Nkubiriza abayizi bange okubuuza ebibuuzo ku bye baba batategedde mu kibiina.</Luganda></row>
<row _id="70"><English>Children should be taught how to use computers from a young age.</English><Luganda>Abaana balina okusomesebwa engeri y'okukozesaamu kompyuta okuva nga bakyali bato.</Luganda></row>
<row _id="71"><English>Most companies nowadays do not hire employees who are computer illiterate.</English><Luganda>Kkampuni ezisinga ensangi zino tezikyawa mirimu bakozi batalina bukugu mu kompyuta.</Luganda></row>
<row _id="72"><English>Teachers should advise their students on how to overcome the challenges in their studies.</English><Luganda>Abasomesa basaanye okuwabula abayizi baabwe ku ngeri y'okuvvuunukamu okusoomoozebwa kwe basanga mu kusoma kwabwe.</Luganda></row>
<row _id="73"><English>He lost weight by exercising every day.</English><Luganda>Yasala ku bunene ng'akola dduyiro buli lunaku.</Luganda></row>
<row _id="74"><English>She bought her children phones to use for their online classes during the lockdown.</English><Luganda>Yagulira abaana be amasimu ag'okukozesa nga basomera ku mutimbagano mu muggalo.</Luganda></row>
<row _id="75"><English>There will be a workshop for all teachers tomorrow.</English><Luganda>Wajja kubaawo omusomo gw'abasomesa bonna enkya.</Luganda></row>
<row _id="76"><English>My husband's heart surgery was successful.</English><Luganda>Okulongoosebwa kwa baze okw'omutima kwagenda bulungi.</Luganda></row>
<row _id="77"><English>Most children nowadays learn how to use phones at a young age.</English><Luganda>Abaana abasinga obungi ensangi zino bayiga okukozesa amasimu nga bakyali bato.</Luganda></row>
<row _id="78"><English>He is reading a book about financial planning.</English><Luganda>Ali mu kusoma katabo akakwata ku nteekerateekera y'ensimbi.</Luganda></row>
<row _id="79"><English>My sister wants to learn how to cook chicken stew.</English><Luganda>Muganda wange/mwannyinaze ayagala kuyiga ngeri ya kufumbamu nva za nkoko.</Luganda></row>
<row _id="80"><English>My son built a volcano for his science project.</English><Luganda>Mutabani wange yazimba olusozi oluwanda omuliro mu puloojekiti ye eya ssaayansi.</Luganda></row>
<row _id="81"><English>She is raising awareness against child abuse in Uganda.</English><Luganda>Amanyisa abantu ku kabi akali mu kutulugunya abaana mu Uganda.</Luganda></row>
<row _id="82"><English>The children in foreign countries study according to their passion instead of following a general curriculum.</English><Luganda>Abaana mu mawanga g'ebweru basoma kusinziira ku kye balinamu obwagazi okusinga okugoberera ebisomesebwa ebyawamu.</Luganda></row>
<row _id="83"><English>My mother plans to service her loan using the profits from the bakery.</English><Luganda>Mmange ateekateeka okusasula ebbanja lye ng'akozesa amagoba okuva mu bbeekeeri.</Luganda></row>
<row _id="84"><English>I regret quitting my job over a minor disagreement.</English><Luganda>Nnejjusa okulekulira omulimu gwange olw'obutakkaanya obutono.</Luganda></row>
<row _id="85"><English>She has been switching between online and physical classes for her students.</English><Luganda>Abaddenga akyusizakyusiza abayizi be ng'abasomesaako mu buliwo ate ne ku mutimbagano.</Luganda></row>
<row _id="86"><English>The bride designed her wedding gown with beads from her mother's necklace.</English><Luganda>Omugole yatona ekiteeteeyi kye eky'embaga n'embira ezaava ku mukuufu gwa nnyina.</Luganda></row>
<row _id="87"><English>She plans to open a music school in the city.</English><Luganda>Ateekateeka kuggulawo ssomero lya byakuyimba mu kibuga.</Luganda></row>
<row _id="88"><English>Every student is required to have all these requirements when reporting to the school.</English><Luganda>Buli muyizi yeetaagibwa okuba n'ebisaanyizo bino byonna ng'ajja ku ssomero.</Luganda></row>
<row _id="89"><English>My daughter wants to study engineering.</English><Luganda>Muwala wange ayagala kusoma bwa yinginiya.</Luganda></row>
<row _id="90"><English>Education equips children with the skills they need for employment.</English><Luganda>Obuyigirize buwa abaana obukugu bwe beetaaga mu nsi ey'emirimu.</Luganda></row>
<row _id="91"><English>His family has been involved in their wedding preparations since they announced their engagement.</English><Luganda>Famire ye ebadde yenyigidde mu kuteekateeka embaga yaabwe okuva ekiseera we baalangirira nti bagenda kufumbiriganwa.</Luganda></row>
<row _id="92"><English>My mother helps me with my homework every evening.</English><Luganda>Maama annyambako okukola emirimu gye bampa okukolera awaka buli kawungeezi.</Luganda></row>
<row _id="93"><English>She lost her original academic documents in a fire that caught their house last month.</English><Luganda>Ebiwandiiko by'obuyigirize bwe ebyaddala byaggyiira mu muliro ogwakwata enju yaabwe omwezi oguwedde.</Luganda></row>
<row _id="94"><English>Your daughter performed poorly in the examinations this term.</English><Luganda>Muwala wo yakoze bubi mu bigezo olusoma luno.</Luganda></row>
<row _id="95"><English>The employees' job performance is assessed based on their monthly reports.</English><Luganda>Enkola y'abakozi ey'emirimu epimirwa mu alipoota eza buli mwezi.</Luganda></row>
<row _id="96"><English>She wrote an inspirational book on how to overcome poverty.</English><Luganda>Yawandiika ekitabo ekizzaamu essuubi ku ngeri y'okumalawo obwavu.</Luganda></row>
<row _id="97"><English>Health workers have encouraged youths to use condoms during sex to prevent unwanted pregnancies.</English><Luganda>Ab'ebyobulamu bawadde abavubuka amagezi okukozesa obupiira nga beegatta okwewala embuto ze bateetegekedde.</Luganda></row>
<row _id="98"><English>Doctors advised the people to avoid crowds so as to reduce the spread of coronavirus.</English><Luganda>Ba ddokita baawa abantu amagezi okwewala okukuaana okusobola okukendeeza ku kusaasaana kw'akawuka ka kkolona.</Luganda></row>
<row _id="99"><English>She disagreed with her husband's decision to take their five year old son to boarding school.</English><Luganda>Teyakkiriziganya na kya bba kusalawo kutwala mutabani waabwe ow'emyaka etaano mu kisulo.</Luganda></row>
<row _id="100"><English>Some parents were shocked to learn that the school didn't inform them when their children fell sick.</English><Luganda>Abazadde abamu beekanga bwe baakimanya nti essomero teryabategeezaako abaana baabwe bwe baalwala.</Luganda></row>
<row _id="101"><English>The girls were advised by their leaders to abstain from sex until marriage.</English><Luganda>Abakulembeze b'abaana abawala babawa amagezi obuteegatta okutuusa nga bafumbiddwa.</Luganda></row>
<row _id="102"><English>Couples should both test for coronavirus in case one of them has the symptoms.</English><Luganda>Abaagalana bombi balina okwekebeza akawuka ka kkolona singa omu ku bo abeera ng'alina obubonero.</Luganda></row>
<row _id="103"><English>I discovered that going to bed early helps me to stay alert at work during the day.</English><Luganda>Nakizuula nti okugenda mu buliri nga bukyali kinnyamba obutasumagirira ku mulimu emisana.</Luganda></row>
<row _id="104"><English>I could not travel to visit my mother in the village because of the pandemic.</English><Luganda>Saasobola kugenda mu kyalo kukyalira ku maama olw'ekirwadde ky'ekikungo.</Luganda></row>
<row _id="105"><English>I arrived late for my mother's birthday party.</English><Luganda>Nnatuuka kikeerezi ku kabaga k'amazaalibwa ga mmange.</Luganda></row>
<row _id="106"><English>I gave my mother a bouquet of roses on Mother's Day.</English><Luganda>Nnawa mmange ekiganda ky'ebimuli bya looza ku Lunaku lwa Bamaama.</Luganda></row>
<row _id="107"><English>My brother has been in prison for six years.</English><Luganda>Muganda wange/mwannyinaze amaze emyaka mukaaga mu kkomera.</Luganda></row>
<row _id="108"><English>I wish all husbands would sometimes help their wives with housework.</English><Luganda>Singa kale abaami bonna oluusi bayambako bakyala baabwe n'emirimu gy'awaka.</Luganda></row>
<row _id="109"><English>He rose to fame for fighting for the rights of the oppressed citizens of Uganda.</English><Luganda>Yayatiikirira lwa kulwanirira ddembe lya Bannayuganda abayigganyizibwa.</Luganda></row>
<row _id="110"><English>He performed his new song at my introduction ceremony.</English><Luganda>Yayimba oluyimba lwe olupya ku mukolo gwange ogw'okwanjula.</Luganda></row>
<row _id="111"><English>The musician has organized a concert to raise money for cancer patients in Uganda.</English><Luganda>Omuyimbi ategese ekivvulu okusonderako ssente z'abalwadde ba kookolo mu Uganda.</Luganda></row>
<row _id="112"><English>She is not ready to have children.</English><Luganda>Si mwetegefu kuzaala baana.</Luganda></row>
<row _id="113"><English>My son cries whenever I refuse to give him my phone.</English><Luganda>Mutabani wange akaaba buli lwe aana okumuwa essimu yange.</Luganda></row>
<row _id="114"><English>She copied all my answers during the examination.</English><Luganda>Yakoppa ebyokuddamu byange byonna mu kigezo.</Luganda></row>
<row _id="115"><English>My father is a quiet man.</English><Luganda>Kitange musajja musirise.</Luganda></row>
<row _id="116"><English>He takes off his shoes as soon as he enters the house.</English><Luganda>Oluyingira ennyumba ng'engatto aziggyamu.</Luganda></row>
<row _id="117"><English>My father wore this belt for six years.</English><Luganda>Kitange omusipi guno yagwambala okumala emyaka mukaaga.</Luganda></row>
<row _id="118"><English>I am not scared of the teacher's punishment.</English><Luganda>Sitidde kibonerezo kya musomesa.</Luganda></row>
<row _id="119"><English>She needs a belt because the trousers are too big on her.</English><Luganda>Yeetaaga omusipi kubanga empale nnene nnyo ku ye.</Luganda></row>
<row _id="120"><English>She pretended to faint so that the judge would have mercy on her.</English><Luganda>Yeezirisa omulamuzi asobole okumukwatirwa ekisa.</Luganda></row>
<row _id="121"><English>He turned to me and asked me to leave the sitting room.</English><Luganda>Yankyukira era n'ansaba okuva mu ddiiro erituulwamu.</Luganda></row>
<row _id="122"><English>My body resisted the urge to slap my sister back.</English><Luganda>Omubiri gwange gwagaana okusindiikirizibwa ky'okuddizza muganda wange oluyi.</Luganda></row>
<row _id="123"><English>The girl ran away from home because she was being mistreated by her stepmother.</English><Luganda>Omuwala yadduka okuva awaka kubanga yali atulugunyizibwa muka kitaawe.</Luganda></row>
<row _id="124"><English>The doctors told me that I would never walk again after the accident.</English><Luganda>Abasawo baamba nti siriddamu kutambula oluvannyuma lw'akabenje.</Luganda></row>
<row _id="125"><English>She is scared that there may be snakes in the grass.</English><Luganda>Atya nti wandibaawo emisota mu muddo.</Luganda></row>
<row _id="126"><English>Our mother patiently waited for the party to end so as to drive us home.</English><Luganda>Maama yagumiikiriza akabaga okuggwa asobole okutuvuga atuzze ewaka.</Luganda></row>
<row _id="127"><English>He ignores me because I refused to marry him.</English><Luganda>Anneesamba kubanga nagaana okumufumbirwa.</Luganda></row>
<row _id="128"><English>My neighbour sent my sister to buy him salt at a nearby shop.</English><Luganda> Muliraanwa wange yatuma muganda wange/mwannyinaze okumugulira omunnyo ku dduuka eriri okumpi.</Luganda></row>
<row _id="129"><English>I panicked when I couldn't find my money.</English><Luganda>Nnatya nga siraba ssente zange.</Luganda></row>
<row _id="130"><English>He refused to apologize for eating my leftover food.</English><Luganda>Yagaana okwetonda olw'okulya emmere yange gye nnali ndeseewo.</Luganda></row>
<row _id="131"><English>She listened to our entire conversation.</English><Luganda>Yawuliriza emboozi yaffe yonna.</Luganda></row>
<row _id="132"><English>I climbed down from the tree when I saw my mother.</English><Luganda>Nnawanuka ku muti bwe nnalaba mmange.</Luganda></row>
<row _id="133"><English>Some parents do not apologize to their children even if they are in wrong.</English><Luganda>Abazadde abamu tebeetoondera baana baabwe ne bwe baba nga be bali mu nsobi.</Luganda></row>
<row _id="134"><English>I walked to the teacher and quietly requested her for permission to go ease myself.</English><Luganda>Nnatuukirira omusomesa mu kasirise ne mmusaba olukusa okugenda wabweru okweteewuluza.</Luganda></row>
<row _id="135"><English>My mother asked me to apologize to my father for shouting at him during supper.</English><Luganda>Mmange yansaba okwetondera taata olw'okumuleekaanira ku kyeggulo.</Luganda></row>
<row _id="136"><English>In the old days, children were not allowed to question their parents' decisions.</English><Luganda>Mu nnaku ziri ez'edda abaana baali tebakkirizibwa kubaako kye baddamu nga bazadde baabwe basazeewo.</Luganda></row>
<row _id="137"><English>My wife explained that she arrived home late because of the traffic jam.</English><Luganda>Mukyala wange yannyonnyola nti akalippagano k'ebidduka ke kamuviirako okutuuka eka ekikeerezi.</Luganda></row>
<row _id="138"><English>My father was seated at the dining table when I left for work.</English><Luganda>Kitange yali atudde ku mmeeza eriirwako we nnaviirawo okugenda ku mulimu.</Luganda></row>
<row _id="139"><English>Our late mother used to advise us to be disciplined at school.</English><Luganda>Omugenzi maama yatubuuliriranga okubeera ab'empisa ku ssomero.</Luganda></row>
<row _id="140"><English>My father forgave me for sneaking out of the house in the night.</English><Luganda>Taata yansonyiwa olw'okutoloka mu nnyumba ekiro.</Luganda></row>
<row _id="141"><English>I have never regretted getting married to my husband.</English><Luganda>Ssejjusangako kufumbirwa baze.</Luganda></row>
<row _id="142"><English>A mother's role is to ensure that her children are well fed.</English><Luganda>Obuvunaanyizibwa bwa maama kwe kukakasa nti abaana be balidde bulungi.</Luganda></row>
<row _id="143"><English>The two sisters have reconciled after five years of not talking to each other.</English><Luganda>Abooluganda ababiri abawala baatabagana oluvannyuma lw'okumala emyaka etaano nga tewali ayogera na munne.</Luganda></row>
<row _id="144"><English>Her husband was angry with her for misusing the money he gave her.</English><Luganda>Bba yali munyiivu gy'ali olw'okukozesa obubi ssente ze yamuwa.</Luganda></row>
<row _id="145"><English>His sister does not approve of his idea to open up a bar in the village.</English><Luganda>Mwannyina takkaanya na kirowoozo kye eky'okuggulawo ebbaala ku kyalo.</Luganda></row>
<row _id="146"><English>My father lost my respect the day he slapped my mother.</English><Luganda>Taata sikyamuwa kitiibwa okuva ku olunaku lwe yakuba maama oluyi.</Luganda></row>
<row _id="147"><English>Our mother succumbed to breast cancer last year.</English><Luganda>Maama waffe yafa obulwadde bwa kookolo w'ebbeere omwaka oguwedde.</Luganda></row>
<row _id="148"><English>My mother inspires me.</English><Luganda>Maama wange anzizaamu amaanyi.</Luganda></row>
<row _id="149"><English>He worked hard to build his house.</English><Luganda>Yakola nnyo okuzimba ennyumba ye.</Luganda></row>
<row _id="150"><English>She gave her son a sweet to calm him down.</English><Luganda>Yawa mutabani we ka sswiiti okumukkakkanya.</Luganda></row>
<row _id="151"><English>All married women should support their husbands.</English><Luganda>Abakyala bonna abafumbo balina okuwagira ba bbaabwe.</Luganda></row>
<row _id="152"><English>She found her husband lying in a pool of blood.</English><Luganda>Yasanga bba agangalamye mu kitaba ky'omusaayi.</Luganda></row>
<row _id="153"><English>His wife was murdered ten years ago.</English><Luganda>Mukyala we yatemulwa emyaka kkumi egiyise.</Luganda></row>
<row _id="154"><English>She is very influential in the world of politics.</English><Luganda>Wa maanyi nnyo mu nsi y'ebyobufuzi.</Luganda></row>
<row _id="155"><English>My son was knocked by a speeding car while he was on his way from school.</English><Luganda>Mutabani wange yatomerwa emmotoka eyali ewenyuka emisinde bwe yali ava ku ssomero.</Luganda></row>
<row _id="156"><English>He is pursuing a degree in education at the university.</English><Luganda>Asoma ddiguli ya busomesa ku yunivaasite.</Luganda></row>
<row _id="157"><English>She bathes her baby with warm water.</English><Luganda>Anaaza omwana we n'amazzi agabuguma.</Luganda></row>
<row _id="158"><English>She spent thirty minutes in the bathroom.</English><Luganda>Yamala eddakiika amakumi asatu mu kinaabiro.</Luganda></row>
<row _id="159"><English>My husband bathes before he eats his supper.</English><Luganda>Baze asooka kunaaba nga tannalya kyaggulo.</Luganda></row>
<row _id="160"><English>He was attacked by two men while he was leaving for work this morning.</English><Luganda>Yalumbiddwa abasajja babiri bwe yabadde agenda ku mulimu enkya ya leero.</Luganda></row>
<row _id="161"><English>My uncle broke his neck when he fell down the stairs.</English><Luganda>Kkojjange/kitange omuto yamenyeka ensingo bwe yagwa okuva waggulu ku madaala.</Luganda></row>
<row _id="162"><English>He told his daughter to hide under the bed when the robbers broke into their house.</English><Luganda>Yagamba muwala we okwekweka wansi w'ekitanda abazigu bwe baamenya ne bayingira mu nju yaabwe.</Luganda></row>
<row _id="163"><English>My mother gave the robbers three million Ugandan shillings hoping that they would spare our lives.</English><Luganda>Maama yawa abazigu obukadde busatu obwa siringi za Uganda ng'asuubira nti bajja kutuleka nga tuli balamu.</Luganda></row>
<row _id="164"><English>The thieves took all the computers from our office.</English><Luganda>Ababbi baatwala kompyuta zonna okuva mu woofiisi yaffe.</Luganda></row>
<row _id="165"><English>I had gone to the bar when the robbers broke into my house.</English><Luganda>Nnali enze mu bbaala ababbi we baamenyera ne bayingira mu nju yange.</Luganda></row>
<row _id="166"><English>His car was stolen from the supermarket parking lot.</English><Luganda>Emmotoka ye yabbibwa okuva mu kifo awasimba ebidduka ku ssemaduuka.</Luganda></row>
<row _id="167"><English>She was worried that she was being followed by thieves.</English><Luganda>Yali mweraliikirivu nti yali alondoolwa ababbi.</Luganda></row>
<row _id="168"><English>The deceased was very troubled before he passed on because of the bank loan.</English><Luganda>Omugenzi yali mweraliikirivu nnyo bwe yali tannafa olw'ebbanja lye yalina mu bbanka.</Luganda></row>
<row _id="169"><English>He suggested to his wife that they should adopt a baby.</English><Luganda>Yaleeta ekiteeso eri mukyala we nti beebonnanyeeyo omwana.</Luganda></row>
<row _id="170"><English>My father is an engineer by profession.</English><Luganda>Taata wange yakuguka mu bwa yinginiya.</Luganda></row>
<row _id="171"><English>My father has been promoted to a position of a regional manager in his company.</English><Luganda>Kitange alinnyisiddwa eddaala okutuuka ku maneja w'ekitundu mu kkampuni mw'akolera.</Luganda></row>
<row _id="172"><English>The manager ordered me to take two weeks off work.</English><Luganda>Maneja yandagira okuwummula ku mulimu okumala wiiki bbiri.</Luganda></row>
<row _id="173"><English>He is under a lot of pressure from the manager to submit his monthly report.</English><Luganda>Maneja amutaddeko akazito aweeyo alipoota ye ey'omwezi.</Luganda></row>
<row _id="174"><English>She said that her husband was murdered at his retirement party.</English><Luganda>Yagamba nti bba yatemulwa ku kabaga ke ak'okuwummula emirimu.</Luganda></row>
<row _id="175"><English>She wrote a letter to the manager expressing her dissatisfaction about her low salary.</English><Luganda>Yawandiikira maneja ebbaluwa eraga obutali bumativu bwe ku musaala omutono gw'afuna.</Luganda></row>
<row _id="176"><English>Her boss has been forcing her to steal money from the company on his behalf.</English><Luganda>Mukama we abaddenga amukaka okumubbira ssente okuva mu kkampuni.</Luganda></row>
<row _id="177"><English>She lied about her mother's sickness.</English><Luganda>Yalimba ku bikwatagana n'obulwadde bwa nnyina.</Luganda></row>
<row _id="178"><English>He was arrested from his office this afternoon.</English><Luganda>Akwatiddwa okuva mu woofiisi ye ettuntu lya leero.</Luganda></row>
<row _id="179"><English>His sister is being prosecuted for trespassing on private property.</English><Luganda>Mwannyina avunaanibwa gwa kusaalimbira ku bintu bitali bya lukale.</Luganda></row>
<row _id="180"><English>I was born in Eastern Uganda.</English><Luganda>Nnazaalibwa mu Buvanjuba bwa Uganda.</Luganda></row>
<row _id="181"><English>He pleaded guilty to the murder charges.</English><Luganda>Yakkiriza okuzza omusango gw'obutemu.</Luganda></row>
<row _id="182"><English>My sister deceived me that she had broken her arm.</English><Luganda>Muganda wange/mwannyinaze yannimba nti yali amenyese omukono.</Luganda></row>
<row _id="183"><English>I accepted his job offer because the salary is good.</English><Luganda>Nnakkiriza okukola omulimu gwe kubanga omusaala mulungi.</Luganda></row>
<row _id="184"><English>My cousin was charged with armed robbery.</English><Luganda>Kizibwe wange yavunaaniddwa gwa kubbisa mmundu.</Luganda></row>
<row _id="185"><English>He was arrested for trying to cash a forged cheque at the bank.</English><Luganda>Yakwatibwa ng'agezaako okufuna ssente ng'akozesa cceeke enjingirire mu bbanka.</Luganda></row>
<row _id="186"><English>He could not figure out where the bad smell in the house was coming from.</English><Luganda>Yali tasobola kukenga wa ekivundu ekyali mu nnyumba we kyali kiva.</Luganda></row>
<row _id="187"><English>My sister's murderers have never been arrested.</English><Luganda>Abaatemula muganda wange/mwannyinaze tebakwatibwanga.</Luganda></row>
<row _id="188"><English>He refused to reduce the price of his machines despite complaints from customers.</English><Luganda>Yagaana okukendeeza ku bbeeyi y'ebyuma bye newankubadde ng'abaguzi beemulugunya.</Luganda></row>
<row _id="189"><English>She was planning to kill her husband while he was asleep.</English><Luganda>Yali ateekateeka okutta bba nga yeebase.</Luganda></row>
<row _id="190"><English>He was transferred to another police station in the city.</English><Luganda>Yatwalibwa ku poliisi endala mu kibuga.</Luganda></row>
<row _id="191"><English>He spent a lot of money on hiring lawyers to defend his son in court.</English><Luganda>Yasaasaanya ssente nnyingi nnyo ku kupangisa bannamateeka ab'okuwolereza mutabani we kkooti.</Luganda></row>
<row _id="192"><English>My brother is suffering from malaria.</English><Luganda>Muganda wange/mwannyinaze omusujja gw'ensiri gumuluma.</Luganda></row>
<row _id="193"><English>Our father succumbed to tuberculosis this morning.</English><Luganda>Kitaffe afudde obulwadde bw'akafuba amakya ga leero.</Luganda></row>
<row _id="194"><English>She has been struggling to provide for her children since her husband died.</English><Luganda>Abaddenga alafuubana okulabirira abaana be okuva bba lwe yafa.</Luganda></row>
<row _id="195"><English>Her daughter wants to upgrade from a certificate to a diploma.</English><Luganda>Muwala we ayagala kweyongerako ddaala okuva ku satifikeeti okutuuka ku dipulooma.</Luganda></row>
<row _id="196"><English>She has saved eight hundred thousand Ugandan shillings for her son's tuition.</English><Luganda>Aterese siringi za Uganda emitwalo kinaana nga za bisale bya mutabani we eby'okusoma.</Luganda></row>
<row _id="197"><English>She appealed to her relatives to support her children.</English><Luganda>Yeegayirira ab'eanda ze okuyambira ku baana.</Luganda></row>
<row _id="198"><English>She lost her husband in a car accident two years ago.</English><Luganda>Yafiirwa bba mu kabenje k'emmotoka emyaka ebiri egiyise.</Luganda></row>
<row _id="199"><English>Our neighbour was murdered on his way home last night.</English><Luganda>Muliraanwa waffe yatemuddwa ekiro ekyayise bwe yabadde akomawo awaka.</Luganda></row>
<row _id="200"><English>My sister resigned from her job three weeks ago.</English><Luganda>Muganda wange/mwannyinaze yalekulira ku mulimu gwe wiiki ssatu eziyise.</Luganda></row>
<row _id="201"><English>He conducted a fingerprint examination at the crime scene.</English><Luganda>Yeekenneenya ebinkumu mu kifo omusango we gwazzibwa.</Luganda></row>
<row _id="202"><English>She wants her wedding reception to be in the restaurant gardens.</English><Luganda>Ayagala asembereze abagenyi b'embaga ye mu bimuli by'ekirabo ky'emmere.</Luganda></row>
<row _id="203"><English>The doctor has put my mother on oxygen to support her in breathing.</English><Luganda>Ddokita atadde maama ku byuma ebissirizibwamu okumuyambako okussa.</Luganda></row>
<row _id="204"><English>The waitress who served us lunch is very joyous.</English><Luganda>Omuweereza eyatugabudde ekyemisana musanyufu nnyo.</Luganda></row>
<row _id="205"><English>She communicates with her husband through social media.</English><Luganda>Awuliziganya ne bba okuyita ku mikutu emigattabantu.</Luganda></row>
<row _id="206"><English>I have never given my husband a reason not to trust me.</English><Luganda>Baze simuwanga nsonga emuleetera kumbuusabuusa.</Luganda></row>
<row _id="207"><English>She wants to be a successful business woman in the next five years.</English><Luganda>Ayagala kubeera mukazi munnabyabusuubuzi omututumufu mu myaka etaano egijja.</Luganda></row>
<row _id="208"><English>He reported about the recent floods in the district.</English><Luganda>Yayogedde ku mataba agaali mu diisitulikiti gye buvuddeko.</Luganda></row>
<row _id="209"><English>My sister was beaten by the policemen for not wearing a facemask.</English><Luganda>Abapoliisi baakuba muganda wange/mwannyinaze olw'obutayambala kakookolo.</Luganda></row>
<row _id="210"><English>He was arrested for carrying two passengers on his motorcycle.</English><Luganda>Yakwatibwa lwa kutikka basaabaze babiri ku ppikippiki ye.</Luganda></row>
<row _id="211"><English>He took pictures at my birthday party.</English><Luganda>Yakuba ebifaananyi ku kabaga kange ak'amazaalibwa.</Luganda></row>
<row _id="212"><English>My uncle had spent six years in prison.</English><Luganda>Kkojjange/kitange omuto yali amaze emyaka mukaaga mu kkomera.</Luganda></row>
<row _id="213"><English>She will rule the country for the remaining two years of the late president's term.</English><Luganda>Ajja kufuga eggwanga okumala emyaka ebiri egyasigala ku kisanja kya pulezidenti omugenzi.</Luganda></row>
<row _id="214"><English>She has been hired on a temporary basis.</English><Luganda>Aweereddwa omulimu ku nkola ey'ekiseera.</Luganda></row>
<row _id="215"><English>He spreads rumours to cause fights among his friends.</English><Luganda>Asaasaanya eambo okuleetera mikwano gye okulwanagana.</Luganda></row>
<row _id="216"><English>She is worried about the presentation tomorrow.</English><Luganda>Mweraliikirivu ku kwogera kw'enkya.</Luganda></row>
<row _id="217"><English>Everyone expects him to run for another term in the presidential race.</English><Luganda>Buli muntu amusuubira okwesimbawo okuvuganya ku kisanja kw'obwa pulezidenti ekirala.</Luganda></row>
<row _id="218"><English>She defends her country with so much passion.</English><Luganda>Awolereza eggwanga lye n'okwagala okuyitirivu.</Luganda></row>
<row _id="219"><English>He has been appointed as the company's new managing director.</English><Luganda>Ateereddwawo nga ssenkulu wa kkampuni omuggya.</Luganda></row>
<row _id="220"><English>He was accused of embezzling one hundred million Ugandan shillings from our company.</English><Luganda>Yavunaanibwa ogw'okukumpanya obukadde kikumi obwa siringi za Uganda okuva mu kkampuni yaffe.</Luganda></row>
<row _id="221"><English>My neighbour retired from the army last year.</English><Luganda>Muliranwa wange yawummula amagye omwaka oguwedde.</Luganda></row>
<row _id="222"><English>My son wants to be a doctor when he grows up.</English><Luganda>Mutabani wange ayagala kubeera ddokita ng'akuze.</Luganda></row>
<row _id="223"><English>Some of the employees are complaining about the manager's new rules.</English><Luganda>Abakozi abamu beemulugunya ku mateeka amaggya agaayisiddwa maneja.</Luganda></row>
<row _id="224"><English>The police wanted to know how his wife died.</English><Luganda>Poliisi yali eyagala kumanya engeri mukyala we gye yafaamu.</Luganda></row>
<row _id="225"><English>My grandfather's funeral will be held on Wednesday.</English><Luganda>Olumbe lwa jjajjange omusajja lujja kwabizibwa ku Lwokusatu.</Luganda></row>
<row _id="226"><English>He is complaining of pain in his chest.</English><Luganda>Yeemulugunya ku bulumi bw'awulira mu kifuba.</Luganda></row>
<row _id="227"><English>She contracted coronavirus from her husband.</English><Luganda>Akawuka ka corona yakaggya ku bba.</Luganda></row>
<row _id="228"><English>She was put on oxygen immediately after she reached the hospital.</English><Luganda>Yateekebwa ku kyuma ekiyambako okussa amangu ddala nga y'akatuusibwa mu ddwaliro.</Luganda></row>
<row _id="229"><English>He was struggling to breathe before his death.</English><Luganda>Yali alwanagana n'okussa nga tannaba kufa.</Luganda></row>
<row _id="230"><English>The doctor pronounced her dead on arrival at the hospital.</English><Luganda>Ddokita yamulangirira nti afudde nga yaakatuusibwa mu ddwaliro.</Luganda></row>
<row _id="231"><English>My neighbour succumbed to coronavirus yesterday.</English><Luganda>Muliraanwa wange yafudde akawuka ka kkolona eggulo.</Luganda></row>
<row _id="232"><English>I went to the market to buy tomatoes this morning.</English><Luganda>Nnagenze mu katale okugulayo ennyaanya amakya ga leero.</Luganda></row>
<row _id="233"><English>My mother sells fish at the village market.</English><Luganda>Maama atunda byennyanja mu katale k'oku kyalo.</Luganda></row>
<row _id="234"><English>That district chairperson advised the locals to sanitize all surfaces to kill the coronavirus.</English><Luganda>Oyo ssentebe wa disitulikiti yawa abatuuze amagezi okufuuyira buli wakwatibwa okusobola okutta akawuka ka kkolona.</Luganda></row>
<row _id="235"><English>My sister's school is closed for renovations.</English><Luganda>Essomero lya muganda wange/mwannyinaze lyaggaddwa okusobola okuliddaabiriza.</Luganda></row>
<row _id="236"><English>My wife has tested positive for coronavirus.</English><Luganda>Mukyala wange azuuliddwamu akawuka ka kkolona.</Luganda></row>
<row _id="237"><English>She has been admitted to the hospital for malaria.</English><Luganda>Aweereddwa ekitanda mu ddwaliro lwa musujja gwa nsiri.</Luganda></row>
<row _id="238"><English>She has vowed to work very hard on the new water project.</English><Luganda>Yeeyamye okukola ennyo ku puloojekiti y'amazzi empya.</Luganda></row>
<row _id="239"><English>She is a Japanese politician.</English><Luganda>Munnabyabufuzi Omujapaani.</Luganda></row>
<row _id="240"><English>Her introduction ceremony has been cancelled because of the pandemic.</English><Luganda>Omukolo gwe ogw'okwanjula gusaziddwamu olw'ekirwadde ky'ekikungo.</Luganda></row>
<row _id="241"><English>My boss asked some of us to work from home to avoid crowding at the office.</English><Luganda>Mukama wange yasaba abamu ku ffe okukolera awaka okuziyiza omujjuzo mu woofiisi.</Luganda></row>
<row _id="242"><English>She spent a lot of money on the tickets to the soccer game.</English><Luganda>Yasaasaanyiza ssente nnyingi ku ttikiti ez'okugenda okulaba omupiira.</Luganda></row>
<row _id="243"><English>Her husband condemned her for leaving the children to play near the road.</English><Luganda>Bba yamunenya olw'okuleka abaana okuzannyira okumpi n'oluguudo.</Luganda></row>
<row _id="244"><English>He works very hard because he doesn't want his family to lack.</English><Luganda>Akola nnyo kubanga tayagala famire ye kujula.</Luganda></row>
<row _id="245"><English>The doctor had to take a blood sample to test for malaria.</English><Luganda>Ddokita yalina okuggya omusaayi ku mulwadde okukeberamu omusujja gw'ensiri.</Luganda></row>
<row _id="246"><English>He is a very talented dancer.</English><Luganda>Alina ekitone mu kuzina amazina.</Luganda></row>
<row _id="247"><English>Our headteacher has organized a fundraiser for the new school swimming pool.</English><Luganda>Omukulu w'essomero lyaffe ategese okusonda ensimbi z'okuzimba ekidiba ky'essomero ekiwugirwamu ekiggya.</Luganda></row>
<row _id="248"><English>This is his second term in office.</English><Luganda>Kino kye kisanja kye ekyokubiri mu woofiisi.</Luganda></row>
<row _id="249"><English>She is a wise and capable leader for this country.</English><Luganda>Mukulembeze mugezi era nga alina obusobozi okufuga eggwanga lino.</Luganda></row>
<row _id="250"><English>For the past nine months, she has been doing research on the coronavirus.</English><Luganda>Mu myezi omwenda egiyise, abadde akola okunoonyereza ku kawuka ka kkolona.</Luganda></row>
<row _id="251"><English>He has retired from wrestling.</English><Luganda>Awummudde omuzannyo gw'ekigwo.</Luganda></row>
<row _id="252"><English>His opponents were happy when he withdrew from the presidential race.</English><Luganda>Abamuvuganya baali basanyufu bwe yawanduka mu lwokaano lw'okuvuganya ku bwa pulezidenti.</Luganda></row>
<row _id="253"><English>I took over the family poultry business from my father.</English><Luganda>Nnatandika okuddukanya bizinensi ya famire ey'okulunda enkoko okuva ku kitange.</Luganda></row>
<row _id="254"><English>The employees have requested the manager to increase their salaries.</English><Luganda>Abakozi basabye maneja okubongeza omusaala.</Luganda></row>
<row _id="255"><English>She considered people from different backgrounds.</English><Luganda>Yafumiitiriza ku bantu ab'ensibuko ez'enjawulo.</Luganda></row>
<row _id="256"><English>He has spoken out against the oppression of locals in his area.</English><Luganda>Avumiridde eky'okuyigganya abatuuze mu kitundu kye.</Luganda></row>
<row _id="257"><English>He left his political party over issues of favouritism.</English><Luganda>Yava mu kibiina kye eky'ebyobufuzi lwa nsonga za kyekubiira.</Luganda></row>
<row _id="258"><English>He won his opponent by over ten thousand votes in the elections.</English><Luganda>Yawangula amuvuganya n'obululu obusoba mu mutwalo omulamba mu kulonda.</Luganda></row>
<row _id="259"><English>My mother is one of the candidates in the race for district speaker.</English><Luganda>Mmange y'omu ku beesimbyewo okuvuganya ku kifo ky'omukubiriza w'olukiiko lwa diisitulikiti.</Luganda></row>
<row _id="260"><English>She spoke with one of our journalist about her new project.</English><Luganda>Yayogerako n'omu ku bannamawulire ku puloojekiti ye empya.</Luganda></row>
<row _id="261"><English>He has refused to defend himself against the fraud allegations.</English><Luganda>Agaanye okwewozaako ku bigambibwa nti yeenyigira mu bukumpanya.</Luganda></row>
<row _id="262"><English>She funded her campaigns during the national elections.</English><Luganda>Yavujjirira kkampeyini ze mu kulonda okwaliwo mu ggwanga.</Luganda></row>
<row _id="263"><English>She has been voted a woman Member of Parliament for her constituency.</English><Luganda>Alondeddwa ng'Omubaka wa Paalimenti omukazi ow'ekitundu kye.</Luganda></row>
<row _id="264"><English>He is assured of winning the mayoral elections because he has many supporters.</English><Luganda>Mukakafu nti agenda kuwangula okuvuganya ku kifo ky'obwa mmeeya kubanga alina abawagizi bangi.</Luganda></row>
<row _id="265"><English>She makes friends effortlessly everywhere she goes.</English><Luganda>Ayanguyirwa okukola emikwano buli gy'alaga.</Luganda></row>
<row _id="266"><English>She has been working for that organization for over ten years.</English><Luganda>Abadde akolera ekitongole ekyo okumala emyaka egisoba mu kkumi.</Luganda></row>
<row _id="267"><English>He was the former vice president of the country.</English><Luganda>Ye yali omumyuka wa pulezidenti w'eggwanga.</Luganda></row>
<row _id="268"><English>He called her name to get her attention during the meeting.</English><Luganda>Yayita erinnya lye okusobola asobole okumuwuliriza mu lukiiko.</Luganda></row>
<row _id="269"><English>He planted trees along the riverbanks to prevent flooding during the rainy season.</English><Luganda>Yasimba emiti ku mbalama z'emigga okuziyiza amataba mu biseera eby'enkuba.</Luganda></row>
<row _id="270"><English>The school allowed him to study for free because he is the best performing student.</English><Luganda>Essomero lyamukkiriza okusomera ku bwereere kubanga ye muyizi asinga banne okukola obulungi.</Luganda></row>
<row _id="271"><English>He attended the fundraising event.</English><Luganda>Yeetaba ku mukolo ogw'okusonda ssente.</Luganda></row>
<row _id="272"><English>He helps the needy people in that community.</English><Luganda>Ayamba abali mu bwetaavu mu kitundu ekyo.</Luganda></row>
<row _id="273"><English>He is very popular among the locals in this area.</English><Luganda>Amanyikiddwa nnyo mu batuuze b'omu kitundu kino.</Luganda></row>
<row _id="274"><English>He told us funny stories about his childhood.</English><Luganda>Yatunyumiza emboozi ezisesa ezikwata ku buto bwe.</Luganda></row>
<row _id="275"><English>They accused him of corruption.</English><Luganda>Baamuvunaana gwa bukenuzi.</Luganda></row>
<row _id="276"><English>He encouraged the youth to start small businesses to support themselves.</English><Luganda>Yakubiriza abavubuka okutandikawo obulimu obutono okusobola okweyimirizaawo.</Luganda></row>
<row _id="277"><English>I want to expand my poultry business so that I can get more profits.</English><Luganda>Njagala kugaziya bizinensi yange ey'okulunda enkoko okusobola okwongera ku magoba ge nfuna.</Luganda></row>
<row _id="278"><English>Everyone in this organization knows that the manager is a very hardworking man.</English><Luganda>Buli omu mu kitongole kino akimanyi nti maneja musajja mukozi nnyo.</Luganda></row>
<row _id="279"><English>He smokes at least five cigarettes everyday.</English><Luganda>Afuuweeta waakiri eminwe gya ssigala etaano buli lunaku.</Luganda></row>
<row _id="280"><English>He stayed with me for three months when he was evicted from his house.</English><Luganda>Yabeera nange okumala emyezi esatu ng'agobeddwa mu nju ye.</Luganda></row>
<row _id="281"><English>She spread a rumour that I have been stealing money from the company.</English><Luganda>Yasaasaanya olugambo nti mbadde nziba ssente okuva mu kkampuni.</Luganda></row>
<row _id="282"><English>He revealed the bakery's recipe to its biggest competitor.</English><Luganda>Yabikkulira abasinga okuvubavuganya endagiriro y'okufumba eya bbeekeeri yaabwe.</Luganda></row>
<row _id="283"><English>I supported him throughout his sickness last month.</English><Luganda>Nnamuwagira mu kiseera ky'obulwadde kyonna omwezi oguyise.</Luganda></row>
<row _id="284"><English>He was caught on camera stealing things from the supermarket.</English><Luganda>Yakwatibwa ku kkamera ng'abba ebintu okuva mu ssemaduuka.</Luganda></row>
<row _id="285"><English>She requested us to forget what we lost in the fire.</English><Luganda>Yatusaba okwerabira bye twafiirwa mu muliro.</Luganda></row>
<row _id="286"><English>He explained why he arrived at home late last night.</English><Luganda>Yannyonnyodde lwaki yatuuse kikeerezi eka ekiro ekyayise.</Luganda></row>
<row _id="287"><English>She denied eating my leftover food.</English><Luganda>Yeegaana eky'okulya amawolu gange.</Luganda></row>
<row _id="288"><English>You should stand six feet away from other people to protect yourself against coronavirus.</English><Luganda>Olina okuyimirira ffuuti mukaaga okuva awali abantu abalala okwetangira okufuna akawuka ka kkolona.</Luganda></row>
<row _id="289"><English>He held her in his arms the whole night.</English><Luganda>Yamuwambaatira mu mikono gye okumala ekiro kiramba.</Luganda></row>
<row _id="290"><English>She ran to hug her father when he came back home from work.</English><Luganda>Yadduka n'awambaatira kitaawe ng'akomyewo okuva ku mulimu.</Luganda></row>
<row _id="291"><English>The baby smiled when I carried her.</English><Luganda>Omwana yamwenya nga mmusitudde.</Luganda></row>
<row _id="292"><English>That child will continue crying until his mother holds him.</English><Luganda>Omwana oyo ajja kugenda mu maaso n'okukaaba okutuusa nga nnyina amusitudde.</Luganda></row>
<row _id="293"><English>I hug my son every morning before he goes to school.</English><Luganda>Mutabani wange mmuwambaatira buli ku makya nga tannagenda ku ssomero.</Luganda></row>
<row _id="294"><English>His daughter cries every time a stranger carries her.</English><Luganda>Muwala we akaaba buli lw'asitulwa omuntu gw'atamanyi.</Luganda></row>
<row _id="295"><English>Parents should hug their children to build a bond with them.</English><Luganda>Abazadde balina okuwambaatira abaana baabwe okusobola okuteekawo enkwatagana wakati waabwe.</Luganda></row>
<row _id="296"><English>I feel so happy when my husband hugs me.</English><Luganda>Mpulira essanyu nga baze ampambaatidde.</Luganda></row>
<row _id="297"><English>My mother loves hugging us every time she comes back from work.</English><Luganda>Maama ayagala okuwambaatira buli lw'akomawo okuva ku mulimu.</Luganda></row>
<row _id="298"><English>She smiled when he held her hand in the cinema.</English><Luganda>Yamwenya bwe yamukwata mu mukono nga bali mu kibanda kya ffirimu.</Luganda></row>
<row _id="299"><English>That disease has made him very sensitive to everything around him.</English><Luganda>Endwadde eyo emuleetedde okubeera nga akosebwa buli kimwetoolodde.</Luganda></row>
<row _id="300"><English>She jumped away when he tried to hug her.</English><Luganda>Yabuuka n'avaawo bwe yagezaako okumuwambaatira.</Luganda></row>
<row _id="301"><English>Her son is ten years but he still has trouble speaking.</English><Luganda>Mutabani we alina emyaka kkumi naye akyalina obuzibu mu kwogera.</Luganda></row>
<row _id="302"><English>At twelve months, your baby should be able to see pretty clearly.</English><Luganda>Ku myezi kkumi n'ebiri, omwana wo alina okuba ng'asobola okulaba obulungi ddala.</Luganda></row>
<row _id="303"><English>She had an abortion because she knew that she couldn't raise a baby on her own.</English><Luganda>Yaggyamu olubuto kubanga yakimanya nti tasobola kukuza mwana ku lulwe yekka.</Luganda></row>
<row _id="304"><English>Some youths are ignorant about the effects of having unprotected sex.</English><Luganda>Abavubuka abamu tebalina kye bamanyi ku bya kwegatta nga tebambadde bupiira.</Luganda></row>
<row _id="305"><English>I am four months pregnant.</English><Luganda>Nnina olubuto lwa myezi ena.</Luganda></row>
<row _id="306"><English>She went to the party with her friends.</English><Luganda>Yagenda ku kabaga ne mikwano gye.</Luganda></row>
<row _id="307"><English>Teenagers should be taught how to protect themselves from unwanted pregnancies.</English><Luganda>Abaana abaakavubuka balina okusomesebwa ku ngeri y'okwekuumamu okuva eri embuto ze bateeyagalidde.</Luganda></row>
<row _id="308"><English>Most parents are shy to talk to their children about sex.</English><Luganda>Abazadde abasinga batya okwogerako n'abaana baabwe ku bikwatagana n'okwegatta.</Luganda></row>
<row _id="309"><English>She is old enough to make her own decisions.</English><Luganda>Mukulu ekimala okukola okwesalirawo.</Luganda></row>
<row _id="310"><English>In the old days, aunties taught their young girls how to behave.</English><Luganda>Edda, ba ssenga baasomesa bawala baabwe engeri y'okweyisaamu.</Luganda></row>
<row _id="311"><English>It's a miracle that I am here.</English><Luganda>Kyamagero okuba nga ndi wano.</Luganda></row>
<row _id="312"><English>The organisation distributes free condoms to students' hostels in universities.</English><Luganda>Ekitongole kigaba obupiira obw'obwereere eri ebisulo by'abayizi mu zi yunivaasite.</Luganda></row>
<row _id="313"><English>Some women abort because they feel like they are not ready to have children.</English><Luganda>Abakazi abamu baggyamu embuto kubanga balowooza nti si beetegefu kuzaala baana.</Luganda></row>
<row _id="314"><English>In some cultures, women are expected to stay home and raise their children.</English><Luganda>Mu buwangwa obumu, abakazi baasuubirwa okusigala awaka bakuze abaana baabwe.</Luganda></row>
<row _id="315"><English>The science syllabus gets broader as one advances in education level.</English><Luganda>Ebisomesebwa mu ssaayansi bigenda bigaziwa buli omuntu lwe yeeyongerayo ku ddaala ly'ebyenjigiriza eddala.</Luganda></row>
<row _id="316"><English>In some countries, the number of children a couple has depends on their income.</English><Luganda>Mu mawanga agamu, omuwendo gw'abaana abafumbo be bazaala gusinziira ku nfuna yaabwe.</Luganda></row>
<row _id="317"><English>Having unprotected sex is one of the leading causes of unwanted pregnancies.</English><Luganda>Okwegatta awatali kwetangira kye kimu ku bisinga okuvaako embuto eziteetaagibwa.</Luganda></row>
<row _id="318"><English>I bought a packet of three condoms at just two thousand Ugandan shillings.</English><Luganda>Nnagula akapakiti k'obupiira busatu ku nkumi bbiri zokka eza siringi za Uganda.</Luganda></row>
<row _id="319"><English>She swallowed tablets to get rid of her pregnancy.</English><Luganda>Yamira amakerenda okuggyamu olubuto.</Luganda></row>
<row _id="320"><English>Some girls nowadays abort out of fear of being single mothers.</English><Luganda>Abawala abamu ensangi zino baggyamu embuto olw'okutya okukuza abaana bokka.</Luganda></row>
<row _id="321"><English>My friend passed away due to excessive bleeding after an unsafe abortion.</English><Luganda>Mukwano gwange yafa lwa kuvaamu musaayi mungi oluvannyuma lw'okuggyamu olubuto mu ngeri ey'obulabe.</Luganda></row>
<row _id="322"><English>I am attending a free business class for the next five days.</English><Luganda>enda kubeera mu musomo gw'ebyobusuubuzi ogw'obwereere ennaku ttaano ezijja.</Luganda></row>
<row _id="323"><English>She uses a fake name when talking to strangers.</English><Luganda>Akozesa erinnya ery'ekikwangala ng'ayogera n'abantu b'atamanyi.</Luganda></row>
<row _id="324"><English>I was in so much pain when I broke my arm.</English><Luganda>Nnali mu bulumi bungi bwe nnamenyeka omukono.</Luganda></row>
<row _id="325"><English>She was shy to wear her swimming costume at the pool.</English><Luganda>Yalina ensonyi okwambala akagoye ke akawugirwamu ng'ali ku kidiba ekiwugirwamu.</Luganda></row>
<row _id="326"><English>She gave birth to her firstborn when she was just eighteen years old.</English><Luganda>Yazaala omwana we omuggulanda ng'alina emyaka kkumi na munaana gyokka.</Luganda></row>
<row _id="327"><English>You can get that medicine at any pharmacy in the area.</English><Luganda>Osobola okufuna eddala eryo ku ttundiro ly'eddagala lyonna mu kitundu kyo.</Luganda></row>
<row _id="328"><English>She advised us to have protected sex to prevent contracting sexually transmitted diseases.</English><Luganda>Yatuwa amagezi okukozesa obupiira nga twegatta okwewala okukwatibwa endwadde ezitambuzibwa okuyita mu kwegatta.</Luganda></row>
<row _id="329"><English>Many couples nowadays have sex before they are married.</English><Luganda>Abaagalana bangi ensangi zino beegatta nga tebannafumbiriganwa.</Luganda></row>
<row _id="330"><English>She contracted gonorrhea from her ex-boyfriend last year.</English><Luganda>Yakwatibwa enziku okuva ku mulenzi gwe yayawukana naye omwaka oguwedde.</Luganda></row>
<row _id="331"><English>She hates talking about her divorce.</English><Luganda>Yakyawa okwogera ku kugattululwa kwe.</Luganda></row>
<row _id="332"><English>My mother taught me how to cook fish yesterday.</English><Luganda>Maama yanzigirizza okufumba ekyennyanja eggulo.</Luganda></row>
<row _id="333"><English>That organization awards scholarships to the best students.</English><Luganda>Ekitongole ekyo kiwa sikaala abaana abasinze bannaabwe.</Luganda></row>
<row _id="334"><English>He has donated sanitary towels to some of the girls in this village.</English><Luganda>Agabidde abamu ku bawala b'oku kyalo kino ppaadi.</Luganda></row>
<row _id="335"><English>Some teenagers do not know anything about reproductive health.</English><Luganda>Abaana abamu abaakavubuka tebalina kye bamanyi ku bikwatagana ku bya bulamu bya kuzaala.</Luganda></row>
<row _id="336"><English>Some children dropped out of school during the pandemic.</English><Luganda>Abaana bamu baawanduka mu ssomero mu biseera by'ekirwadde ky'ekikungo.</Luganda></row>
<row _id="337"><English>Some children are forced to work so as to raise money for school fees.</English><Luganda>Abaana abamu bakakibwa okukola okusobola okufuna ssente z'ebisale by'essomero.</Luganda></row>
<row _id="338"><English>She resorted to farming because she lost her job during the pandemic.</English><Luganda>Yadda mu bulimi kubanga yafiirwa omulimu gwe mu biseera by'ekirwadde ky'ekikungo.</Luganda></row>
<row _id="339"><English>He has no source of income because he lost his job during the pandemic.</English><Luganda>Talina mw'ajja nsimbi kubanga yafiirwa omulimu gwe mu biseera by'ekirwadde ky'ekikungo.</Luganda></row>
<row _id="340"><English>That child has been selling bananas along the roadside for six months.</English><Luganda>Omwana oyo abaddenga atunda amatooke ku luguudo okumala emyezi mukaaga.</Luganda></row>
<row _id="341"><English>You could be suspended if you miss work without a valid reason.</English><Luganda>Oyinza okuyimirizibwa ku mulimu singa tojja ku mulimu awatali nsonga etaliimu ggumba.</Luganda></row>
<row _id="342"><English>He takes care of his younger siblings because their parents died in a car accident.</English><Luganda>Alabirira bato be ababiri kubanga bazadde baabwe baafiira mu kabenje k'emmotoka.</Luganda></row>
<row _id="343"><English>Some young girls are being forced into early marriages.</English><Luganda>bawala abamu abato bakakibwa okugenda mu bufumbo nga bakyali bato.</Luganda></row>
<row _id="344"><English>He walks around the village every day selling the pancakes that his mother makes.</English><Luganda>Atambula okwetoloola ekyalo buli lunaku ng'agenda atunda kabalagala nnyina gw'akola.</Luganda></row>
<row _id="345"><English>I do not have enough money to pay for my children's school fees this term.</English><Luganda>Sirina ssente zimala kusasulira baana bange bisale bya ssomero olusoma luno.</Luganda></row>
<row _id="346"><English>Sending children to school improves their future.</English><Luganda>Okusindika abaana ku ssomero kibalongooseza ebiseera byabwe eby'omu maaso.</Luganda></row>
<row _id="347"><English>She has written a report on the monthly activities conducted at the office.</English><Luganda>Awandiise alipoota ku mirimu egyakolebwa ku woofiisi egy'omwezi.</Luganda></row>
<row _id="348"><English>The village chairperson said that he will not contest in the next term.</English><Luganda>Ssentebe w'ekyalo yagamba nti tajja kuvuganya ku kisanja ekijja.</Luganda></row>
<row _id="349"><English>He has been voted district chairperson for the last three terms.</English><Luganda>Abadde alondebwa okubeera ssentebe wa disitulikiti okumala ebisanja bisatu kati.</Luganda></row>
<row _id="350"><English>He is a member of the ruling political party.</English><Luganda>Mmemba wa kibiina ekiri mu buyinza.</Luganda></row>
<row _id="351"><English>He is a doctor at one of the biggest hospitals in this country.</English><Luganda>Ddokita mu limu ku malwaliro agasinga obunene mu ggwanga lino.</Luganda></row>
<row _id="352"><English>She is a sports news reporter.</English><Luganda>Asaka mawulire ga bya mizannyo.</Luganda></row>
<row _id="353"><English>He contested for guild president in last year's campus elections.</English><Luganda>Yavuganya ku kifo ky'okukulira abayizi ba yunivaasite mu kulonda kw'omwaka oguwedde.</Luganda></row>
<row _id="354"><English>I am not affiliated with any political party in this country.</English><Luganda>Sirina kibiina kya byabufuzi kye ndimu mu ggwanga lino.</Luganda></row>
<row _id="355"><English>She resigned from her job because they were paying her little money.</English><Luganda>Yalekulira ku mulimu kubanga baali bamuwa obusente butono.</Luganda></row>
<row _id="356"><English>She has several businesses which are hiring some of the locals in that area.</English><Luganda>Alina bizinensi nnyingi eziwa abatuuze abamu ab'ekiundu ekyo emirimu.</Luganda></row>
<row _id="357"><English>She is sure that she passed her examinations.</English><Luganda>Yeekakasa nti ebigezo bye yabiyita.</Luganda></row>
<row _id="358"><English>He donated five million Ugandan shillings to the orphanage yesterday.</English><Luganda>Yatonedde ekifo ekirabirira ba mulekwa obukadde bwa siringi za Uganda butaano eggulo.</Luganda></row>
<row _id="359"><English>Some youths fail to get jobs after graduation.</English><Luganda>Abavubuka abamu balemererwa okufuna emirimu oluvannyuma lw'okutikkirwa.</Luganda></row>
<row _id="360"><English>There will be peace in this country if all the tribes work together.</English><Luganda>Wajja kubaawo emirembe mu ggwanga lino singa amawanga gonna gakolaganira wamu.</Luganda></row>
<row _id="361"><English>Our opponents in the football match were disqualified for being indiscipline.</English><Luganda>Abatuvuganya mu muzannyo gw'okusamba omupiira baasalibwako olw'okusiiwuuka empisa.</Luganda></row>
<row _id="362"><English>His opponent was seen campaigning from house to house.</English><Luganda>Amuvuganya yalabiddwako ng'akuba kakuyege wa nju ku nju.</Luganda></row>
<row _id="363"><English>He lost the presidential flag bearer race for his political party.</English><Luganda>Yawangulwa mu kamyufu k'ekibiina kye ak'anaakwatira ekibiina kye bendera ku bwa pulezidenti.</Luganda></row>
<row _id="364"><English>He is planning to contest for village chairperson in the coming elections.</English><Luganda>  Ateekateeka okuvuganya ku bwa ssentebe bw'ekyalo mu kulonda okujja.</Luganda></row>
<row _id="365"><English>He won his opponent in the elections for village chairperson.</English><Luganda>Yawangula amuvuganya mu kulonda ssentebe w'ekyalo.</Luganda></row>
<row _id="366"><English>The current village chairperson had the highest number of votes in this election.</English><Luganda>Ssentebe w'ekyalo aliko kati ye yafuna omuwendo gw'obululu ogusinga obungi mu kulonda kuno.</Luganda></row>
<row _id="367"><English>He withdrew from the mayoral race because of finances.</English><Luganda>Yawanduka mu kuvuganya ku kifo ky'obwa mmeeya lwa nsonga za nsimbi.</Luganda></row>
<row _id="368"><English>He lost in the elections for district youth councillor.</English><Luganda>Yawangulwa mu kulonda kwa kkansala wa disitulikiti ow'abavubuka.</Luganda></row>
<row _id="369"><English>She does not have the money to buy a car.</English><Luganda>Talina ssente za kugula mmotoka.</Luganda></row>
<row _id="370"><English>He has been nominated for another presidential term.</English><Luganda>Asunsuddwa okuvuganya ku kisanja ky'obwa pulezidenti ekirala.</Luganda></row>
<row _id="371"><English>He pledged five million Ugandan shillings towards the District Widows Association.</English><Luganda>Yeeyama okuwa obukaddde bwa siringi za Uganda butaano eri Ekibiina kya Bannamwandu ekya Disitulikiti.</Luganda></row>
<row _id="372"><English>She has started her campaign for the position of district councillor.</English><Luganda>Atandise kakuyege w'okunoonya akalulu akanaamutuusa ku bwa kkansala bwa disitulikiti.</Luganda></row>
<row _id="373"><English>He has injected more money in his businesses in the area to help the women increase house hold income.</English><Luganda>Ayongedde okuteeka ssente mu bizinensi ze eziri mu kitundu okuyambako abakyala okwongera ku nnyingiza yaabwe mu maka.</Luganda></row>
<row _id="374"><English>The manager hired her out of pity that she is a single mother.</English><Luganda>Maneja yamuwa omulimu olw'okumusaasira okuba nga y'alabirira abaana be ku bwa nnamunigina.</Luganda></row>
<row _id="375"><English>His brother died in a car accident last month.</English><Luganda>Muganda we yafiira mu kabenje ka mmotoka omwezi oguwedde.</Luganda></row>
<row _id="376"><English>He is representing our school in the national interschool marathon.</English><Luganda>Akiikirira essomero lyaffe mu misinde gy'amasomero egy'eggwanga lyonna.</Luganda></row>
<row _id="377"><English>She came second in the swimming competition yesterday.</English><Luganda>Yabadde waakubiri mu mpaka z'okuwuga eggulo.</Luganda></row>
<row _id="378"><English>He donates money to the orphanage every year.</English><Luganda>Buli mwaka atonera ekifo ekirabirira ba mulekwa ssente.</Luganda></row>
<row _id="379"><English>She was conned ten million Ugandan shillings this morning.</English><Luganda>Afereddwa obukadde bwa siringi za Uganda kkumi amakya ga leero.</Luganda></row>
<row _id="380"><English>The employees of this organization are dedicated to serving the clients with integrity.</English><Luganda>Abakozi b'ekitongole kino beewaayo okuweereza ba kasitooma baabwe n'obwesimbu.</Luganda></row>
<row _id="381"><English>He is a member of the board of governors of that organization.</English><Luganda>Mmemba wa kakiiko akafuzi ak'ekitongole ekyo.</Luganda></row>
<row _id="382"><English>The leader encouraged the mourners to support the children of the deceased.</English><Luganda>Omukulembeze yakubiriza abakungubazi okuyamba abaana b'omugenzi.</Luganda></row>
<row _id="383"><English>My sister succumbed to cancer last year.</English><Luganda>Muganda wange/mwannyinaze yafa ekirwadde kya kookolo omwaka oguwedde.</Luganda></row>
<row _id="384"><English>He came to work just two days after his wifes funeral.</English><Luganda>Yajja okukola nga wayise ennaku bbiri zokka oluvannyuma lw'olumbe lwa mukyala we.</Luganda></row>
<row _id="385"><English>He died of malaria.</English><Luganda>Yafa musujja gwa nsiri.</Luganda></row>
<row _id="386"><English>My brother was among the soldiers who were deployed this morning.</English><Luganda>Muganda wange/mwannyinaze y'omu ku bajaasi abaayiriddwa mu kitundu enkya ya leero.</Luganda></row>
<row _id="387"><English>He hired a musician to sing at his wedding.</English><Luganda>Yapangisa omuyimbi okuyimba ku mbaga ye.</Luganda></row>
<row _id="388"><English>My partner and I won the national singing competitions.</English><Luganda>Nze ne munnange twawangudde empaga z'eggwanga ez'okuyimba.</Luganda></row>
<row _id="389"><English>He is suffering from whooping cough.</English><Luganda>Yalwala akalaakiiro.</Luganda></row>
<row _id="390"><English>The injured part of her arm was bandaged.</English><Luganda>Ekitundu ky'omukono gwe ekyafunye obuvune kyasibiddwako bbandegi.</Luganda></row>
<row _id="391"><English>He moved all his property into the new house.</English><Luganda>Ebintu bye byonna yabisengulira mu nnyumba empya.</Luganda></row>
<row _id="392"><English>The boys who were fighting in the school dormitory were suspended.</English><Luganda>Abalenzi abaali balwanira mu kisulo ky'essomero baagobeddwa.</Luganda></row>
<row _id="393"><English>She went to the hospital to test for breast cancer.</English><Luganda>Yagenda mu ddwaliro okwekebeza kookolo w'amabeere.</Luganda></row>
<row _id="394"><English>He works for an international company.</English><Luganda>Akolera kkampuni y'ensi yonna.</Luganda></row>
<row _id="395"><English>She insisted on carrying out an abortion.</English><Luganda>Yalemera ku ky'okuggyamu olubuto.</Luganda></row>
<row _id="396"><English>The children will depart for the school tour at ten o'clock in the morning.</English><Luganda>Abaana bajja kusimbula ssaawa nnya ez'oku makya okugenda mu kulambula kw'essomero.</Luganda></row>
<row _id="397"><English>She was able to join the school of her first choice.</English><Luganda>Yasobola okwegatta ku ssomero gye yateeka okusaba kwe okusooka.</Luganda></row>
<row _id="398"><English>He had a rough experience with a client today.</English><Luganda>Yayise mu kaseera akazibu ng'akola ku kasitooma olwaleero.</Luganda></row>
<row _id="399"><English>She became very depressed after testing positive for the Human Immunodeficiency Virus.</English><Luganda>Yajjula ennyiike nnyingi nnyo oluvannyuma lw'okuzuulibwamu akawuka akalwaza mukenenya.</Luganda></row>
<row _id="400"><English>He has some relatives living in Germany.</English><Luganda>Alina ab'eanda ababeera mu Bugirimaani.</Luganda></row>
<row _id="401"><English>His goods were cleared at the Kenyan border.</English><Luganda>Ebyamaguzi bye byayisibwa ku nsalo ya Kenya.</Luganda></row>
<row _id="402"><English>Despite his busy schedule, he spares time for his family.</English><Luganda>Newankubadde ng'abeera n'emirimu mingi, afissizaawo famire ye obudde.</Luganda></row>
<row _id="403"><English>Civil workers are paid their pension on retirement.</English><Luganda>Abakozi ba gavumenti basasulwa akasiimo kaabwe nga bawummudde emirimu.</Luganda></row>
<row _id="404"><English>He promised to pay his rent by Wednesday this week.</English><Luganda>Yasuubiza okusasula ebisale by'ennyumba ye ku Lwokusatu lwa wiiki eno.</Luganda></row>
<row _id="405"><English>She had a different opinion on that matter.</English><Luganda>Yalina endowooza ey'enjawulo ku nsonga eyo.</Luganda></row>
<row _id="406"><English>She revised the notes with her friend.</English><Luganda>Yejjukanya ebiwandiike ng'ali ne mukwano gwe.</Luganda></row>
<row _id="407"><English>The chairman of electoral commission organises, conducts and supervises elections.</English><Luganda>Ssentebe w'akakiiko k'ebyokulonda ateekateeka, addukanya wamu n'okulondoola okulonda.</Luganda></row>
<row _id="408"><English>She is not consistent at keeping time.</English><Luganda>Tamanyi bya kukwata budde.</Luganda></row>
<row _id="409"><English>The president had a meeting with his new cabinet.</English><Luganda>Pulezidenti yatuuza olukiiko n'olukiiko lwe olupya.</Luganda></row>
<row _id="410"><English>Most of the leaders get into power through elections.</English><Luganda>Abakulembeze abasinga bajja mu buyinza oluvannyuma lw'okulondebwa.</Luganda></row>
<row _id="411"><English>How did Uganda benefit from acquiring her independence?</English><Luganda>Uganda yaganyulwa ki mu kufuna obwetwaze?</Luganda></row>
<row _id="412"><English>Who was the first president of Uganda?</English><Luganda>Ani yali pulezidenti wa Uganda eyasooka?</Luganda></row>
<row _id="413"><English>He usually falls asleep in the classroom during the afternoon lessons.</English><Luganda>Atera nnyo okusumagirira mu kibiina mu kusoma okw'olweggulo.</Luganda></row>
<row _id="414"><English>She has been miserable since her husband's death.</English><Luganda>Abaddenga mu nnaku okuva bba lwe yafa.</Luganda></row>
<row _id="415"><English>Some old people are not on social media.</English><Luganda>Abakadde abamu tebali ku mikutu migattabantu.</Luganda></row>
<row _id="416"><English>His wife travelled to New York City.</English><Luganda>Mukyala we yagenda mu kibuga kye New York.</Luganda></row>
<row _id="417"><English>Sex education among children is a very sensitive issue.</English><Luganda>Okusomesa abaana ku byokwegatta nsonga ya kwegendereza nnyo.</Luganda></row>
<row _id="418"><English>The manager fired some employees due to indiscipline.</English><Luganda>Maneja yagoba abamu ku bakozi lwa kusiiwuuka mpisa.</Luganda></row>
<row _id="419"><English>He dreams of becoming a pilot someday.</English><Luganda>Aloota okubeera omuvuzi w'ennyonyi olunaku olumu.</Luganda></row>
<row _id="420"><English>One can quarantine oneself from home.</English><Luganda>Omuntu asobola okweyawulira mu maka ge.</Luganda></row>
<row _id="421"><English>His name was not found in the voter's register.</English><Luganda>Erinnya lye teryasangibwa mu nkalala z'abalonzi.</Luganda></row>
<row _id="422"><English>Some institutions provide skills to students.</English><Luganda>Amatendekero agamu gawa abayizi obukugu.</Luganda></row>
<row _id="423"><English>Her brother drove her to the airport.</English><Luganda>Mwannyina yamuvuga okumutwala ku kisaawe ky'ennyonyi.</Luganda></row>
<row _id="424"><English>He went to print some of the photographs on his phone.</English><Luganda>Yagenze kufulumya ebimu ku bifaananyi ebiri ku ssimu ye.</Luganda></row>
<row _id="425"><English>Most of her friends attended her wedding launch.</English><Luganda>Mikwano gye egisinga gyetaba ku kutongoza enteekateeka z'embaga ye.</Luganda></row>
<row _id="426"><English>You have a right to privacy.</English><Luganda>Olina eddembe ly'okwekisiza.</Luganda></row>
<row _id="427"><English>He found it hard to initiate a conversation with her.</English><Luganda>Kyamuzibuwalira okutandika okunyumya naye.</Luganda></row>
<row _id="428"><English>I do not have a credit card.</English><Luganda>Sirina kkaadi egulirwako ebintu ku bbanja.</Luganda></row>
<row _id="429"><English>She decided to wear two jackets since it was very cold.</English><Luganda>Yasalawo okwambala ebizibaawo bibiri kubanga obudde bwali bunnyogovu nnyo.</Luganda></row>
<row _id="430"><English>He went with his girlfriend to the beach.</English><Luganda>Yagenda ne muganzi we ku lubalama.</Luganda></row>
<row _id="431"><English>He killed the old woman with the motive of taking over her land.</English><Luganda>Yatta omukazi omukadde n'ekigendererwa ky'okweddiza ettaka lye.</Luganda></row>
<row _id="432"><English>Health experts warned people against violating the coronavirus Standard Operating Procedures.</English><Luganda>Ba kakensa mu byobulamu baalabula abantu ku ky'okumenya Enkola n'Emitendera Ebigobererwa mu kutangira okusaasaana kw'akawuka ka kkolona.</Luganda></row>
<row _id="433"><English>He is fond of making jokes.</English><Luganda>Ayagala nnyo okusaaga.</Luganda></row>
<row _id="434"><English>She thought of dropping out of school.</English><Luganda>Yalowooza ku ky'okuwanduka mu ssomero.</Luganda></row>
<row _id="435"><English>His company employees over fifty employees.</English><Luganda>Kkampuni ye ekozesa abakozi abasoba mu makumi ataano.</Luganda></row>
<row _id="436"><English>She was coming from the bank when the thief robbed her.</English><Luganda>Yali ava mu bbanka omubbi we yamunyagira.</Luganda></row>
<row _id="437"><English>Parents should keep their children safe.</English><Luganda>Abazadde balina okukuuma abaana baabwe nga tebafunye buzibu.</Luganda></row>
<row _id="438"><English>Her parents warned her against moving at night.</English><Luganda>Bazadde be baamulabula ku ky'okutambula ekiro.</Luganda></row>
<row _id="439"><English>She serves her husband food whenever he comes back home.</English><Luganda>Agabula bba emmere buli lw'akomawo eka.</Luganda></row>
<row _id="440"><English>Why do doctors wear gloves while giving treatment to patients?</English><Luganda>Lwaki abasawo bambala ggiraavu nga bawa abalwadde obujjanjabi?</Luganda></row>
<row _id="441"><English>Some medical personels are rude to patients.</English><Luganda>Abasawo abamu bakambuwalira abalwadde.</Luganda></row>
<row _id="442"><English>Some patients request for financial support from the public through the media.</English><Luganda>Abalwadde abamu basaba obuyambi bw'ensimbi okuva mu bantu nga bayita ku mikutu gy'ebyempuliziganya.</Luganda></row>
<row _id="443"><English>He was sued for pretending to be what he is not.</English><Luganda>Yawawaabirwa olw'okwefuula ky'atali.</Luganda></row>
<row _id="444"><English>He has been serving in government for thirty years.</English><Luganda>Abadde aweereza mu gavumenti okumala emyaka amakumi asatu.</Luganda></row>
<row _id="445"><English>He died from a heart attack.</English><Luganda>Yafa lwa mutima gwe kwesiba.</Luganda></row>
<row _id="446"><English>He was born on new year's day.</English><Luganda>Yazaalibwa ku lunaku olusooka ku mwaka.</Luganda></row>
<row _id="447"><English>His children fear him because he is very tough.</English><Luganda>Abaana be bamutya kubanga mukambwe nnyo.</Luganda></row>
<row _id="448"><English>She managed to adapt to the winter weather.</English><Luganda>Yasobola okumanyiira obudde bw'obutiti.</Luganda></row>
<row _id="449"><English>Is it true that some people are naturally born leaders?</English><Luganda>Kituufu nti abantu abamu bazaalibwa nga bakulembeze?</Luganda></row>
<row _id="450"><English>He stays at his brother's place.</English><Luganda>Abeera wa muganda we.</Luganda></row>
<row _id="451"><English>Everyone was impressed by his speech.</English><Luganda>Buli muntu yasiiimye okwogera kwe.</Luganda></row>
<row _id="452"><English>He learnt how to control his anger.</English><Luganda>Yayiga okufuga obusungu bwe.</Luganda></row>
<row _id="453"><English>The police requested her to describe the appearance of the man.</English><Luganda>Poliisi yamusaba okunnyonnyola enfaanana y'omusajja.</Luganda></row>
<row _id="454"><English>Her sister is a reserved person.</English><Luganda>Muganda we muntu yeezibira nnyo.</Luganda></row>
<row _id="455"><English>She seems to be very interested in music.</English><Luganda>Alabika okuba ng'ayagala nnyo eby'okuyimba.</Luganda></row>
<row _id="456"><English>In the past marrying many wives was prestigious in society.</English><Luganda>Edda ng'okuwasa abakyala abangi kya kitiibwa mu kitundu.</Luganda></row>
<row _id="457"><English>Her friend died in two thousand nineteen.</English><Luganda>Mukwano gwe yafa mu nkumi bbiri mu kkumi na mwenda.</Luganda></row>
<row _id="458"><English>She got married into the royal family.</English><Luganda>Yafumbirwa mu famire y'olulyo olulangira.</Luganda></row>
<row _id="459"><English>He is a very handsome young man.</English><Luganda>Muvubuka muto omulungi ennyo.</Luganda></row>
<row _id="460"><English>She is more comfortable living alone.</English><Luganda>Awulirira emirembe mu kubeera yekka.</Luganda></row>
<row _id="461"><English>During the fight, she bit her friend's ear.</English><Luganda>Yaluma okutu kwa mukwano gwe mu kulwanagana.</Luganda></row>
<row _id="462"><English>He first met his wife at a friend's party.</English><Luganda>Mukyala we yasooka kumusisinkana ku kabaga ka mukwano gwe.</Luganda></row>
<row _id="463"><English>Some leaders resisted the colonial rule.</English><Luganda>Abakulembeze abamu baawakanya obufuzi bw'amatwale.</Luganda></row>
<row _id="464"><English>Life became difficult for him when his mother died.</English><Luganda>Obulamu bwamukaluubirira nnyina bwe yafa.</Luganda></row>
<row _id="465"><English>He walked a two kilometre distance from home to school.</English><Luganda>Yatambula kiromita bbiri okuva eka okutuuka ku ssomero.</Luganda></row>
<row _id="466"><English>He fell in the trench and hurt his ankle.</English><Luganda>Yagwa mu mufulejje n'afuna obuvune mu kakongovule.</Luganda></row>
<row _id="467"><English>He had very many supporters although he did not win the elections.</English><Luganda>Yalina abawagizi bangi newankubadde nga teyawangula kulonda.</Luganda></row>
<row _id="468"><English>He was defeated in courts of law.</English><Luganda>Yawangulwa mu kkooti y'amateeka.</Luganda></row>
<row _id="469"><English>Her father owns the largest herd of cattle in the village.</English><Luganda>Kitaawe y'asinza eggana ly'ente eddene ku kyalo.</Luganda></row>
<row _id="470"><English>His immediate family was killed by rebels.</English><Luganda>Famire ye ey'okulusegere yattibwa abayeekera.</Luganda></row>
<row _id="471"><English>He is very determined to marry her.</English><Luganda>Mumalirivu nnyo okumuwasa.</Luganda></row>
<row _id="472"><English>He is also a citizen of Britain.</English><Luganda>Naye mutuuze wa Bungereza.</Luganda></row>
<row _id="473"><English>She wants to join the army.</English><Luganda>Ayagala kwegatta ku magye.</Luganda></row>
<row _id="474"><English>My sister's birthday is in the month of April.</English><Luganda>Amazaalibwa ga muganda wange ga mu mwezi Gwokuna.</Luganda></row>
<row _id="475"><English>He died of sickle cells while at the university.</English><Luganda>Yafa obulwadde bwa nnalubiri ng'ali ku yunivaasite.</Luganda></row>
<row _id="476"><English>He says he loves her with all his heart.</English><Luganda>Agamba nti amwagala n'omutima gwe gwonna.</Luganda></row>
<row _id="477"><English>He is willing to do anything for his country.</English><Luganda>Mwetegefu okukola kyonna ku lw'eggwanga lye.</Luganda></row>
<row _id="478"><English>Her mother is fifty years old.</English><Luganda>Nnyina wa myaka amakumi ataano.</Luganda></row>
<row _id="479"><English>His business failed because of the poor customer care.</English><Luganda>Bizinensi ye yagwa kubanga yali tamanyi nkwata ya ba kasitooma.</Luganda></row>
<row _id="480"><English>The twins' identity confuses him.</English><Luganda>Abuzaabuzibwa okwawula abalongo.</Luganda></row>
<row _id="481"><English>It is assumed that men are good decision makers.</English><Luganda>Kirowoozebwa nti abasajja balungi mu kukola okusalawo.</Luganda></row>
<row _id="482"><English>He is a president to one of the political parties.</English><Luganda>Pulezidenti w'ekimu ku bibiina by'ebyobufuzi.</Luganda></row>
<row _id="483"><English>She reacted in a very rude way.</English><Luganda>Yaddamu mu ngeri ey'ebboggo eriyitiridde.</Luganda></row>
<row _id="484"><English>He invested his money in buying assets like land.</English><Luganda>Yateeka ssente ze mu kugula ebyobugagga ng'ettaka.</Luganda></row>
<row _id="485"><English>He failed his national examinations.</English><Luganda>Yagwa ebigezo bye eby'eggwanga lyonna.</Luganda></row>
<row _id="486"><English>The court agreed to grant him bail.</English><Luganda>Kkooti yamukkiriza okweyimirirwa.</Luganda></row>
<row _id="487"><English>I think it was wise to postpone the elections.</English><Luganda>Ndowooza kyali kya magezi okwongezaayo okulonda.</Luganda></row>
<row _id="488"><English>He was detained at the police station for three hours.</English><Luganda>Yasibirwa ku kitebe kya poliisi okumala essaawa ssatu.</Luganda></row>
<row _id="489"><English>Her uncle paid for her tuition this semester.</English><Luganda>Kkojja we/kitaawe omuto yamusasulira ebisale by'ettendekero erya waggulu eby'olusoma luno.</Luganda></row>
<row _id="490"><English>In Nigeria, gunmen kidnapped students from school in order to get a ransom from government.</English><Luganda>Mu Nigeria, bamukwatammundu baawamba abayizi okuva ku ssomero basobole okufuna ssente z'ekyenunulo okuva mu gavumenti.</Luganda></row>
<row _id="491"><English>Food is a basic need for man.</English><Luganda>Emmere kyetaago kya bulamu obwa bulijjo eri omuntu.</Luganda></row>
<row _id="492"><English>The students' school fees is paid through the bank.</English><Luganda>Ebisale by'abayizi eby'essomero bisasulwa okuyita mu bbanka.</Luganda></row>
<row _id="493"><English>It is not so common to find women driving motorcycles in Uganda.</English><Luganda>Tekitera kulabikalabika abakazi okuvuga ppikippiki mu Uganda.</Luganda></row>
<row _id="494"><English>She had an argument with her mother.</English><Luganda>Yafunamu obutakkaanya ne nnyina.</Luganda></row>
<row _id="495"><English>The youth are encouraged to work hard while in their youthful age.</English><Luganda>Abavubuka bakubirizibwa okukola ennyo nga bakyali mu myaka gyabwe egy'ekivubuka.</Luganda></row>
<row _id="496"><English>He knows how to ride a speed boat.</English><Luganda>Amanyi okuvuga akaato akadduka embiro.</Luganda></row>
<row _id="497"><English>She boasts about her children's achievements.</English><Luganda>Yenyumiririza mu ebyo abaana be bye batuuseeko.</Luganda></row>
<row _id="498"><English>He left his family in the village and came to Kampala to make money.</English><Luganda>Yaleka famire ye mu kyalo n'ajja e Kampala okukola ssente.</Luganda></row>
<row _id="499"><English>He is a professional photographer.</English><Luganda>Mukubi wa bifaananyi omutendeke.</Luganda></row>
<row _id="500"><English>She is usually busy on Monday.</English><Luganda>Atera okubeera n'emirimu emingi ku Lwokusooka.</Luganda></row>
<row _id="501"><English>I doubt whether there is anyone that knows what happened five hundred years back.</English><Luganda>Mbuusabuusa nti waliwo omuntu yenna amanyi ebyatuukawo emyaka ebikumi bitaano emabega.</Luganda></row>
<row _id="502"><English>He missed his favourite television show.</English><Luganda>Yasubiddwa puloogulaamu ye esinga okumunyumira ku ttivvi.</Luganda></row>
<row _id="503"><English>He fuels his car every Monday.</English><Luganda>Ateeka amafuta mu mmotoka ye buli Lwakusooka.</Luganda></row>
<row _id="504"><English>She said that the children frustrate her.</English><Luganda>Yagamba nti abaana baamulemesa.</Luganda></row>
<row _id="505"><English>Lawyers act on behalf of the clients.</English><Luganda>Bannamateeka bakola ku lw'abo ababawadde emirimu.</Luganda></row>
<row _id="506"><English>He got a contract to supply materials to the company.</English><Luganda>Yafuna kontulakiti y'okuwa kkampuni ebikozesebwa.</Luganda></row>
<row _id="507"><English>Law firms have created jobs for lawyers in Uganda.</English><Luganda>Ebitongole by'amateeka bitonzeewo emirimu gya bannamateeka mu Uganda.</Luganda></row>
<row _id="508"><English>He hired a piece of land for farming.</English><Luganda>Yapangisa ettaka ery'okulimirako.</Luganda></row>
<row _id="509"><English>The doctors carried out a surgery to separate the twins who were joined in the chest.</English><Luganda>Abasawo baalongoosa abalongo bannabansansaana abaali beegattidde mu kifuba okusobola okubagattulula.</Luganda></row>
<row _id="510"><English>She was seeking for forgiveness from her parents.</English><Luganda>Yali anoonya kisonyiwo okuva eri bakadde be.</Luganda></row>
<row _id="511"><English>Is her driving permit still valid?</English><Luganda>Ebbaluwa emuwa olukusa okuvuga ebidduka ekyaliko?</Luganda></row>
<row _id="512"><English>Most male lawyers are always dressed in suits on official working days.</English><Luganda>Bannamateeka abasajja abasinga obungi babeera bambadde amasuuti ku nnaku ez'okukola entongole.</Luganda></row>
<row _id="513"><English>You should earn a doctorate in order to be given a title of a professor.</English><Luganda>Olina okutikkirwa ddiguli eyookusatu okusobola okuweebwa ekitiibwa ky'omukenkufu.</Luganda></row>
<row _id="514"><English>Women groups have skilled and motivated women to work.</English><Luganda>Ebibiina by'abakazi birina abakazi abalina obuguku era nga beewaayo okukola.</Luganda></row>
<row _id="515"><English>He has contributed generously towards the construction of the church.</English><Luganda>Awaddeyo obuteebalira ku lw'okuzimba ekkanisa.</Luganda></row>
<row _id="516"><English>She initiated the business idea that was funded under the Swedish government program.</English><Luganda>Yagunjaawo ekirowoozo kya bizinensi ekyavujjirirwa okuyita mu nteekateeka ya gavumenti y'e Sweden.</Luganda></row>
<row _id="517"><English>He took out the eggs one by one from the box.</English><Luganda>Yaggya amagi limu ku limu mu bbookisi.</Luganda></row>
<row _id="518"><English>My sister is two years older than me.</English><Luganda>Muganda wange/mwannyinaze ansingako emyaka ebiri.</Luganda></row>
<row _id="519"><English>She drank three bottles of beer.</English><Luganda>Yanywa eccupa za bbiya ssatu.</Luganda></row>
<row _id="520"><English>My son has been sick for four days.</English><Luganda>Mutabani wange abadde mulwadde okumala ennaku nnya.</Luganda></row>
<row _id="521"><English>My young sister is six years old.</English><Luganda>Muto wange omuwala alina emyaka mukaaga.</Luganda></row>
<row _id="522"><English>I work eight hours a day.</English><Luganda>Nkolera essaawa munaana olunaku.</Luganda></row>
<row _id="523"><English>My neighbour is nine months pregnant.</English><Luganda>Muliraanwa wange alina olubuto lwa myezi mwenda.</Luganda></row>
<row _id="524"><English>My uncle has lived in France for more than ten years.</English><Luganda>Kkojjange abadde mu Bufalansa okumala emyaka egisoba mu kkumi.</Luganda></row>
<row _id="525"><English>Our headteacher has two children, aged nine and eleven.</English><Luganda>Omukulu w'essomero lyaffe alina abaana babiri, ow'emyaka omwenda n'ekkumi n'ogumu.</Luganda></row>
<row _id="526"><English>That couple has been happily married for thirteen years.</English><Luganda>Abafumbo abo baakamala emyaka kkumi n'esatu mu bufumbo obw'essanyu.</Luganda></row>
<row _id="527"><English>Children under the age of fourteen should be accompanied by a parent.</English><Luganda>Abaana abali wansi w'emyaka ekkumi n'ena basaanye bawerekerweko omuzadde.</Luganda></row>
<row _id="528"><English>I was fifteen minutes late for the job interview.</English><Luganda>Nnakeerewa eddakiika kkumi na ttaano ku kubuuzibwa kw'okufuna omulimu.</Luganda></row>
<row _id="529"><English>He began living by himself at the age of sixteen.</English><Luganda>Yatandika okubeera yekka ng'alina emyaka kkumi na mukaaga.</Luganda></row>
<row _id="530"><English>I walk twenty miles a day.</English><Luganda>Ntambula mmayiro amakumi abiri olunaku.</Luganda></row>
<row _id="531"><English>At the age of twenty two, he lost his father.</English><Luganda>Yafiirwa kitaawe ng'alina emyaka amakumi abiri mu ebiri.</Luganda></row>
<row _id="532"><English>The pastor told us to fast for twenty four hours.</English><Luganda>Omusumba yatugamba okusiiba okumala essaawa amakumi abiri mu nnya.</Luganda></row>
<row _id="533"><English>My eldest daughter got married at thirty three years.</English><Luganda>Muwala wange omukulu yafumbirirwa ku myaka amakumi asatu mu esatu.</Luganda></row>
<row _id="534"><English>He drove at a speed of sixty miles per hour.</English><Luganda>Yavugira ku misinde gya mmayiro nkaaga buli ssaawa.</Luganda></row>
<row _id="535"><English>I bought those shoes at six thousand Ugandan shillings.</English><Luganda>Engatto ezo nnazigula siringi za Uganda kakaaga.</Luganda></row>
<row _id="536"><English>She earns a salary of eight hundred thousand Ugandan shillings</English><Luganda>Afuna omusaala gwa mitwalo gya siringi za Uganda kinaana.</Luganda></row>
<row _id="537"><English>My grandmother is seventy years old.</English><Luganda>Jjajjange alina emyaka nsanvu egy'obukulu.</Luganda></row>
<row _id="538"><English>I have saved one hundred United States dollars on my account.</English><Luganda>Nterese ddoola za Amerika kikumi ku akaawunti yange.</Luganda></row>
<row _id="539"><English>The musician has just released his first album.</English><Luganda>Omuyimbi yaakafulumya olutambi lwe olusooka.</Luganda></row>
<row _id="540"><English>My son was the second in the one hundred meter race.</English><Luganda>Mutabani wange ye yali owookubiri mu kudduka kwa mmita ekikumi.</Luganda></row>
<row _id="541"><English>My office is on the third floor of that building.</English><Luganda>Woofiisi yange eri ku mwaliiro ogwokusatu ogw'ekizimbe ekyo.</Luganda></row>
<row _id="542"><English>She held the fourth position in the singing competition.</English><Luganda>Yakwata ekifo kyakuna mu mpaka z'okuyimba.</Luganda></row>
<row _id="543"><English>My mother gave birth to her fifth child.</English><Luganda>Maama yazaala omwana we owookutaano.</Luganda></row>
<row _id="544"><English>I am the eighth child in a family of eleven.</English><Luganda>Nze mwana ow'omunaana mu famire ey'abaana ekkumi n'omu.</Luganda></row>
<row _id="545"><English>He postponed his trip at the eleventh hour.</English><Luganda>Yayongezaayo olugendo lwe ku ssaawa esembayo.</Luganda></row>
<row _id="546"><English>The leader bought a car as a present for her daughter's twelfth birthday.</English><Luganda>Omukulembeze yagula emmotoka ng'ekirabo ky'amazaalibwa ga muwala we ag'emyaka ekkumi n'ebiri.</Luganda></row>
<row _id="547"><English>I completed the race in the fourteenth position.</English><Luganda>Empaka nazimalidde mu kifo kya kkumi na bina.</Luganda></row>
<row _id="548"><English>I am planning to leave the country on the fifteenth of this month.</English><Luganda>Nteekateeka okuva mu ggwanga nga kkumi na ttaano omwezi guno.</Luganda></row>
<row _id="549"><English>I met my husband on my eighteenth birthday.</English><Luganda>Nnasisinkana omwami wange ku mazaalibwa gange ag'emyaka ekkumi n'omunaana.</Luganda></row>
<row _id="550"><English>He scored his nineteenth goal in the league.</English><Luganda>Yateeba ggoolo ye ey'ekkumi n'omwenda mu liigi.</Luganda></row>
<row _id="551"><English>She got married one month to her twentieth birthday.</English><Luganda>Yafumbirwa nga wabula omwezi gumu okutuuka ku mazaalibwa ge ag'emyaka amakumi abiri.</Luganda></row>
<row _id="552"><English>His father has planned to hand over the business to him on his twenty third birthday.</English><Luganda>Taata we ateeseteese okumukwasa bizinensi ku mazaalibwa ge eg'emyaka amakumi abiri mu esatu.</Luganda></row>
<row _id="553"><English>My contract will be renewed on the twenty fourth of June next year.</English><Luganda>Kontulakiti yange ejja kuzzibwa buggya nga abiri mu nnya Ogwomukaaga omwaka ogujja.</Luganda></row>
<row _id="554"><English>The football team will play it's thirty first game in the next match.</English><Luganda>Ttiimu y'omupiira gw'ebigere ejja kusamba omupiira gwayo ogw'amakumi asatu mu ogumu mu luzannya oluddako.</Luganda></row>
<row _id="555"><English>He was the thirty second king of our kingdom.</English><Luganda>Ye yali kabaka ow'amakumi asatu mu ababiri ow'obwakabaka bwaffe.</Luganda></row>
<row _id="556"><English>He was elected as the thirty fourth leader of the opposition political party.</English><Luganda>Yalondebwa ng'omukulembeze ow'amakumi asatu mu abasatu ow'ekibiina ky'ebyobufuzi eky'oludda oluvuganya.</Luganda></row>
<row _id="557"><English>She is in her fortieth year but she is still very strong.</English><Luganda>Ali mu mwaka gwe ogw'amakumi ana naye akyali mugumu nnyo.</Luganda></row>
<row _id="558"><English>He retired from the army on his fiftieth birthday.</English><Luganda>Yawummula okuva mu magye ku mazaalibwa ge ag'emyaka amakumi ataano.</Luganda></row>
<row _id="559"><English>My grandfather passed away on his eightieth birthday.</English><Luganda>Jjajjange yafa ku mazaalibwa ge ag'emyaka ekinaana.</Luganda></row>
<row _id="560"><English>My daughter weighs fifty kilograms now.</English><Luganda>Muwala wange kati azitowa kilo amakumi ataano.</Luganda></row>
<row _id="561"><English>I bought fifty kilograms of meat for the graduation party.</English><Luganda>Nnagula kilo z'ennyama amakumi ataano ku kabaga k'amatikkira.</Luganda></row>
<row _id="562"><English>The doctor advised me to take at least two litres of water every day.</English><Luganda>Omusawo yampa amagezi okunywa wakiri liita z'amazzi bbiri buli lunaku.</Luganda></row>
<row _id="563"><English>I won the sixty meter race.</English><Luganda>Nnawangula okutolontoka kwa mmita enkaaga.</Luganda></row>
<row _id="564"><English>The master left his money with a trustworthy servant.</English><Luganda>Omuweereza omwesigwa mukama we yamulekera ssente ze.</Luganda></row>
<row _id="565"><English>She got married last Saturday.</English><Luganda>Yafumbirwa ku Lwamukaaga oluwedde.</Luganda></row>
<row _id="566"><English>The doctor worked on many patients yesterday.</English><Luganda>Ddokita yakoze ku balwadde bangi eggulo.</Luganda></row>
<row _id="567"><English>He wrote a note to the professor explaining why he missed the exam.</English><Luganda>Yawandiikira omukenkufu ebbaluwa ng'amubuulira lwaki yasubwa ekigezo.</Luganda></row>
<row _id="568"><English>His feet are swollen because of a rare disease.</English><Luganda>Ebigere bye bizimbye olw'obulwadde obutali bwa bulijjo.</Luganda></row>
<row _id="569"><English>I gave my seat to an elderly lady.</English><Luganda>Ekifo kyange nnakiwa omukyala omukadde.</Luganda></row>
<row _id="570"><English>That gentleman is a doctor.</English><Luganda>Omwami oyo ddokita.</Luganda></row>
<row _id="571"><English>I work at the local radio station.</English><Luganda>Nkola ku mukutu gwa leediyo ogw'omu kitundu.</Luganda></row>
<row _id="572"><English>I open my retail shop at seven in the morning.</English><Luganda>Edduuka lyange erya ccakala ndiggula ku ssaawa emu ey'oku makya.</Luganda></row>
<row _id="573"><English>How do farmers prepare themselves for the planting season?</English><Luganda>Abalimi beetegekera batya ekiseera ky'okusiga?</Luganda></row>
<row _id="574"><English>The twins confuse me, I can hardly differentiate them.</English><Luganda>Abalongo bambuzaabuza era kinzibuwalira okubaawula.</Luganda></row>
<row _id="575"><English>Some children have to cross rivers in order to get to school.</English><Luganda>Abaana abamu basala emigga okusobola okugenda ku ssomero.</Luganda></row>
<row _id="576"><English>Father was disappointed by her academic performance.</English><Luganda>Taata yanakuwala ku lw'engeri gye yali asomyemu.</Luganda></row>
<row _id="577"><English>Christians believe in God's blessings.</English><Luganda>Abakiristo bakkiririza mu mikisa gya Katonda.</Luganda></row>
<row _id="578"><English>Her parents died when she was ten years old.</English><Luganda>Bazadde be baafa bwe ng'alina emyaka kkumi egy'obukulu.</Luganda></row>
<row _id="579"><English>I take long to here from most of my distant relatives.</English><Luganda>Ndwawo okuwuliza ab'eanda zange abatali ba kulusegere.</Luganda></row>
<row _id="580"><English>The old woman is very poor.</English><Luganda>Omukazi omukadde mwavu nnyo.</Luganda></row>
<row _id="581"><English>She visits her mother's grave every month.</English><Luganda>Akyalira amalaalo ga nnyina buli mwezi.</Luganda></row>
<row _id="582"><English>His wife bought him a watch as a gift.</English><Luganda>Mukyala we yamugulira essaawa ng'ekirabo.</Luganda></row>
<row _id="583"><English>I fear going to the graveyard.</English><Luganda>Ntya okugenda mu malaalo.</Luganda></row>
<row _id="584"><English>Her late mother was a very generous woman.</English><Luganda>Maama we omugenzi yali mukazi mugabi nnyo.</Luganda></row>
<row _id="585"><English>She tried to console him but he pushed her away.</English><Luganda>Yagezaako okumuddaabiriza nye n'amusindika eri.</Luganda></row>
<row _id="586"><English>Something bit her eye and it got swollen.</English><Luganda>Waliwo ekyaluma eriiso lye ne lizimba.</Luganda></row>
<row _id="587"><English>The pot accidentally fell out of her hands and it broke.</English><Luganda>Ensuwa mu butanwa yamuva mu ngalo n'egwa era n'eyatika.</Luganda></row>
<row _id="588"><English>She said that her first boyfriend broke her heart.</English><Luganda>Yagamba nti omulenzi gwe yasooka okuganza yamumenya omutima.</Luganda></row>
<row _id="589"><English>He picked up the pieces of the broken glass.</English><Luganda>Yalondawo obupapajjo bwa ggiraasi eyali eyatise.</Luganda></row>
<row _id="590"><English>I gave the visitor something to eat.</English><Luganda>Omugenyi nnamuwa eky'okulya.</Luganda></row>
<row _id="591"><English>She always consulted her mother and father before doing anything.</English><Luganda>Bulijjo yeebuuzanga ku nnyina ne kitaawe nga tannakola kintu kyonna.</Luganda></row>
<row _id="592"><English>He went with the neighbours to fetch water from the well.</English><Luganda>Yagenda ne baliraanwa okukima amazzi ku luzzi.</Luganda></row>
<row _id="593"><English>She is a very obedient wife to her husband.</English><Luganda>Mukyala muwulize nnyo eri bba.</Luganda></row>
<row _id="594"><English>He goes with his wallet everywhere.</English><Luganda>Agenda ne waleti ye buli w'adda.</Luganda></row>
<row _id="595"><English>I asked her to watch over my property while am away.</English><Luganda>Nnamusaba okulabirira ebintu byange nga siriiwo.</Luganda></row>
<row _id="596"><English>The three grand children help their grand mother with most of the work at home.</English><Luganda>Abazzukulu abasatu bayambako jjajjaabwe ku mirimu gy'awaka egisinga obungi.</Luganda></row>
<row _id="597"><English>She woke up with a strong headache.</English><Luganda>Yazuukuse ng'omutwe gumuluma nnyo.</Luganda></row>
<row _id="598"><English>The doctor sent the patient home.</English><Luganda>Ddokita yasindise omulwadde eka.</Luganda></row>
<row _id="599"><English>The old woman and the two children went to the garden together.</English><Luganda>Omukazi omukadde n'abaana ababiri baagenda mu nnimiro bonna.</Luganda></row>
<row _id="600"><English>She has ten grandchildren.</English><Luganda>Alina abazzukulu kkumi.</Luganda></row>
<row _id="601"><English>The thief denied all the accusations.</English><Luganda>Omubbi yeegaana emisango gyonna egyali gimuvunaanibwa.</Luganda></row>
<row _id="602"><English>He does not know how to knot a tie.</English><Luganda>Tamanyi kusiba ttaayi.</Luganda></row>
<row _id="603"><English>How did you know that she was telling the truth?</English><Luganda>Wamanya otya nti yali ayogera mazima?</Luganda></row>
<row _id="604"><English>My sister won the singing competitions.</English><Luganda>Muganda wange/mwannyinaze yawangula empaka z'okuyimba.</Luganda></row>
<row _id="605"><English>I felt so tired after climbing the hill.</English><Luganda>Nnawulira nga nkooye oluvannyuma lw'okulinnya akasozi.</Luganda></row>
<row _id="606"><English>He has never boarded an aeroplane.</English><Luganda>Talinnyanga ku nnyonyi.</Luganda></row>
<row _id="607"><English>The sisters are fond of arguing with each other.</English><Luganda>Abooluganda baagala nnyo okwekaayanya.</Luganda></row>
<row _id="608"><English>He died the next day after being admitted in the hospital.</English><Luganda>Yafa olunaku olwaddirira lwe yaweerwako ekitanda mu ddwaliro.</Luganda></row>
<row _id="609"><English>When it was her turn to go to the market she refused.</English><Luganda>Omulundi gwe ogw'okugenda mu katale bwe gwatuuka, yagaana okugenda.</Luganda></row>
<row _id="610"><English>The children are skipping the rope.</English><Luganda>Abaana babuuka mugwa.</Luganda></row>
<row _id="611"><English>She called out for help but nobody came for her rescue.</English><Luganda>Yakoowoola obuyambi naye tewali yavaayo kumutaasa.</Luganda></row>
<row _id="612"><English>He was found guilty of three crimes.</English><Luganda>Emisango esatu gyamukka mu vvi.</Luganda></row>
<row _id="613"><English>The girl drowned in the lake because she did not know how to swim.</English><Luganda>Omuwala yabbira mu nnyanja kubanga yali tamanyi kuwuga.</Luganda></row>
<row _id="614"><English>My father is a very truthful man.</English><Luganda>Kitange musajja wa mazima nnyo.</Luganda></row>
<row _id="615"><English>I do not go to school any more.</English><Luganda>Sikyagenda ku ssomero.</Luganda></row>
<row _id="616"><English>She watches television almost the whole day.</English><Luganda>Alaba ttivvi kumpi okumala olunaku lulamba.</Luganda></row>
<row _id="617"><English>He kept wondering what to do for his stubborn child.</English><Luganda>Yeewuunaganyanga eky'okukolera omwana we ow'emputtu.</Luganda></row>
<row _id="618"><English>He experienced difficulty in breathing because of asthma.</English><Luganda>Yafuna obuzibu mu kussa olw'okubeera n'obulwadde bw'okuziyira.</Luganda></row>
<row _id="619"><English>She has a softer voice compared to her sister's.</English><Luganda>Allina eddoboozi eggonvu bw'oligeraageranya n'erya muganda we.</Luganda></row>
<row _id="620"><English>He narrated to us his testimony.</English><Luganda>Yatunyumiza ku bujulizi bwe.</Luganda></row>
<row _id="621"><English>You need to do exercises in order to keep healthy and fit.</English><Luganda>Weetaaga okukola dduyiro okusobola okuwekuuma ng'oli mulamu era nga weesobola.</Luganda></row>
<row _id="622"><English>He fell down and injured his wrist.</English><Luganda>Yagwa era n'afuna obuvune mu kiseke kye.</Luganda></row>
<row _id="623"><English>She does not want other people to see her crying.</English><Luganda>Tayagala bantu balala kumulaba ng'akaaba.</Luganda></row>
<row _id="624"><English>He cannot clap because he does not have hands.</English><Luganda>Tasobola kukuba mu ngalo kubanga talina mikono.</Luganda></row>
<row _id="625"><English>She said that her stomach started growling after eating food.</English><Luganda>Yagamba nti olubuto lwe lwatandika okugulumba oluvannyuma lw'okulya emmere.</Luganda></row>
<row _id="626"><English>My mother knows how to bake cakes.</English><Luganda>Mmange amanyi okufumba kkeeki.</Luganda></row>
<row _id="627"><English>After school, she threw away all her old books.</English><Luganda>Oluvannyuma lw'okusoma yakasuka ebitabo bye byonna ebikadde.</Luganda></row>
<row _id="628"><English>I decided to eat fruits for super.</English><Luganda>Nasazeewo ku kyeggulo ndye bibala.</Luganda></row>
<row _id="629"><English>She carried the baby from her back.</English><Luganda>Omwana yamuweeka ku mugongo.</Luganda></row>
<row _id="630"><English>My sister does not eat pawpaws.</English><Luganda>Muganda wange/mwannyinaze talya mapaapaali.</Luganda></row>
<row _id="631"><English>She does not want to share her things with anyone.</English><Luganda>Tayagala kugabana bintu bye na muntu yenna.</Luganda></row>
<row _id="632"><English>She impatiently did not wait for the food to get ready.</English><Luganda>Teyagumiikiriza kulinda mmere kuggya.</Luganda></row>
<row _id="633"><English>Women give birth after a period of nine months.</English><Luganda>Abakazi bazaala oluvannyuma lw'emyezi omwenda.</Luganda></row>
<row _id="634"><English>She made sure that I grow up healthy and strong.</English><Luganda>Yakakasa nti nkula nga ndi mulamu era ow'amaanyi.</Luganda></row>
<row _id="635"><English>She bought new clothes for her husband.</English><Luganda>Yagulira bba engoye empya.</Luganda></row>
<row _id="636"><English>I prefer to put on my own shoes and clothes.</English><Luganda>Nsinga kwagala kwambala ngatto n'engoye ebyange ku bwange.</Luganda></row>
<row _id="637"><English>My mother always counselled me whenever I went wrong.</English><Luganda>Mmange yambuuliriranga buli lwe nnagwanga mu nsobi.</Luganda></row>
<row _id="638"><English>She said that he is the love of her life.</English><Luganda>Yagamba nti ye mwagalwa w'obulamu bwe.</Luganda></row>
<row _id="639"><English>Mothers play a very special role in the children's up bringing.</English><Luganda>Bamaama bakola omulimu ogw'enjawulo mu nkuza y'abaana.</Luganda></row>
<row _id="640"><English>He rescued the boy from drowning in the swimming pool.</English><Luganda>Yataasa omulenzi obutabbira mu kidiba kiwugirwamu.</Luganda></row>
<row _id="641"><English>By the time we rescued her from the water, she had died.</English><Luganda>We twamununulira okuva mu mazzi yali amaze okufa.</Luganda></row>
<row _id="642"><English>She decided to give away her old clothes.</English><Luganda>Yasalawo okugaba engoye ze enkadde.</Luganda></row>
<row _id="643"><English>He bought a new ball for the soccer team.</English><Luganda>Yagulira ttiimu y'omupiira omupiira omupya.</Luganda></row>
<row _id="644"><English>The police rescued him from the robbers.</English><Luganda>Poliisi yamutaasa ku babbi.</Luganda></row>
<row _id="645"><English>She enrolled into an institute for further studies.</English><Luganda>Yeegasse ku ttendekero okusobola okweyongerayo n'emisomo gye.</Luganda></row>
<row _id="646"><English>I saw a few trees in the school compound.</English><Luganda>Nnalaba emiti emitonotono mu luggya lw'essomero.</Luganda></row>
<row _id="647"><English>I saw chimpanzees, baboons, and monkeys in the zoo.</English><Luganda>Nnalaba enkobe, amazike n'enkima mu kkuumiro ly'ebisolo eby'omu nsiko.</Luganda></row>
<row _id="648"><English>I saw many different animals, birds and plants in the forest.</English><Luganda>Nnalaba ebisolo eby'enjawulo, ebinyonyi wamu n'ebimera mu kibira.</Luganda></row>
<row _id="649"><English>My friend and I love to explore new places.</English><Luganda>Mukwano gwange nange twagala nnyo okuvumbula ebifo ebiggya.</Luganda></row>
<row _id="650"><English>Her father told us to not visit their home again.</English><Luganda>Kitaawe yatugaana okuddamu okukyala mu maka gaabwe.</Luganda></row>
<row _id="651"><English>The man was wearing a black long coat.</English><Luganda>Omusajja yali ayambadde ekizibaawo ekiddugavu ekiwanvu.</Luganda></row>
<row _id="652"><English>He slowed down his car so that the children could cross the road.</English><Luganda>Yattamu ku misinde gy'emmotoka ye abaana basobole okusala ekkubo.</Luganda></row>
<row _id="653"><English>Her face was full of pimples.</English><Luganda>Ffeesi ye yali ejjudde embalabe.</Luganda></row>
<row _id="654"><English>My brother has a scar on his face.</English><Luganda>Muganda wange/mwannyinaze alina enkovu ku ffeesi ye.</Luganda></row>
<row _id="655"><English>The old man was wearing ragged clothes.</English><Luganda>Omusajja omukadde yali ayambadde engoye enziina.</Luganda></row>
<row _id="656"><English>I looked at him keenly.</English><Luganda>Nnamutunuulira nkaliriza.</Luganda></row>
<row _id="657"><English>He was not fast enough to win the race.</English><Luganda>Yali tayanguwa kimala kutuuka okuwangula empaka.</Luganda></row>
<row _id="658"><English>He grabbed the boy by the shirt and pulled him back roughly.</English><Luganda>Yakwata omulenzi essaati n'amusika ng'amuzza emabega mu bukambwe.</Luganda></row>
<row _id="659"><English>The man held me so tight that I thought my ribs would crack.</English><Luganda>Omusajja yankwata n'annyweza nnyo ne ntuuka n'okulowooza nti oboolyawo embiriizi zange zigenda kumenyeka.</Luganda></row>
<row _id="660"><English>I felt very sleepy at work today.</English><Luganda>Leero nnawulidde otulo tungi nnyo ku mulimu.</Luganda></row>
<row _id="661"><English>She could not see where she was going because she was blindfolded.</English><Luganda>Yali tasobola kulaba gy'agenda kubanga yali asibiddwa kantuntunu.</Luganda></row>
<row _id="662"><English>He untied his shoe laces and entered the house.</English><Luganda>Yasumulula obuguwa bw'engatto ze n'ayingira mu nju.</Luganda></row>
<row _id="663"><English>She rescued herself from the rapists.</English><Luganda>Yeetaasa ku balisaamaanyi.</Luganda></row>
<row _id="664"><English>The leader of the rebel group was arrested.</English><Luganda>Omukulembeze w'ekibinja ky'abayeekera yakwatibwa.</Luganda></row>
<row _id="665"><English>Mother ordered the children to stay inside the house until she comes back.</English><Luganda>Maama yalagira abaana okusigala mu nnyumba okutuusa ng'akomyewo.</Luganda></row>
<row _id="666"><English>He does not like it when his friends bully others.</English><Luganda>Takyagala nga mikwano gye gijooga abalala.</Luganda></row>
<row _id="667"><English>I do not know why mother and father were arguing.</English><Luganda>Simanyi lwaki maama ne taata baali bakaayana.</Luganda></row>
<row _id="668"><English>I know her parents.</English><Luganda>Mmanyi bazadde be.</Luganda></row>
<row _id="669"><English>I wonder how I lost my pen.</English><Luganda>Nneebuuza engeri gye nnabuzizzaamu ekkalaamu yange eya bwino.</Luganda></row>
<row _id="670"><English>The children who escaped from school were expelled.</English><Luganda>Abaana abaatoloka okuva ku ssomero baagobebwa.</Luganda></row>
<row _id="671"><English>She did not have money to pay for tuition.</English><Luganda>Yali talina ssente kusasula bisale bya ttendekero erya waggulu.</Luganda></row>
<row _id="672"><English>I do not know why he likes fighting.</English><Luganda>Simanyi lwaki ayagala okulwana.</Luganda></row>
<row _id="673"><English>The old timber was eaten by termites.</English><Luganda>Embaawo enkadde zaalibwa enkuyege.</Luganda></row>
<row _id="674"><English>I helped him with his work.</English><Luganda>Nnamuyambako n'emirimu gye.</Luganda></row>
<row _id="675"><English>The baby tried to stand up on its feet and fell.</English><Luganda>Omwana yagezaako okuyimirira n'agwa.</Luganda></row>
<row _id="676"><English>He has joined the same school where his sister is also studying from.</English><Luganda>Yeegasse ku ssomero lye limu ne muganda we ly'asomerako.</Luganda></row>
<row _id="677"><English>The men kicked the wooden door open.</English><Luganda>Abasajja baasamba oluggi lw'omuti ne lweggula.</Luganda></row>
<row _id="678"><English>He is a leader of integrity.</English><Luganda>Mukulembeze omwesimbu.</Luganda></row>
<row _id="679"><English>Her father paid for her school fees from nursery until university.</English><Luganda>Kitaawe yamusasulira ebisale by'essomero okuva mu nnassale okutuuka ku yunivaasite.</Luganda></row>
<row _id="680"><English>He got lung cancer as a result of over smoking.</English><Luganda>Yafuna kookolo w'amawuggwe oluvannyuma lw'okufuuweeta ennyo ssigala.</Luganda></row>
<row _id="681"><English>He is the newly appointed clan leader.</English><Luganda>Ye mukulembeze w'ekika omuggya eyaakalondebwa.</Luganda></row>
<row _id="682"><English>Her family was very scared when she suddenly fainted.</English><Luganda>Famire ye yatya nnyo bwe yazirika embagirawo.</Luganda></row>
<row _id="683"><English>While in bed he covers his head in the blanket.</English><Luganda>Bw'aba mu buliri abikka omutwe gwe munda mu bulangiti.</Luganda></row>
<row _id="684"><English>She could not move properly because her leg was paralysed.</English><Luganda>Yali tasobola kutambula bulungi kubanga okugulu kwe kwali kusannyaladde.</Luganda></row>
<row _id="685"><English>The policewomen look smart in their uniform.</English><Luganda>Abapoliisi abakazi banyumira mu yunifoomu yaabwe.</Luganda></row>
<row _id="686"><English>She picked me up off the floor.</English><Luganda>Yansitulawo wansi.</Luganda></row>
<row _id="687"><English>Out of the one hundred applicants, she was the one that was offered the job.</English><Luganda>Ku baasaba omulimu ekikumi ye yalondebwamu okuweebwa omulimu.</Luganda></row>
<row _id="688"><English>His sister was enrolled into the police.</English><Luganda>Mwannyina yayingizibwa mu poliisi.</Luganda></row>
<row _id="689"><English>My parents were very worried when I got back home late.</English><Luganda>Bazadde bange baali beeraliikirivu nnyo bwe nnakomawo eka ekikeerezi.</Luganda></row>
<row _id="690"><English>The school is preparing a tour for the children.</English><Luganda>Essomero liteekateeka okulambula kw'abaana.</Luganda></row>
<row _id="691"><English>He knows how to read English sentences.</English><Luganda>Amanyi okusoma sentensi ez'Olungereza.</Luganda></row>
<row _id="692"><English>I have never eaten mutton.</English><Luganda>Siryanga ku nnyama ya ndiga.</Luganda></row>
<row _id="693"><English>The couple went for their honey moon.</English><Luganda>Abagole baagenze mu luwummula lw'abakafumbiriganwa.</Luganda></row>
<row _id="694"><English>I was surprised that he could not speak.</English><Luganda>Nneewuunya okulaba nti tasobola kwogera.</Luganda></row>
<row _id="695"><English>Houseflies spread germs that cause diseases.</English><Luganda>Enswera zisaasaanya obuwuka obuleeta endwadde.</Luganda></row>
<row _id="696"><English>Her husband came back drunk yesterday and beat her.</English><Luganda>Bba yakomyewo eggulo ng'atamidde n'amukuba.</Luganda></row>
<row _id="697"><English>His wife has a big nose.</English><Luganda>Mukyala we alina ennyindo ennene.</Luganda></row>
<row _id="698"><English>My little brother is very lazy.</English><Luganda>Muto wange omulenzi munafu nnyo.</Luganda></row>
<row _id="699"><English>Most children from the city do not know how to chop firewood.</English><Luganda>Abaana abasinga obungi abava mu kibuga tebamanyi kwasa nku.</Luganda></row>
<row _id="700"><English>I find pot water very sweet.</English><Luganda>Amazzi g'ensuwa gampoomera nnyo.</Luganda></row>
<row _id="701"><English>She sweeps the floor every morning.</English><Luganda>Ayera wansi buli ku makya.</Luganda></row>
<row _id="702"><English>I work hard in order to have a good life.</English><Luganda>Nkola nnyo okubeera n'obulamu obulungi.</Luganda></row>
<row _id="703"><English>Her uncle died of corona virus.</English><Luganda>Kkojja we yafa kawuka ka kkolona.</Luganda></row>
<row _id="704"><English>After taking their vows, the priest announced them husband and wife.</English><Luganda>Oluvannyuma lw'okukuba ebirayiro byabwe, kabona yabalangirira ng'omwami n'omukyala.</Luganda></row>
<row _id="705"><English>He left home to go and find a job in the city.</English><Luganda>Yava ewaka agende anoonye omulimu mu kibuga.</Luganda></row>
<row _id="706"><English>My sister is three months pregnant.</English><Luganda>Muganda wange/mwannyinaze alina olubuto lwa myezi esatu.</Luganda></row>
<row _id="707"><English>He has been away from home for two weeks.</English><Luganda>Abadde tali waka okumala wiiki bbiri.</Luganda></row>
<row _id="708"><English>She consulted her parents before getting married.</English><Luganda>Yeebuuza ku bazadde be nga tannaba kufumbirwa.</Luganda></row>
<row _id="709"><English>I want to go back to school for further studies.</English><Luganda>Njagala kuddayo ku ssomero okweyongerayo n'emisomo gyange.</Luganda></row>
<row _id="710"><English>Parents should bless and not curse their children.</English><Luganda>Abazadde balina okuwa abaana baabwe emikisa mu kifo ky'okubakolimira.</Luganda></row>
<row _id="711"><English>He used a short cut to get there before others.</English><Luganda>Yakozesa ppanya okutuuka ng'abalala tebannaba kutuuka.</Luganda></row>
<row _id="712"><English>The old man advised him to not make decisions while he is angry.</English><Luganda>Omusajja omukadde yamuwa amagezi obutakola kusalawo nga munyiivu.</Luganda></row>
<row _id="713"><English>He is setting off to go to his village.</English><Luganda>Asimbula kugenda mu kyalo ky'ewaabwe.</Luganda></row>
<row _id="714"><English>She feared to cross the busy road.</English><Luganda>Yatya okusala oluguudo oluyisa ennyo ebidduka.</Luganda></row>
<row _id="715"><English>The old man's advice helped him a lot.</English><Luganda>Amagezi omusajja omukadde ge yamuwa gaamuyamba nnyo.</Luganda></row>
<row _id="716"><English>She has been moving up and down the whole day.</English><Luganda>Abadde atawuka olunaku lulamba.</Luganda></row>
<row _id="717"><English>He recently finds her characters very strange.</English><Luganda>Ennaku zino embeera ze tazitegeera n'akatono.</Luganda></row>
<row _id="718"><English>He slept outside on the verandah.</English><Luganda>Yeebaka wabweru ku lubalaza.</Luganda></row>
<row _id="719"><English>She pointed to the dress that she wanted to buy.</English><Luganda>Yasonga ku kiteeteeyi kye yali ayagala okugula.</Luganda></row>
<row _id="720"><English>His house is very organised and neat.</English><Luganda>Ennyumba ye nteeketeeke bulungi era nnyonjo.</Luganda></row>
<row _id="721"><English>He likes mountain climbing.</English><Luganda>Ayagala nnyo okuwalampa ensozi.</Luganda></row>
<row _id="722"><English>The king's wife is very elegant and descent.</English><Luganda>Nnabagereka mukyala muyonjo nnyo era eyeewa ekitiibwa.</Luganda></row>
<row _id="723"><English>I was inspired by his testimony.</English><Luganda>Obujulizi bwe bwanzizaamu amaanyi.</Luganda></row>
<row _id="724"><English>He is a member of the royal family.</English><Luganda>Wa famire ey'olulyo olulangira.</Luganda></row>
<row _id="725"><English>His wife is fat and light skinned.</English><Luganda>Mukyala we munene ate mweru.</Luganda></row>
<row _id="726"><English>He is going for a one week's trip.</English><Luganda>Agenda ku lugendo lwa wiiki emu.</Luganda></row>
<row _id="727"><English>He knocked on the door, but no one opened it.</English><Luganda>Yakonkona ku luggi naye tewali n'omu yaggulawo.</Luganda></row>
<row _id="728"><English>She placed the key into the lock in order to open the door.</English><Luganda>Yateeka ekisumuluzo mu kkufulu asobole okuggulawo oluggi.</Luganda></row>
<row _id="729"><English>He divorced his wife after finding her sleeping with another man.</English><Luganda>Yayawukana ne mukyala we oluvannyuma lw'okukizuuala nti yali yeebaka n'omusajja omulala.</Luganda></row>
<row _id="730"><English>Her two sons have never seen their father before.</English><Luganda>Batabani be ababiri tebalabanga ku kitaabwe.</Luganda></row>
<row _id="731"><English>Our family reunited on mother's birthday party this year.</English><Luganda>Famire yaffe yaddamu okusisinkana ku kabaga k'amazaalibwa ga maama omwaka guno.</Luganda></row>
<row _id="732"><English>My Muslim friend can read Arabic.</English><Luganda>Mukwano gwange omusiraamu asobola okusoma Oluwalabu.</Luganda></row>
<row _id="733"><English>I was born in Kampala city.</English><Luganda>Nnazaalibwa mu kibuga Kampala.</Luganda></row>
<row _id="734"><English>She cannot afford the pair of shoes she wants.</English><Luganda>Tasobola kwegulira mugogo gwa ngatto gw'ayagala.</Luganda></row>
<row _id="735"><English>He put his money on the shop counter.</English><Luganda>Yateeka ssente ze ku mmeeza y'edduuka.</Luganda></row>
<row _id="736"><English>Some children in the village do not wear shoes.</English><Luganda>Abaana abamu mu kyalo tebambala ngatto.</Luganda></row>
<row _id="737"><English>The thief grabbed her bag and ran away.</English><Luganda>Omubbi yakwakkula ensawo ye n'adduka.</Luganda></row>
<row _id="738"><English>I carried the baby and put her on my laps</English><Luganda>Nnasitula omwana ne mmutuuza ku mubiri gwange.</Luganda></row>
<row _id="739"><English>He keeps his utensils in the cupboard.</English><Luganda>Ebintu bye eby'omuffumbiro abitereka mu kkabada.</Luganda></row>
<row _id="740"><English>He wore a suit on his wedding day.</English><Luganda>Yayambala essuuti ku lunaku lwe olw'embaga.</Luganda></row>
<row _id="741"><English>She walks with confidence.</English><Luganda>Atambula n'okwekkiririzaamu.</Luganda></row>
<row _id="742"><English>She is very lazy when it comes to washing clothes.</English><Luganda>Mugayaavu nnyo bwe kituuka ku kwoza engoye.</Luganda></row>
<row _id="743"><English>He pinched my cheek and it turned red.</English><Luganda>Yansuna ku nsingo n'emyuka.</Luganda></row>
<row _id="744"><English>He keeps some of his money in the wallet.</English><Luganda>Ssente ze ezimu azikuumira mu waleti.</Luganda></row>
<row _id="745"><English>She has very many pairs of shoes.</English><Luganda>Alina emigogo gy'engatto mingi.</Luganda></row>
<row _id="746"><English>Babies need tender care.</English><Luganda>Abaana beetaaga okufiibwako n'obwegendereza.</Luganda></row>
<row _id="747"><English>My parents are very hardworking people.</English><Luganda>Bazadde bange bantu bakozi nnyo.</Luganda></row>
<row _id="748"><English>He takes care of his siblings.</English><Luganda>Alabirira baganda be.</Luganda></row>
<row _id="749"><English>The children forgot to do their household chores because they were playing.</English><Luganda>Abaana beerabira okukola emirimu gyabwe egy'awaka kubanga baali bazannya.</Luganda></row>
<row _id="750"><English>Children do not enjoy playing alone.</English><Luganda>Abaana tebanyumirwa kuzannya bokka.</Luganda></row>
<row _id="751"><English>Boys love playing and watching soccer.</English><Luganda>Abaana banyumirwa okuzannya n'okulaba omupiira.</Luganda></row>
<row _id="752"><English>The girls loved playing with dolls around the yard.</English><Luganda>Abawala baayagalanga okuzannya ne ddole mu luggya.</Luganda></row>
<row _id="753"><English>She hired a nanny to take care of the baby.</English><Luganda>Yapangisa omukozi ow'okulabirira omwana.</Luganda></row>
<row _id="754"><English>Children do not usually know a lot about taking care of babies.</English><Luganda>Abaana tebatera nnyo kumanya bikwata ku kulabirira baana bato.</Luganda></row>
<row _id="755"><English>She breast fed her child for a period of two years.</English><Luganda>Yayonsa omwana we okumala emyaka ebiri.</Luganda></row>
<row _id="756"><English>Mothers do not usually have time to play with their children.</English><Luganda>Ba maama tebatera kubeera nnyo na budde bwa kuzannya na baana baabwe.</Luganda></row>
<row _id="757"><English>Her baby is five months old now.</English><Luganda>Omwana we kati wa myezi etaano.</Luganda></row>
<row _id="758"><English>I do not think that birds can fly with a human baby.</English><Luganda>Sirowooza nti ebinyonyi bisobola okubuuka mu bbanga n'omwana w'omuntu.</Luganda></row>
<row _id="759"><English>She threw stones to the birds and they flew away.</English><Luganda>Yakasukira ebinyonyi amayinja ne bibuuka ne bigenda.</Luganda></row>
<row _id="760"><English>The children are learning how to play tennis.</English><Luganda>Abaana bali mu kuyiga kuzannya ttena.</Luganda></row>
<row _id="761"><English>After a long day of hard work, father decided to rest once he got home.</English><Luganda>Oluvannyuma lw'olunaku oluwanvu olw'okukola ennyo, taata yasalawo okuwummulamu bwe yatuuka ewaka.</Luganda></row>
<row _id="762"><English>I looked in the direction where the noise came from but there was nothing.</English><Luganda>Nnatunula ku ludda ewaali wava okuleekaana naye tewaaliyo kiriyo.</Luganda></row>
<row _id="763"><English>My blanket is so old, I need to buy a new one.</English><Luganda>Bulangiti yange nkadde nnyo nneetaaga okugulayo empya.</Luganda></row>
<row _id="764"><English>His wife does not keep any secrets from him.</English><Luganda>Mukyala we tamukweka kyama kyonna.</Luganda></row>
<row _id="765"><English>After breast feeding, the baby immediately fell asleep.</English><Luganda>Oluvannyuma lw'okuyonka, omwana amangu ago yeebakirawo.</Luganda></row>
<row _id="766"><English>The baby sleeps during the day.</English><Luganda>Omwana yeebaka emisana.</Luganda></row>
<row _id="767"><English>Babies usually cry when they are hungry.</English><Luganda>Abaana batera okukaaba bwe baba nga bayala.</Luganda></row>
<row _id="768"><English>The baby was wrapped in very many clothes to keep it warm.</English><Luganda>Omwana yabikkibwa mu ngoye nnyingi okumukuuma ng'abuguma.</Luganda></row>
<row _id="769"><English>Are frogs dangerous in any way?</English><Luganda>Ebikere birina engeri yonna gye bibeeramu eby'obulabe?</Luganda></row>
<row _id="770"><English>He is not sure whether he is the biological father of the baby.</English><Luganda>Teyeekakasa oba nga ye taata w'omwana owa ddala.</Luganda></row>
<row _id="771"><English>I swallowed my tablets with water.</English><Luganda>Amakerenda gange nnagamizisa mazzi.</Luganda></row>
<row _id="772"><English>He begged his wife not to leave him.</English><Luganda>Yasaba mukyala we obutamuleka.</Luganda></row>
<row _id="773"><English>She was mourning over the death of her newly born baby.</English><Luganda>Yali akungubaga olw'okufa kw'omwana we gwe yali yaakazaala.</Luganda></row>
<row _id="774"><English>He has a breathing problem.</English><Luganda>Alina ekizibu ky'okussa.</Luganda></row>
<row _id="775"><English>How did you tell that he was not breathing anymore?</English><Luganda>Wakitegeera otya nti yali takyassa?</Luganda></row>
<row _id="776"><English>He dialed on her cell phone but it was off.</English><Luganda>Yakuba ku ssimu ye naye nga teriiko.</Luganda></row>
<row _id="777"><English>My cousin sells phones.</English><Luganda>Kizibwe wange atunda masimu.</Luganda></row>
<row _id="778"><English>Every hospital should have an ambulance.</English><Luganda>Buli ddwaliro lirina okubeera n'emmotoka etambuza abayi.</Luganda></row>
<row _id="779"><English>I will send you the link to our online forum.</English><Luganda>Nja kukusindikira linki y'ekibanja kyaffe eky'oku mutimbagano.</Luganda></row>
<row _id="780"><English>My daughter participated in the dancing competition last week.</English><Luganda>Muwala wange yeetaba mu mpaka z'amazina wiiki ewedde.</Luganda></row>
<row _id="781"><English>He could barely hide the excitement when he got a new job.</English><Luganda>Yali tasobola kukweka ssanyu lye yalina olw'okufuna omulimu omuggya.</Luganda></row>
<row _id="782"><English>I am not afraid to take on challenges.</English><Luganda>Sitya kukola bisoomooza.</Luganda></row>
<row _id="783"><English>His song was a big hit the whole of last year.</English><Luganda>Oluyimba lwe lwacaaka nnyo omwaka oguwedde gwonna.</Luganda></row>
<row _id="784"><English>His fans welcomed him with a round of applause.</English><Luganda>Abawagizi be baamwaniriza wakati mu mizira.</Luganda></row>
<row _id="785"><English>He is on night duty at the police station.</English><Luganda>Akola luwalo lwa kiro ku kitebe kya poliisi.</Luganda></row>
<row _id="786"><English>My neighbour organised a surprise birthday party for his wife.</English><Luganda>Muliraanwa wange yateekerateekera mukyala we akabaga k'amazaalibwa.</Luganda></row>
<row _id="787"><English>He is a popular musician in Uganda.</English><Luganda>Muyimbi muganzi mu Uganda.</Luganda></row>
<row _id="788"><English>My internet connection was disrupted by the storm.</English><Luganda>Yintaneeti yange yacankalanyizibwa omuyaga.</Luganda></row>
<row _id="789"><English>The boy was angry because his mother did not give him an apple.</English><Luganda>Omulenzi yali munyiivu olw'okuba nnyina teyamuwa kibala kya apo.</Luganda></row>
<row _id="790"><English>He loves playing his guitar in the evening.</English><Luganda>Ayagala okusuna endongo ye akawungeezi.</Luganda></row>
<row _id="791"><English>His song is played on various radio stations in Uganda.</English><Luganda>Oluyimba lwe luzannyibwa ku mikutu gya leediyo egy'enjawulo mu Uganda.</Luganda></row>
<row _id="792"><English>His success as a politician is attributed to his character.</English><Luganda>Obuwanguzi bwe nga munnabyabufuzi buva ku nneeyisa ye.</Luganda></row>
<row _id="793"><English>All women love gifts.</English><Luganda>Abakazi bonna baagala ebirabo.</Luganda></row>
<row _id="794"><English>Some young couples use condoms to avoid unwanted pregnancies.</English><Luganda>Abaagalana abamu abakyali abato bakozesa obupiira okuziyiza okufuna embuto ze bateetegekedde.</Luganda></row>
<row _id="795"><English>My brother owns the biggest electronic shop in this town.</English><Luganda>Muganda wange/mwannyinaze y'alina edduuka ly'ebyamasannyalaze erisinga obunene mu kibuga kino.</Luganda></row>
<row _id="796"><English>Child marriage causes reproductive health problems like cervical cancer.</English><Luganda>Okufumbiza abaana abatanneetuuka kivaako obuzibu mu byobulamu by'okuzaala nga kookolo wa nnabaana.</Luganda></row>
<row _id="797"><English>Health workers distributed contraceptive pills to the women in our village.</English><Luganda>Abakozi mu byobulamu baagaba amakerenda agaziyiza okufuna olubuto eri abakyala b'oku kyalao kyaffe.</Luganda></row>
<row _id="798"><English>The truck driver delayed the delivery of the building materials.</English><Luganda>Omuvuzi w'ekimotoka ekinene yalwawo okutuusa ebyokuzimbisibwa.</Luganda></row>
<row _id="799"><English>His tests for Human Immunodeficiency Virus came out negative.</English><Luganda>Ebyava mu kukeberebwa kw'akawuka ka mukenenya byalaga nti takalina.</Luganda></row>
<row _id="800"><English>Parents can do anything to protect their children.</English><Luganda>Abazadde basobola okukola kyonna okukuuma abaana baabwe.</Luganda></row>
<row _id="801"><English>Gender based violence is common in marriages nowadays.</English><Luganda>Obutabanguko obwesigama ku kikula bucaase nnyo mu bafumbo ensangi zino.</Luganda></row>
<row _id="802"><English>He is a very creative artist.</English><Luganda>Mukubi wa bifaananyi omuyiiya ennyo.</Luganda></row>
<row _id="803"><English>Child labour is still popular in Uganda.</English><Luganda>Okubigika abaana emirimu kukyali kungi mu Uganda.</Luganda></row>
<row _id="804"><English>I wish my father was a minister.</English><Luganda>Singa kale kitange yali minisita.</Luganda></row>
<row _id="805"><English>Her mother wanted her to go for further education.</English><Luganda>Nnyina yali ayagala yeeyongere n'emisomo.</Luganda></row>
<row _id="806"><English>Labour officers are committed to their job.</English><Luganda>Abakungu b'ekitongole ky'abakozi beewaayo eri omulimu gwabwe.</Luganda></row>
<row _id="807"><English>The children love when we pray together as a family.</English><Luganda>Abaana bakyagala bwe tusabira awamu nga famire.</Luganda></row>
<row _id="808"><English>Women do not like being asked to reveal their age.</English><Luganda>Abakazi tebaagala kubagamba kwogera myaka gyabwe.</Luganda></row>
<row _id="809"><English>Her book attracted a global audience.</English><Luganda>Ekitabo kye kyasikiriza abasomi okwetoloola ensi yonna.</Luganda></row>
<row _id="810"><English>He requested them to raise the perimeter wall for security reasons.</English><Luganda>Yabasaba bawanvuye ku kikomera olw'ensonga z'ebyokwerinda.</Luganda></row>
<row _id="811"><English>All we could think about was the well being of our son.</English><Luganda>Kye twali tusobola okulowooza kyokka ye mutabani waffe okubeera obulungi.</Luganda></row>
<row _id="812"><English>The main theme in her novel is love.</English><Luganda>Omulamwa omukulu mu lugero lwe kwe kwagala.</Luganda></row>
<row _id="813"><English>The law in Uganda prohibits the employment of children under the age of twelve.</English><Luganda>Etteeka mu Uganda likugira okukozesa abaana abali wansi w'emyaka ekkumi n'ebiri ng'abakozi.</Luganda></row>
<row _id="814"><English>Education is one of the tools that can be used in preventing child labour.</English><Luganda>Okusoma y'emu ku nkola esobola okukozesebwa mu kutangira okubigika abaana emirimu.</Luganda></row>
<row _id="815"><English>They had a lot of freedom under his leadership.</English><Luganda>Baalina emirembe mingi nnyo wansi w'obukulembeze bwe.</Luganda></row>
<row _id="816"><English>My son loves waiting for the school bus in the morning.</English><Luganda>Mutabani wange ayagala okulinda bbaasi y'essomero ku makya.</Luganda></row>
<row _id="817"><English>Their grandmother is their legal guardian.</English><Luganda>Jjajjaabwe omukazi ye mukuza waabwe mu mateeka.</Luganda></row>
<row _id="818"><English>Some male employers ask for sex from women in exchange for jobs.</English><Luganda>Abakozesa abasajja abamu basaba okwegatta n'abakazi balyoke babawe emirimu.</Luganda></row>
<row _id="819"><English>His suspension from the game led to victory</English><Luganda>Okumuyimiriza mu muzannyo kwaleeta obuwanguzi.</Luganda></row>
<row _id="820"><English>Some children love doing house work.</English><Luganda>Abaana abamu baagala okukola emirimu gy'awaka.</Luganda></row>
<row _id="821"><English>Employers like employees who report early to work.</English><Luganda>Abakozesa baagala abakozi abakeera okujja ku mirimu.</Luganda></row>
<row _id="822"><English>I saw his photo in the newspapers.</English><Luganda>Nnalaba ekifaananyi kye mu mpapula z'amawulire.</Luganda></row>
<row _id="823"><English>The police arrested the students who led the protests at that university.</English><Luganda>Poliisi yakwata abayizi abaakulemberamu okwekalakaasa ku yunivaasite eyo.</Luganda></row>
<row _id="824"><English>He travels by train to work.</English><Luganda>Agendera mu ggaali ya mukka ku mulimu.</Luganda></row>
<row _id="825"><English>He is the best photographer in our town.</English><Luganda>Ye mukubi w'ebifaananyi asinga mu kibuga.</Luganda></row>
<row _id="826"><English>The operation was done to save her life.</English><Luganda>Yalongoosebwa okusobola okutaasa obulamu bwe.</Luganda></row>
<row _id="827"><English>He walks bare footed in the grass every morning.</English><Luganda>Atambulira mu muddo nga tali mu ngatto buli ku makya.</Luganda></row>
<row _id="828"><English>Here is a photo of my family.</English><Luganda>Kino kye kifaananyi kya famire yange.</Luganda></row>
<row _id="829"><English>Young men do not cut off their hair these days.</English><Luganda>Abavubuka tebakyasalako nviiri ennaku zino.</Luganda></row>
<row _id="830"><English>He had to go to the saloon to cut off his hair.</English><Luganda>Yalina okugenda mu ssaluuni okusalako enviiri ze.</Luganda></row>
<row _id="831"><English>He loves taking photos.</English><Luganda>Ayagala okwekubisa ebifaananyi.</Luganda></row>
<row _id="832"><English>He has fifteen years' experience in marketing.</English><Luganda>Alina obumanyirivu bwa myaka kkumi n'etaano mu bwa kitunzi.</Luganda></row>
<row _id="833"><English>She is facing charges of theft.</English><Luganda>Awerennemba na misango gya bubbi.</Luganda></row>
<row _id="834"><English>The headteacher issued a warning letter to the boy who was bullying girls.</English><Luganda>Omukulu w'essomero yayisa ebbaluwa erabula omulenzi eyali ajooga abawala.</Luganda></row>
<row _id="835"><English>He continued with the journey despite the pain in his legs.</English><Luganda>Yeeyongerayo n'olugendo newankubadde nga yalina obulumi mu magulu.</Luganda></row>
<row _id="836"><English>He witnessed a murder but did not report it to the police.</English><Luganda>Yalaba obutemu nga bugenda mu maaso naye teyagamba ku poliisi.</Luganda></row>
<row _id="837"><English>She went to the nearby shop to buy cooking oil.</English><Luganda>Yagenda ku dduuka eririraanyeewo okugula butto.</Luganda></row>
<row _id="838"><English>We toured with him around town.</English><Luganda>Twalambula naye okwetoloola ekibuga.</Luganda></row>
<row _id="839"><English>When mother grew older, her back bent.</English><Luganda>Maama bwe yeeyongera okukaddiwa, yakootakoota.</Luganda></row>
<row _id="840"><English>Our neighbour's children had lunch from our home today.</English><Luganda>Abaana ba muliraanwa waffe ekyemisana leero baakiridde waffe.</Luganda></row>
<row _id="841"><English>My sister used to oftenly fall sick during her pregnancy.</English><Luganda>Muganda wange/mwannyinaze yateranga okulwala ng'ali lubuto.</Luganda></row>
<row _id="842"><English>She walked with difficulty because her knee was hurting.</English><Luganda>Yali awulira obuzibu ng'atambula kubanga evviivi lyali limuluma.</Luganda></row>
<row _id="843"><English>Every December holiday she takes the children to visit their grandparents.</English><Luganda>Abaana abatwala okukyalira bajjajjaabwe buli luwummula lwa Desemba.</Luganda></row>
<row _id="844"><English>Youths are strong and energetic.</English><Luganda>Abavubuka bagumu era ba maanyi.</Luganda></row>
<row _id="845"><English>Women usually change when they become mothers.</English><Luganda>Abakazi ebiseera ebisinga bakyuka bwe bafuuka ba maama.</Luganda></row>
<row _id="846"><English>He has one of the biggest shops in the village.</English><Luganda>Alina erimu ku maduuka agasinga obunene ku kyalo.</Luganda></row>
<row _id="847"><English>God has blessed the couple with three children.</English><Luganda>Katonda abafumbo abawadde omukisa gwa zzadde lya baana basatu.</Luganda></row>
<row _id="848"><English>She helps her mother in the shop during the school holidays.</English><Luganda>Ayambako nnyina mu dduuka mu biseera by'empummula z'okusoma.</Luganda></row>
<row _id="849"><English>She has a book where she keeps her business records.</English><Luganda>Alina ekitabo mw'atereka ebikwata ku bizinensi ye.</Luganda></row>
<row _id="850"><English>He plans for his daily expenditures.</English><Luganda>Ateekerateekera ensaasaanya ye eya buli lunaku.</Luganda></row>
<row _id="851"><English>Him and his wife can afford to buy a car.</English><Luganda>Ye ne mukyala we balina obusobozi obugula emmotoka.</Luganda></row>
<row _id="852"><English>The children took over their parents' property.</English><Luganda>Abaana beddiza ebintu bya bazadde baabwe.</Luganda></row>
<row _id="853"><English>His uncle is a shopkeeper.</English><Luganda>Kkojja we/kitaawe omuto mutunzi wa dduuka.</Luganda></row>
<row _id="854"><English>I tickled her in the ribs and she laughed.</English><Luganda>Nnamunyonyoogera mu mbiriizi n'aseka.</Luganda></row>
<row _id="855"><English>The babies hands are so soft and smooth.</English><Luganda>Engalo z'omwana zigonda nnyo era nga ziweweera.</Luganda></row>
<row _id="856"><English>She is narrating an interesting story to the children.</English><Luganda>Ali mu kunyumiza abaana akagero akanyuma ennyo.</Luganda></row>
<row _id="857"><English>He likes playing in the rain.</English><Luganda>Ayagala okuzannyira mu nkuba.</Luganda></row>
<row _id="858"><English>She has curly hair.</English><Luganda>Alina enviiri ez'amayengo.</Luganda></row>
<row _id="859"><English>She used to tease other children at school.</English><Luganda>Yasojjanga abaana abalala ku ssomero.</Luganda></row>
<row _id="860"><English>Look, the dog is chasing him.</English><Luganda>Laba, embwa eri mu kumugoba.</Luganda></row>
<row _id="861"><English>Look at yourself in the mirror and see how you look.</English><Luganda>Weetunuulire mu ndabirwamu olabe bw'ofaanana.</Luganda></row>
<row _id="862"><English>When she was sick, she could not do most things by herself.</English><Luganda>Bwe yali omulwadde, yali tasobola kwekolera bintu ebisinga.</Luganda></row>
<row _id="863"><English>She got over the thoughts of killing herself.</English><Luganda>Ebirowoozo by'okwagala okwetta yabivaako.</Luganda></row>
<row _id="864"><English>What does she use to paint pictures?</English><Luganda>Asiigisaaki ebifaananyi?</Luganda></row>
<row _id="865"><English>She got so scared when someone knocked at her door at night.</English><Luganda>Yatya omuntu bwe yakonkona ku luggi lwe ekiro.</Luganda></row>
<row _id="866"><English>You are free to believe in whatever you want.</English><Luganda>Oli wa ddembe okukkiririza mu kyonna ky'oyagala.</Luganda></row>
<row _id="867"><English>Children would like to grow in an environment in which they can express themselves.</English><Luganda>Abaana bandyetaaze okukulira mu mbeera nga basobola okweyabiza be balimu.</Luganda></row>
<row _id="868"><English>The children find grandmother's stories very interesting.</English><Luganda>Abaana banyumirwa nnyo obugero bwa jjajja omukazi.</Luganda></row>
<row _id="869"><English>He began his business with capital of two hundred Uganda shillings.</English><Luganda>Yatandika bizinensi ye n'entandikwa ya siringi za Uganda ebikumi bibiri.</Luganda></row>
<row _id="870"><English>Out of curiosity, the children asked the teacher very many questions.</English><Luganda>Olw'okwagala okumanya, abaana baabuuza omusomesa ebibuuzo nkumuliitu.</Luganda></row>
<row _id="871"><English>He sold his car at a higher price than he bought it.</English><Luganda>Emmotoka yagitunda ssente nnyingi okusinga ze yagigula.</Luganda></row>
<row _id="872"><English>Her wedding meetings will be held from home every Sunday evening.</English><Luganda>Enkiiko z'embaga ye zijja kutuuzibwanga waka buli lwa Ssande akawungeezi.</Luganda></row>
<row _id="873"><English>He decided to quit his job.</English><Luganda>Yasalawo okulekulira omulimu gwe.</Luganda></row>
<row _id="874"><English>My grandfather knows almost everyone in the village.</English><Luganda>Jjajjange omusajja amanyi kumpi buli muntu ku kyalo.</Luganda></row>
<row _id="875"><English>The young man is working hard so that he can become rich in future.</English><Luganda>Omuvubuka akola butaweera asobole okufuuka omugaga gye bujja.</Luganda></row>
<row _id="876"><English>He spent five days walking through the forest.</English><Luganda>Yamala ennaku ttaano ng'atambulira mu kibira.</Luganda></row>
<row _id="877"><English>He was very happy that his wife gave birth to a baby boy.</English><Luganda>Yasanyuka nnyo nti mukyala we yazaala omwana omulenzi.</Luganda></row>
<row _id="878"><English>We were surprised when she did not turn up on her sister's wedding.</English><Luganda>Twewuunya nnyo bw'atajja ku mbaga ya muganda we.</Luganda></row>
<row _id="879"><English>I spent two hours talking with my sister on phone.</English><Luganda>Nnamala essaawa bbiri nga njogera ne muganda wange/mwannyinaze ku ssimu.</Luganda></row>
<row _id="880"><English>I enjoy listening to music during my free time.</English><Luganda>Nnyumiwa okuwuliriza ennyimba mu biseera byange eby'eddembe.</Luganda></row>
<row _id="881"><English>He is a humble man despite his wealth.</English><Luganda>Musajja mwetowaze newankubadde nga mugagga.</Luganda></row>
<row _id="882"><English>He does not want people to know his true identity.</English><Luganda>Tayagala bantu kumanya kituufu ky'ali.</Luganda></row>
<row _id="883"><English>The man decided to travel back to his home country.</English><Luganda>Omusajja yasalawo okutambula okuddayo mu ggwanga lye gye bamuzaala.</Luganda></row>
<row _id="884"><English>He managed to chase away encroachers on his land.</English><Luganda>Yasobola okugoba abaali beesenza ku ttaka lye.</Luganda></row>
<row _id="885"><English>The young man was praised for his courage.</English><Luganda>Omuvubuka yatenderezebwa olw'obuvumu bwe.</Luganda></row>
<row _id="886"><English>Leadership comes from God.</English><Luganda>Obukulembeze buva eri Katonda.</Luganda></row>
<row _id="887"><English>Leaders need wisdom in order to govern their people well.</English><Luganda>Abakulembeze beetaaga amagezi okusobola okufuga abantu baabwe obulungi.</Luganda></row>
<row _id="888"><English>Everything he does is for the good of him and his family.</English><Luganda>Buli ky'akola akikola ku lwa bulungi bwe ne famire ye.</Luganda></row>
<row _id="889"><English>He sat back and watched the dogs play.</English><Luganda>Yatuula eri n'alaba embwa bwe zizannya.</Luganda></row>
<row _id="890"><English>My cousin sister and I are agemates.</English><Luganda>Nze ne kizibwe wange tuli mu myaka gye gimu.</Luganda></row>
<row _id="891"><English>He is the youngest in his family but he acts mature.</English><Luganda>Y'asinga obuto mu famire ye naye yeeyisa kikulu.</Luganda></row>
<row _id="892"><English>Being young has its own advantages.</English><Luganda>Okubeera omuto kulina ebirungi byakwo.</Luganda></row>
<row _id="893"><English>He gave me a good business idea.</English><Luganda>Yampa ekirowoozo kya bizinensi ekirungi.</Luganda></row>
<row _id="894"><English>I have never boarded a train before.</English><Luganda>Sirinnyangako ku ggaali ya mukka.</Luganda></row>
<row _id="895"><English>My grandparents are still in love with each other.</English><Luganda>Bajjajja bange bakyayagalana.</Luganda></row>
<row _id="896"><English>I had a chance of seeing my great grandmother before she died.</English><Luganda>Nnafuna omukisa okulaba ku maama azaala jjajjange nga tannafa.</Luganda></row>
<row _id="897"><English>My nephews have not yet been introduced to other family members.</English><Luganda>Abajjwa bange tebannayanjulirwa ba mmemba ba famire balala.</Luganda></row>
<row _id="898"><English>The clever students passed the examination with high scores.</English><Luganda>Abayizi abagezi baayita ekigezo n'obubonero obwa waggulu.</Luganda></row>
<row _id="899"><English>He was caught trying to climb our neighbour's fence.</English><Luganda>Yakwatibwa ng'agezaako okuwalampa ekikomera kya muliraanwa waffe.</Luganda></row>
<row _id="900"><English>He requested me to be his friend.</English><Luganda>Yansaba mbeere mukwano gwe.</Luganda></row>
<row _id="901"><English>She agreed to the company policies and terms of operation.</English><Luganda>Yakkiriziganya n'enkola za kkampuni wamu n'obukwakkulizo kw'ekolera emirimu gyayo.</Luganda></row>
<row _id="902"><English>He drew a picture of an antelope on the piece of paper.</English><Luganda>Yakuba ekifaananyi ky'empala ku lupapula.</Luganda></row>
<row _id="903"><English>His wife became fat after giving birth.</English><Luganda>Mukyala we yagejja oluvannyuma lw'okuzaala.</Luganda></row>
<row _id="904"><English>She was tempted to steal the neighbours ripe bananas from the garden.</English><Luganda>Yakemebwa okubba amenvu ga muliraanwa agaali gengedde mu nnimiro.</Luganda></row>
<row _id="905"><English>Do not trust him because he is not a man of his word.</English><Luganda>Tomwesiga kubanga musajja atakuuma kigambo kye.</Luganda></row>
<row _id="906"><English>Women cannot have children when they reach the age of sixty.</English><Luganda>Abakazi tebasobola kuzaala bwe batuuka mu myaka nkaaga.</Luganda></row>
<row _id="907"><English>He cut off some of the tree branches.</English><Luganda>Amatabi g'omuti agamu yagatemako.</Luganda></row>
<row _id="908"><English>We were shocked by her health status.</English><Luganda>Embeera y'obulamu bwe yatukanga nnyo.</Luganda></row>
<row _id="909"><English>My friend likes begging.</English><Luganda>Mukwano gwange ayagala okusabiriza.</Luganda></row>
<row _id="910"><English>Of the two boys, who is older?</English><Luganda>Ku balenzi ababiri ani mukulu?</Luganda></row>
<row _id="911"><English>Children spend more than five years in primary school.</English><Luganda>Abaana bamala emyaka egisoba mu etaano nga bali mu kusoma kwa pulayimale.</Luganda></row>
<row _id="912"><English>English was his best subject.</English><Luganda>Olungereza ly'essomo lye yali asinga okukola obulungi.</Luganda></row>
<row _id="913"><English>He is one of the best lawyers in town.</English><Luganda>Y'omu ku bannamateeka abasinga obulungi mu kibuga.</Luganda></row>
<row _id="914"><English>The girls live with their mother.</English><Luganda>Abawala babeera ne nnyaabwe.</Luganda></row>
<row _id="915"><English>She was a very hardworking farmer.</English><Luganda>Yali mulimi omukakaalukanyi ennyo.</Luganda></row>
<row _id="916"><English>Her father died at fifty five years of age.</English><Luganda>Kitaawe yafiira ku myaka amakumi ataano mu etaano egy'obukulu.</Luganda></row>
<row _id="917"><English>He kicked his friend in the stomach.</English><Luganda>Yasamba mukwano gwe mu lubuto.</Luganda></row>
<row _id="918"><English>She felt sad when things did not go as planned.</English><Luganda>Yawulira ennaku ebintu bwe bitaagenda nga bwe yali abiteeseteese.</Luganda></row>
<row _id="919"><English>The women's group in the village has come up with a number of projects.</English><Luganda>Ekibiina ky'abakyala ku kyalo kigunjizzaawo puloojekiti ez'enjawulo.</Luganda></row>
<row _id="920"><English>My mother has very many friends.</English><Luganda>Maama alina emikwano mingi nnyo.</Luganda></row>
<row _id="921"><English>Not all boys can play football.</English><Luganda>Si buli mulenzi nti asobola okusamba omupiira.</Luganda></row>
<row _id="922"><English>She does not know how to peel food.</English><Luganda>Tamanyi kuwaata mmere.</Luganda></row>
<row _id="923"><English>She forgot to lock her bedroom.</English><Luganda>Yeerabira okusiba ekisenge kye.</Luganda></row>
<row _id="924"><English>The dog was playing with the little boy.</English><Luganda>Embwa yali ezannya n'omulenzi omuto.</Luganda></row>
<row _id="925"><English>He pulled money out of his wallet.</English><Luganda>Yasika ssente okuva mu waleti ye.</Luganda></row>
<row _id="926"><English>Bosses want obedient workers.</English><Luganda>Abakozesa baagala abakozi abawulize.</Luganda></row>
<row _id="927"><English>His stepmother mistreats him.</English><Luganda>Muka kitaawe amubonyaabonya.</Luganda></row>
<row _id="928"><English>She apologised for being cruel.</English><Luganda>Yeetonda olw'okubeera omukambwe.</Luganda></row>
<row _id="929"><English>We left mother at home feeding the baby.</English><Luganda>Maama twamuleka waka ng'aliisa mwana.</Luganda></row>
<row _id="930"><English>Her mother's friends have learned to be good to their dogs.</English><Luganda>Mikwano gya nnyina giyize okubeera emirungi eri embwa zaabwe.</Luganda></row>
<row _id="931"><English>My brother is a very handsome man.</English><Luganda>Muganda wange/mwannyinaze musajja mulungi nnyo.</Luganda></row>
<row _id="932"><English>Chefs must put on aprons while cooking.</English><Luganda>Abafumbi abakugu bateekeddwa okwekubirako obugoye nga bafumba.</Luganda></row>
<row _id="933"><English>Most of the girls are jealousy of her beauty.</English><Luganda>Abawala abasinga bamukwatirwa obuggya olw'obulungi bwe.</Luganda></row>
<row _id="934"><English>You need to get rid of some characters.</English><Luganda>Weetaaga okweggyamu enneeyisa ezimu.</Luganda></row>
<row _id="935"><English>The twins used to wear similar clothes.</English><Luganda>Abalongo baayambalanga engoye ezifaanagana.</Luganda></row>
<row _id="936"><English>She was wearing a very light cloth.</English><Luganda>Yali ayambadde akagoye akawewere ennyo.</Luganda></row>
<row _id="937"><English>He splashed dirty water on me.</English><Luganda>Yansammuliza amazzi agaddugala.</Luganda></row>
<row _id="938"><English>He decided to participate in the swimming competitions.</English><Luganda>Yasalawo okwetaba mu mpaka z'okuwuga.</Luganda></row>
<row _id="939"><English>She is jealous of her sister.</English><Luganda>Akwatirwa muganda we obuggya.</Luganda></row>
<row _id="940"><English>She tried to cry but there were no tears in her eyes.</English><Luganda>Yagezaako okukaaba naye nga mu maaso ge temuli maziga.</Luganda></row>
<row _id="941"><English>She used to weep everyday because she did not have a child.</English><Luganda>Yakaabanga buli lunaku kubanga yali talina mwana.</Luganda></row>
<row _id="942"><English>She did not like the taste of the food.</English><Luganda>Teyayagala ngeri mmere gye yali ewoomamu.</Luganda></row>
<row _id="943"><English>It was so rude of her to spit in her friend's face.</English><Luganda>Kyali kya jjoogo nnyo okuwandulira mukwano gwe amalusu mu maaso.</Luganda></row>
<row _id="944"><English>I think it is not good for people to just spit saliva anywhere.</English><Luganda>Ndowooza si kirungi abantu okugenda nga bawanda amalusu buli we basanze.</Luganda></row>
<row _id="945"><English>After eating a lot of food, her stomach grew bigger.</English><Luganda>Oluvannyuma lw'okulya emmere ennyingi ennyo, olubuto lwe lwagejja.</Luganda></row>
<row _id="946"><English>He has a bad odour.</English><Luganda>Avaamu olusu.</Luganda></row>
<row _id="947"><English>Her beddings are smelling urine.</English><Luganda>Ebikunta bye biwunya omusulo.</Luganda></row>
<row _id="948"><English>She ran so fast because some stranger was chasing her.</English><Luganda>Yadduka nnyo kubanga omuntu gw'atamanyi yali amugoba.</Luganda></row>
<row _id="949"><English>As she was running, she fell down.</English><Luganda>Bwe yali adduka n'agwa.</Luganda></row>
<row _id="950"><English>The mad man was very dirty and smelly.</English><Luganda>Omusajja omulalu yali addugala nnyo ate ng'awunya.</Luganda></row>
<row _id="951"><English>The woman looked pale and upset.</English><Luganda>Omukazi yalabika ng'apeeruuse era nga munyiivu.</Luganda></row>
<row _id="952"><English>She is allergic to certain smells.</English><Luganda>Obuwoowo obumu bumutabangula.</Luganda></row>
<row _id="953"><English>He quickly ran into the office because he was late for the interview.</English><Luganda>Yadduka bunnambiro mu woofiisi kubanga yali atuuse kikeerezi ku kubuuzibwa.</Luganda></row>
<row _id="954"><English>I could not tolerate the smell from her shoes.</English><Luganda>Nnali sisobola kugumiikiriza kisu kyali kiva mu ngatto ze.</Luganda></row>
<row _id="955"><English>I feel more comfortable when I am at my grandmother's place.</English><Luganda>Mpulira emirembe bwe mba ewa jjajjange omukazi.</Luganda></row>
<row _id="956"><English>He has a heart disease.</English><Luganda>Alina obulwadde bw'omutima.</Luganda></row>
<row _id="957"><English>Her stepmother sent her away from home.</English><Luganda>Muka kitaawe yamugoba awaka.</Luganda></row>
<row _id="958"><English>She washed her clothes from the rain.</English><Luganda>Engoye ze yazooleza mu nkuba.</Luganda></row>
<row _id="959"><English>Girls must be clean.</English><Luganda>Abawala bateekeddwa okubeera abayonjo.</Luganda></row>
<row _id="960"><English>She stayed with her grandmother for many years.</English><Luganda>Yabeera ne jjajjaawe omukazi okumala emyaka mingi.</Luganda></row>
<row _id="961"><English>He asked his girl friend to marry him.</English><Luganda>Yasaba muganzi we okumufumbirwa.</Luganda></row>
<row _id="962"><English>His parents did not agree to this marriage.</English><Luganda>Bazadde be tebakkiriziganya na bufumbo buno.</Luganda></row>
<row _id="963"><English>Mother wants her sister to come and live with us.</English><Luganda>Maama ayagala muganda we ajje tutandike okubeera naye.</Luganda></row>
<row _id="964"><English>She promised never to go back to their house.</English><Luganda>Yasuubiza obutadda mu nju yaabwe.</Luganda></row>
<row _id="965"><English>Parents must love their children.</English><Luganda>Abazadde bateekeddwa okwagala abaana baabwe.</Luganda></row>
<row _id="966"><English>She invited her grandmother to live with her in the house.</English><Luganda>Yayita jjajjaawe omukazi okujja abeere naye mu nju.</Luganda></row>
<row _id="967"><English>His new boat has a very powerful engine.</English><Luganda>Eryato lye eppya lirina yingini ey'amaanyi ennyo.</Luganda></row>
<row _id="968"><English>He told his friend about the family tour.</English><Luganda>Yagamba mukwano gwe ku lugendo lwa famire.</Luganda></row>
<row _id="969"><English>The men built the boat out of wood.</English><Luganda>Abasajja babajja eryato mu muti.</Luganda></row>
<row _id="970"><English>He drowned because he was not wearing a life jacket.</English><Luganda>Yabbira kubanga yali tayambadde kizibaawo kimutangira kubbira.</Luganda></row>
<row _id="971"><English>It is very hard to drown in water if you know how to swim.</English><Luganda>Kizibu okubbira mu mazzi singa obeera ng'omanyi okuwuga.</Luganda></row>
<row _id="972"><English>She waved back to the kids that were waving at her.</English><Luganda>Yawuubira ku baana abaali bamuwuubirako.</Luganda></row>
<row _id="973"><English>He will be flown to the hospital.</English><Luganda>Ajja kutwalibwa mu ddwaliro mu nnyonyi.</Luganda></row>
<row _id="974"><English>The fisher men need more fishing boats.</English><Luganda>Abavubi beetaaga amaato agakozesebwa mu kuvuba amalala.</Luganda></row>
<row _id="975"><English>My teeth is very delicate.</English><Luganda>Amannyo gange ga kwegendereza.</Luganda></row>
<row _id="976"><English>I drink water every day.</English><Luganda>Nnywa amazzi buli lunaku.</Luganda></row>
<row _id="977"><English>Let us go with her to the party.</English><Luganda>Tugende naye ku kabaga.</Luganda></row>
<row _id="978"><English>He swam across the river.</English><Luganda>Yawuga n'asala omugga.</Luganda></row>
<row _id="979"><English>I knocked my toe on the stone.</English><Luganda>Nakoona akagere kange ku jjinja.</Luganda></row>
<row _id="980"><English>He constructed his house on a hill.</English><Luganda>Ennyumba ye yagizimba ku kasozi.</Luganda></row>
<row _id="981"><English>He encouraged him to make friends.</English><Luganda>Yamukubiriza okukola emikwano.</Luganda></row>
<row _id="982"><English>She is very lucky to be the first lady of this country.</English><Luganda>Wa mukisa nnyo okubeera mukyala wa pulezidenti w'eggwanga lino.</Luganda></row>
<row _id="983"><English>It is believed that Adam was the first man God created.</English><Luganda>Kikkirizibwa nti, Adam ye muntu Katonda gwe yasooka okutonda.</Luganda></row>
<row _id="984"><English>Her mother took her to town, to choose her dream dress.</English><Luganda>Nnyina yamutwala mu kibuga okwerondera ekiteeteeyi ky'ebirooto bye.</Luganda></row>
<row _id="985"><English>The dress we bought for her could not fit.</English><Luganda>Ekiteeteeyi kye twamugulira tekyamutuuka.</Luganda></row>
<row _id="986"><English>She chose a yellow dress instead of the long skirt.</English><Luganda>Yalonda ekiteeteeyi ekya kyenvu mu kifo kya ssikaati empanvu.</Luganda></row>
<row _id="987"><English>She was wearing an expensive necklace.</English><Luganda>Yali ayambadde omukuufu ogw'ebbeeyi.</Luganda></row>
<row _id="988"><English>I saw an angel in my dream yesterday.</English><Luganda>Nalabye malayika mu kirooto eggulo.</Luganda></row>
<row _id="989"><English>She did not have enough money to buy that hand bag.</English><Luganda>Yali talina ssente zimala kugula nsawo ya mu ngalo eyo.</Luganda></row>
<row _id="990"><English>I was disappointed by the way our team played today.</English><Luganda>Engeri ttiimu yaffe gy'ezannye leero ennennyamiza nnyo.</Luganda></row>
<row _id="991"><English>She puts some money in her saving box.</English><Luganda>Ssente ezimu aziteeka mu kabookisi ke mw'aterekera.</Luganda></row>
<row _id="992"><English>My sister saved money in order to buy herself a new dress.</English><Luganda>Muganda wange/mwannyinaze yatereka ssente asobole okwegulirayo ekiteeteeyi ekipya.</Luganda></row>
<row _id="993"><English>My mother's birthday is in the month of June.</English><Luganda>Amazaalibwa ga maama ga mwezi Gwamukaaga.</Luganda></row>
<row _id="994"><English>All of us gave mother gifts on her birthday.</English><Luganda>Ffenna twawa maama ebirabo ku mazaalibwa ge.</Luganda></row>
<row _id="995"><English>I am a person that loves to receive gifts from others.</English><Luganda>Ndi muntu ayagala okufuna ebirabo okuva eri abalala.</Luganda></row>
<row _id="996"><English>She loves her daughter so much.</English><Luganda>Ayagala nnyo muwala we.</Luganda></row>
<row _id="997"><English>He bought his wife a gold necklace.</English><Luganda>Yagulira mukyala we omukuufu ogwa zzaabu.</Luganda></row>
<row _id="998"><English>I think there is no body that has never lied.</English><Luganda>Sirowooza nti eriyo omuntu atalimbangako.</Luganda></row>
<row _id="999"><English>He hired a piece of land in order to grow tomatoes.</English><Luganda>Yapangisa ettaka asobole okulima ennyaanya.</Luganda></row>
<row _id="1000"><English>His brother killed him.</English><Luganda>Muganda we yamutta.</Luganda></row>
<row _id="1001"><English>You have the power to change the undesirable things around you.</English><Luganda>Olina obuyinza okukyusa ebintu ebikwetoolodde ebitakusanyusa.</Luganda></row>
<row _id="1002"><English>She collected the plates from the dinning table and washed them.</English><Luganda>Yategula essowaani okuva ku mmeeza eriirwako n'azooza.</Luganda></row>
<row _id="1003"><English>The water in her bucket poured.</English><Luganda>Amazzi agaali mu kalobo ke gaayiika.</Luganda></row>
<row _id="1004"><English>She fell from the cliff of the mountain and died.</English><Luganda>Yagwa okuva ku ndeboolebo y'olusozi n'afa.</Luganda></row>
<row _id="1005"><English>When she knocked me, the tea spilled on the flow.</English><Luganda>Bwe yankoona, caayi yayiika wansi.</Luganda></row>
<row _id="1006"><English>He killed his wife as a way of getting rid of her.</English><Luganda>Yatta mukyala we ng'engeri y'okumwewonya.</Luganda></row>
<row _id="1007"><English>Her jewellery is valuable to her.</English><Luganda>Ebyokwewunda bye bya muwendo gy'ali.</Luganda></row>
<row _id="1008"><English>He packed the car at the bottom of the mountain and started climbing.</English><Luganda>Yasimba emmotoka wansi w'olusozi n'atandika okulinnya.</Luganda></row>
<row _id="1009"><English>He failed to carry the big stone from the ground.</English><Luganda>Yalemererwa okusitula ejjinja eddene okuva ku ttaka.</Luganda></row>
<row _id="1010"><English>One of the stones she was throwing landed and injured her brother's head.</English><Luganda>Erimu ku mayinja ge yali akasuka lyakuba era ne lireeta obuvune ku mutwe gwa mwannyina.</Luganda></row>
<row _id="1011"><English>I look at this situation as an opportunity for me.</English><Luganda>Ntunuulira embeera eno ng'omukisa gyendi.</Luganda></row>
<row _id="1012"><English>She said that she does not eat pork.</English><Luganda>Yagamba nti talya nnyama ya mbizzi.</Luganda></row>
<row _id="1013"><English>He gave his wife a diamond ring.</English><Luganda>Yawa mukyala we empeta eriko y'alimansi.</Luganda></row>
<row _id="1014"><English>She was feeling a bit dizzy.</English><Luganda>Yali awuliramu kamunguluze.</Luganda></row>
<row _id="1015"><English>I was so happy when my friends came to visit me at home.</English><Luganda>Nnali musanyufu nnyo mikwano gyange bwe gyankyalira ewaka.</Luganda></row>
<row _id="1016"><English>The usher guided her to a front seat.</English><Luganda>Ayaniriza abagenyi yamutuuza mu kifo eky'omu maaso.</Luganda></row>
<row _id="1017"><English>The Chief Executive Officer will be visiting the company branches tomorrow morning.</English><Luganda>Omukungu ow'oku Ntikko ajja kukyalira amatabi ga kkampuni enkya ku makya.</Luganda></row>
<row _id="1018"><English>What was her reaction when you told her the truth?</English><Luganda>Yakola ki ng'omubuulidde amazima?</Luganda></row>
<row _id="1019"><English>He prepared the party all by himself.</English><Luganda>Akabaga yakategeka yekka.</Luganda></row>
<row _id="1020"><English>She never leaves her baby behind when going somewhere.</English><Luganda>Taleka mwana we mabega ng'alina gy'alaga.</Luganda></row>
<row _id="1021"><English>I have just received some sad news.</English><Luganda>Nnaakafuna amawulire amabi.</Luganda></row>
<row _id="1022"><English>Mother held his hand and led him outside.</English><Luganda>Maama yamukwata omukono n'amufulumya ebweru.</Luganda></row>
<row _id="1023"><English>I think I know where the venue is located.</English><Luganda>Ndowooza mmanyi ekifo we kisangibwa.</Luganda></row>
<row _id="1024"><English>Students rushed out of the class when it was break time.</English><Luganda>Abayizi baayanguwa okufuluma ebweru w'ekibiina essaawa z'okuzannya bwe zaali zituuse.</Luganda></row>
<row _id="1025"><English>The man stared at us without blinking.</English><Luganda>Omusajja yatutunuulira awatali kutemya.</Luganda></row>
<row _id="1026"><English>The child got lost when she went looking for her a dog in the garden.</English><Luganda>Omwana yabula bwe yagenda ng'anoonya embwa ye mu nnimiro.</Luganda></row>
<row _id="1027"><English>Do you remember the late village chief?</English><Luganda>Ojjukira omwami w'ekyalo eyafa?</Luganda></row>
<row _id="1028"><English>He walks with his hat on the head.</English><Luganda>Atambula n'enkofiira ye ku mutwe.</Luganda></row>
<row _id="1029"><English>His wife embarrassed him before her friends.</English><Luganda>Mukyala we yamuswaza mu maaso ga mikwano gye.</Luganda></row>
<row _id="1030"><English>He went through a lot of hardships to get to where he is.</English><Luganda>Yayita mu bizibu bingi okutuuka w'ali kati.</Luganda></row>
<row _id="1031"><English>He enjoyed the fruits of his hard work.</English><Luganda>Yanyumirwa ebibala by'entuuyo ze.</Luganda></row>
<row _id="1032"><English>She smiled because most of her problems were solved.</English><Luganda>Yamwenya kubanga ebizibu bye ebisinga obungi byali bigonjoddwa.</Luganda></row>
<row _id="1033"><English>The cow almost killed him with its horn.</English><Luganda>Ente kata emutte n'ejjembe lyayo.</Luganda></row>
<row _id="1034"><English>Both her parents are tall people.</English><Luganda>Bazadde be bombi bawanvu.</Luganda></row>
<row _id="1035"><English>Children prefer sweets with sticks.</English><Luganda>Abaana basinga kwagala swiitikati.</Luganda></row>
<row _id="1036"><English>The girls' parents are so proud of her.</English><Luganda>Bazadde b'omuwala bamwenyumiririzaamu nnyo.</Luganda></row>
<row _id="1037"><English>My birthday is a special day to me.</English><Luganda>Amazaalibwa gange lunaku lwa njawulo gye ndi.</Luganda></row>
<row _id="1038"><English>By six in the evening, mother was already preparing supper.</English><Luganda>We zaawerera essaawa kkumi na bbiri ez'akawungeezi, maama yali ateekateeka kyaggulo.</Luganda></row>
<row _id="1039"><English>Mother packs for him food whenever he is going to school.</English><Luganda>Maama amusibirira emmere buli lw'aba agenda ku ssomero.</Luganda></row>
<row _id="1040"><English>I think it is risky to live in mountainous areas.</English><Luganda>Ndowooza kya bulabe okubeera mu bitundu eby'ensozi.</Luganda></row>
<row _id="1041"><English>He put his house at the top of a hill.</English><Luganda>Ennyumba ye yagiteeka ku ntikko ya lusozi.</Luganda></row>
<row _id="1042"><English>I want to learn how to make sandwiches.</English><Luganda>Njagala kuyiga kukola migaati gye bateekamu eby'okulya ebirala wakati.</Luganda></row>
</data>
